101Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 38 OKUKOLA KWA BAMALAYIKA Olunyiriri olw’okujjukira: “Malayika wa Mukama asiisira okwetoolola abo abamutya n’abalokola.” Zab. 34:7 Ekigendererwa: Okutegeera nga bamalayika bwebatuyamba ffe abagenda okusikira obulokozi. Ebyanjula Bamalayika bangi abaasigala nga bawulize eri Katonda n’ebatagobererwa Setaani mu kujeema kwe. Basanyukira nnyo abo bonna abaweereza Katonda era bwebatyo n’ebakola ku by’etaago by’abaana ba Katonda. Bamalayika bali ku lubu lwe lumu n’omuntu? 1. Omuntu yeteekebwa mu kifo ki bw’omugerageranya ne bamalayika? Zab 8:52. Bamalayika bali bameka? Kub 5:11, Beb 12:223. Kiki eky’ogerwa ku maanyi gaabwe n’empisa? Zab 103:20.4. Nnyonnyola ebyabaawo nga bamalayika bakyalidde abamu ku bantu mu ngeri gye babeyolekemu. Beb 13:2; Lub 18:2,8,16; Lub 19:1-3Ennyonnyola: Kristo bw’omuggulirawo oluggi olw’omutima gwo mu byetaago byo n’okubonabona; oyanirizibwa bamalayika abatalabika. Olwo n’oyanirizibwa mu b’olulyo lwa b’omu ggulu. (DA olup. 639) Emirundi emeka gyebalokolamu abantu? 5. Omulundi ogumu malayika omu yakola ki okulokola abantu ba Katonda? 2Basek. 19:35
102Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited6. Abaweereza ba Katonda baakuumibwa batya mu Babbuloni? Dan3:23,28; Dan 6:227. Nnyonnyola nga omutume Peetero bwe yalokolebwa okuva mu kkomera. Bik 12:6-11.8. Bamalayika bakuuma batya abatuukirivu? Zab.34:7; Zab 91:11; Mat 18:10.Ekinnyonnyola: Buli mugoberezi wa Kristo aweebwa malayika amukuuma. Abatunuulizi ab’omu ggulu bafuuka engabo eri abatukirivu eri obuyinza obw’omubi. (GC olup. 512) Bamalayika bayamba batya mu mulimu gw’obulokozi? 9. Bamalayika balaga batya nga bwebasanyukira omulimu gw’obulokozi bw’abantu? Luk. 5:11-24; Beb. 1:1410. Lwaki bamalayika baliberawo mu kusala omusango? Dan 7:9,10; Mub. 5:6.11. Bamalayika balina kitundu ki mu kukomawo kwa Yesu omulundi gwookubiri? Mat 16:27.12. Mulimu ki ogw’enjawulo gwe balikola? Mat 24:31.
103Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 39 OKUYITA MU BYOKUYIGA BYONNA EBIYIGIDDWA Olunyiriri Olw’okujjukira: Ddamu ennyiriri z’okujjukira ng’otegeeza n’ebyawandiikibwa gye zisangibwa. Ekigendererwa: Okusobola okuddamu ebibuuzo bino singa nga bikubuziddwa era n’okumanya ebyokuyiga mwe bisibuka. Ebyanjula Bwewesanga nga tasobola okuddamu ebibuuzo bino, ddamu ebyokuyiga mwebiggyiddwa era obiyige bulungi. 1. Ekkanisa ya Katonda yazimbibwa ku ani? 2. Bubonero ki obw’enjawulo ekkanisa ey’omu nnaku ez’enkomerero kw’erimanyirwa? 3. Mu ngeri ki abantu b’ekkanisa ey’omu nnaku ez’enkomerero kw’erimanyirwa? 4. Yogerayo omuntu omu eyagezaako okunyaga ng’ayita mu kulimba. Biki ebyavaamu olw’obutenenya kibi ekyo? 5. Lwaki obulamu obulongoofu bwetagibwa? 6. Nnyonnyola entandikwa y’obufumbo. 7. Bubi ki obuliwo Omukristaayo bwawasa atali mu kkiriza? 8. Kiki ekifuga amaka Amakristaayo? 9. Omukristaayo asaanidde kwambala atya n’akweyisa atya?
104Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited10. Ensolo ennongoofu n’ezitali nnongoofu zimanyibwa zitya? 11. Menya ebiriibwa ebimu n’ebyokunywa ebimu ebitali birungi mu bulamu. 12. Omuntu yatondebwa atya? 13. Omuntu abeera atya ng’afudde? 14. Omuntu alifuna ddi obutafa. 15. Nnyonnyola okuzuukira okw’emirundi ebiri. 16. Mulimu ki ogwa bamalayika ababi? 17. Bayibuli eyogera ki ku basamize? 18. Nnyonnyola ebyaba ku bakabaka ababiri aba Isiraeri abagenda mu basamize 19. Omuntu ayinza atya okuwona okutyanga oby’obulogo? 20. Mulimu ki ogwa bamalayika abalungi? Wa eby’okulabirako.
105Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEBYANJULA EKITUNDU EKYOKUNA Abantu ba Katonda bulijjo be bantu ab’omukisa. Katonda yabateerawo engeri mwe bayinziza okutegeera ebintu ebijja okubaawo mubyafaayo by’ensi. Okuyita mu bunabbi, Katonda yabikkula ebintu ebyo ebyekiseera eky’omu maaso olw’obulungi bwabwe basobole okubitegeera. Katonda yateeka ebirabo eby’obunabbi mu kkanisa ye, era okuyita mu byo abantu b’ekkanisa basobole okuzimbibwa, okusikirizibwa n’okuweebwa amaanyi. Omulimu ogwenjawulo abantu ba Katonda gwe balina okukola, kwe kutegeeza Katonda waabwe eri ensi ey’ekibi. Yesu bwe yalowooza ku baana be abomuwendo ennyo era n’ekifo kyabwe mu nsi, yagamba nti “Mmwe muli musana gwa nsi” Mat. 5:14. Omutume Peetero yamanya bulungi amakulu g’okugabana emikisa gy’enjiri era kye yava alugamizibwa n’awandiika nti, “Mmwe muli ggwanga ddonde, ebirungi by’oyo eyabayita okuva mu kizikiza okutuuka mu kutangaala.” 1Pet. 2:9. Katonda tasuubizanga nti buli kiseera omuntu wakubeeranga mu ddembe nga talina bimutawanya. Mu butuufu yasuubiza nti tuli bakusisinkana n’obuzibu obumu: “Bonna abagala okukwatanga empisa ez’okutyanga Katonda, banaayigganyizibwanga.” 2Tim. 3:12. Naye tuli bakuguma nti tetujanga kulekebwa ffeka kubanga yagamba nti “Laban di wamu nammwe okutuusa emirembe gino lwegiriggwawo,” Mat 28:20. Yiga bulungi ebyokuyiga ebiri mu kitundu kino n’obwesigwa era amazima agabirimu ganyweezebwe mu bulamu bwo. Bwotyo bw’onoobeera omuwanguzi anasanyukira ebisuubizo ebiweebwa abawanguzi abalituuka mu nsi esinga bulungi.
106Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 40 OBUWANIKA BW’EKIKRISTAAYO. Olunyiriri Olw’okujjukira: “Bwekityo abawanika kibagwanidde okubeeranga abesigwa” 1Kol 4:2. Ekigendererwa: Okutegeera obuvunaanyizibwa bw’obuwanika obw’Ekikristaayo. Ebyanjula Omuwanika y’ekakasa yekka ne mukamawe. Akkiriza obuvunanyizibwa obw’obuwanika, era kimusaanira okukola mu kifo kya mukamawe, ng’akolera ddala nga Mukama we bweyandikoze. Mukamawe by’asanyukira naye by’asanyukira” Ch. S Olup.113. Bantu bonna balina Talanta? 1. Nnyonnyola olugero lwa talanta. Mat 25:14-30Ekinnyonnyola: Singa olugero lwa talanta lutegerebwa obulungi, lunabikkula okwegomba okwo Katonda kwayita ebifaananyi (Ch.S. Olup 114) 2. Lwaki ababiri ku bawanika basiimibwa? Mat 25:21,233. Lwaki omuwanika omulala yanenyezebwa? Mat 25:26-284. Talanta ki ezimu ezituweebwa? 1) Okwogera talanta. Ebirabo byonna omuntu byayiza okufuna teri kisinga kusanyikirwa nga okwogera.2) Amaanyi talanta. Gasaanidde okukozesebwa okugulumiza Katonda. Emibiri gyaffe gya Mukama.3) Obuyiza talanta. Ge maanyi agakozesebwa olw’obulungi, mu kuweereza mu mulimu gwa Mukama.4) Byetufuna talanta. Byonna byetulina bya Mukama awatali nakubuuza kwonna. Atuyita okuzuukuka n’okwetika emigugu egy’omulimu gwe era bwegutyo gulyoke gulabe omukisa. Buli
107Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedMukristaayo wa kukola ekitundu kye ng’omuwanika omwesigwa.5) Ekiseera talanta. Mu talanta zonna Mukama z’atuwa teri gy’aligenda kuvunaana nnyo okusinga nga ekiseera kyaffe.5. Nsobi ki abantu ba Katonda gye baakola bwe baakomawo okuva mu busibe? Kag. 1:3-66. Lwaki tebaalaba mukisa? Kag 1:97. Wa awalala we tusoma mu Bayibuli Katonda weyagambira okummira emikisa gye? Mal 3:8,9Ekinnyonnyola: Okuwa ekitundu eky’ekkumi n’ebirabo kwaali kwakukubiriza emitima gy’abantu okunyweza amazima amakulu – nti Katonda y’ensibuko emitima gy’abantu okunyweza amazima amakulu – nti Katonda y’ensibuko y’emikisa gyonna egifunibwa ebitonde bye byonna era nga oyo y’asaanidde okwebazibwanga omuntu olw’ebirabo ebimuwereddwa” (pp. 525) 8. Omuwanika omwesigwa wa kukola ki era kiki ekiribaweebwa ng’empeera? Mal. 3:10-12.Ekinnyonnyola. Katonda ayagala ebitundu byonna eby’ekkumi bimuweebwe. OKuwayo busente obutono ng’ekitundu eky’ekkumi nga tomaze kubalirira ekitundu ekimu eky’ekkumi bwekyenkana, ekyo Katonda takikkiriza. Ebintu byo byonna ng’ogassemu eby’omunnimiro, ebisibo, ebibala, omusaala n’ebirala, byonna ebyo bisaanidde okwawulwamu ebitundu kkumi, awo nno ekimu eky’ekkumi ekiramba n’ekiryoka kiweebwayo. Biki ebiraga omuwanika ow’amazima? 9. Buvunanyizibwa ki obubiri buli muwanika bwasaanidde okwetikka? Luk. 16:2,510. Kiki ekifuula omuwanika okuba omwesigwa era ow’amagezi? Luk 12:33, 34,4211. Mpisa ki ez’omuwanika omulungi? 1Pet 4:1012. Kiki ekikomererayo mwebyo omuwanika omulungi byasnidde okuba nabyo? Ggwe kino okirina? 1Kol 4:1,2.
108Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 41. OMULIMU GW’OMUNTU ERI GAVUMENTI Olunyiriri Olw’okujjukira: “Kale musasulenga Kayisaali ebya Kayisaali ne Katonda ebya Katonda.” Mat 22:21. Ekigendererwa: Okulaga enkolagana omuntu gyakolaganamu ne gavumenti ey’oku nsi ne yo mu ggulu. Ebyanjula Omukristaayo amaze okuyiga okugondera amateeka ga Katonda takisangamu buzibu okugondera amateeka g’ensi gyabeeramu. Abakristaayo bakussamu ekitiibwa Gavumenti? 1. Ani afugira mu bwakabaka bw’abantu? Dan 4:32 (Ekitundu ekisembayo)2. Abafuzi ab’okunsi baba bakozesa buyinza bwani mu kufuga kwabwe? Bal 13:13. Kigendererwaki ekya Gavumenti ez’okunsi? Bal. 13:3,4Omukristaayo wakulaga atya obuwulize bwe eri Gavumenti? 4. Omukristaayo yandikolaganye atya ne gavumenti ye? Bal 13:1,2; Tit. 3:1; 1Pet 2:13-17.5. Yesu yalaga atya obuwulize bw’Omukristaayo bwe busaanidde okuba eri ab’obuyinza ku nsi ne Katonda? Luk 20:25.Ekinnyonnyola: Gavumenti eyaliwo Yesu bweyali ku nsi kuno yali mbi nnyo mu ngeri etetegerekeka era nga yabukambwe bwakitalo. Naye newankubadde kyali bwekityo Omulokozi teyagezaako kugivumirira newankubadde okuginoonyako emisango. Omulokozi teyagezaako kugivumirira newankubadde okuginonyako emisango. Omulokozi teyagezaako kugifukuutirira. Teyalumba bintu byonna ebyaali mu ggwanga oba n’okusalira emisango abalabe b’eggwanga. Teyeyingiza mu buyinza oba eby’enfuga eby’abo abaali
109Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedmu buyinza. Yali kyakulabirako kyaffe naffe tuleme kweyingizanga mu bya zi gavumenti ez’ensi.” (DA olup. 509) 6. Kristo yasasula omusolo gwe? Mat. 17:24,27.Ne Gavumenti ya Katonda erina ebyetaago? 7. Gavumenti ez’oku nsi oluusi zirwanagana zitya n’amateeka ga Katonda? Dan 3:1,4-6Ekinnyonnyola; Etteeka ery’okusinza ekifaananyi ekya zaabu lyali nga lirwanagana buterevu n’etteeka eryookubiri mu mateeka ga Katonda. 8. Abaweereza ba Katonda b’akola batya etteeka lya Kabaka? Dan 3:16-18.9. Katonda yabakuuma atya? Dan 3:28.Ekinnyonnyola; Kikulu nnyo okuyiga ebyokuyiga ebiri mw’ebyo ebyaaba ku bavubuka Abebbulaniya mu lusenyi Dduula, Mu kiseera kino abantu ba Katonda bangi abataalina musango era abataali bakozi ba buli abajja okuweebwayo okubonabona mu mikono gyabo abakozesebwa Setaani nga bajjudde obuggya ne kiruyi mu bigambo by’eddini. Okusingira ddala obusungu bwabwe bwakubuubuuka eri abo abatukuza Ssabbiiti ey’etteeka eryookunaa; n’oluvannyuma etteeka lyakuteekebwa mu nsi yonna nti abantu ab’engeri eyo basaanidde kuttibwa. (PK. Olup 512). 10.Danieri yasisikana atya engeri efaanana bwetyo? Dan 6:7,8,22.11.Omutume Peetero atugamba kukola tutya bwetuwalirizibwa n’amateeka g’ensi okumenya amateeka ga Katonda? Bik 5:29.12.Abakristaayo basaanidde kusabanga ani? 1Tim 2:1-3
110Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 42. KRISTO KABONA WAFFE ASINGA OBUKULU. Olunyiriri Olw’okujjukira: “Mulowooze Omutume era Kabona asinga obukulu ow’eddini gwe twatula Yesu Kristo.” Beb 3:1 Ekigendererwa: OKutegeera, empeereza y’obwakabona bwa Kristo. Ebyanjula Okuva mu kiseera eky’okugenda kwe mu ggulu, Kristo y’atuwolereza mu maaso g’entebe ya Kitaawe. Yafuuka kabona waffe asinga obukulu era y’atuwolereza mu ggulu. Ekifo ekitukuvu eky’oku nsi kyaali kifaananyi kyaki? 1. Katonda ng’ayita mu Musa yalagira Isiraeri akole ki? Kuv. 25:8Ekinnyonnyola: Okuzimba ekifo ekitukuvu n’enteekateeka y’akyo wamu ne’mpereza zaamu byali byakuyigiriza bantu enteekateeka ey’obulokozi. 2. Biki ebyali mu kifo ekitukuvu ekisooka? Beb. 9:2Ekinnyonnyola: Ettabaza ey’amatabi omusanvu gwayo ogwamulisanga ekifo ekitukuvu, ky’ekyaali ekifaananyi kya Kristo, omusana gw’ensi Yok 8:12. Emmeeza ey’emigati egy’okulaga nayo yali eraga Kristo, emmere ey’obulamu. Yok 6:33. Ekyoterezo eky’obubane ekyali mu kisenge kino awamu n’obubaane ebyo bye byalaganga okusaba kw’abantu ba Katonda okwakwatibwanga Kristo. 3. Biki ebyali mu kisenge ekisinga obutukuvu? Kuv. 26:34; Beb 8:3,4Ekinnyonnyola: Essanduko eya zaabu omwali ebipande ebibiri okwali kuwandiikiddwa amateeka ekkumi. Ku ngulu kw’ensanduko kwe kwaali entebe ey’ekisa eyali ebikiddwako bakerubi. Kino kye kyali
111Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedekifo Katonda mweyatuulanga bweyajjanga mu kifo ekitukuvu eky’oku nsi, Entebe ey’ekisa yalinga wakati we n’amateeka omuntu ge yamenya. 4. Empeereza zaakolebwanga zitya? Beb 9:6,7Ekinnyonnyola: Omwonoonyi kyamusaanira okuleeta endiga eteriiko bulema, Yagiteekangako emikono gye n’ayatula ebibi bye. Endiga eno bwe yattibwanga, omusayi gwayo gwatwalibwa nga mu kifo ekitukuvu, kino nga kiyigiriza omwonoonyi nti awataba kuyiwa musaayi tewabawo kusonyiyibwa n’okugibwako ekibi. Beb.9;22 5. Ebiweebwayo byalaganga ani? Yok 1:29; Is 53:6,7; Kub 13:8 (ekitundu ekisembayo).6. Omulimu gw’ekifo ekitukuvu eky’okunsi gwakomezebwa ddi? Mat. 27:50,51Ekinnyonnyola Ekiweebwayo eky’Omwana gw’endiga owa Katonda ku musalaba kyatuukiriza emikolo gyonna egyakolebwanga mu Yeekaalu. Ekiweebwayo ekituukiridde eky’ekibi kyali kimaze okuweebwayo. Okulaga enkomerero y’ebyo ebyali bikolebwa egigi eryali lyawula ebisenge ebibiri lyayuzibwamu n’omukono ogutalabika. Okuva olwo n’okutuusa kati omuntu kyamusaanira era kimusaanira okutunulanga ku Yeekaalu ey’omu ggulu. Yeekaalu ey’omu Ggulu efaanana etya? 7. Ekifo ekitukuvu eky’oku nsi kyali ekifaananyi ekya yeekaalu esinga obukulu? Kub. 15:5; Kub 11:19; Beb 8:5,28. Baani abaweereza mu Yeekaalu ery’omu ggulu? Beb 3:1; Beb 9:12,24Ekinnyonnyola: Newakubadde nga obuweereza bwagyibwa mu yeekaalu ey’oku nsi; newakubadde nga Kabona waffe asinga obukulu yali takyalabika na maaso ag’obuntu wadde yeekaalu, ekyo tekyali kyakukosa
112Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedbayigirizwa n’akatono. Empuliziganya yaabwe teyakutukamu, wadde okuggyamu amaanyi olw’obutabeerawo bw’Omulokozi. Yesu mu kuweereza kwe okw’omu yeekaalu ey’omu ggulu, aba akyali omuweereza ow’ekkanisa ye ku nsi okuyita mu Mwoyo Omutukuvu. (DA olup 166) Mulimu ki ogwa Kristo gw’akola mu Ggulu? 9. Kabona wa ngeri ki asinga obukulu gwe tulina? Beb 2:1710.Atukiikirira atya mu ggulu? 1Yok 2:1,2Ekinnyonnyola; “Abo bonna abeenenyezza mu mazima, era okuyita mu musaayi gwa Kristo ne basaba okusonyiyibwa olwa ssaddaaka ye, baweebwa ekisonyiwo era ne kiwandiikibwa mu manya gaabwe mu bwa Kristo, era n’empisa zaabwe ne zisangibwa nga zitabagana n’amateeka ga Katonda, ebibi byabwe bisangulibwawo, bwebatyo ne babalibwa okuba nga basaanidde okufuna obulamu obutaggwaawo.” (GC olup.483) 11.Omusaayi gwe gusaanira gutya okuggyawo ebibi byaffe? Beb 7:25; Yok1:7.12.Kuyita ki okutuyitibwa okujja eri Kabona waffe asinga obukulu? Beb 4:14-16.
113Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 43 EKISEERA EKY’OKUGEZEBWA OKUGGWAAKO Olunyirir Olw’okujjukira: “Kubanga mumanyire ddala bulungi nga olunaku lwa Mukama waffe lujja ng’omubbi ekiro.” 1Bases. 5:2 Ekigendererwa: Okutegeera ebintu ebijja okubaawo nga Yesu tanaba kukomawo. Ebyanjula Obubonero bungi bulaga nti enkomerero y’ebintu byonna eri kumpi. Nga Yesu tanaba kukomawo wajja kubaawo ekiseera ekyakacwano, ebibonyobonyo omusanvu ku nsi. Abantu ba Katonda kibasaanira okweteekerateekera ekyo, kubanga era ne mu kiseera ekyo Omwoyo wa Katonda Omutuukirivu wakugyibwa ku nsi. Kulabula ki okukomererayo Katonda kw’awa abantu? 1. Katonda agumikiriza atya aboonoonyi? 2Pet 3:9; Yok 3:162. Bubaka ki obw’enkomerero obw’enjiri ey’emirembe n’emirembe obujja okubulirwa abantu? Kub.14:6,7.Ekinnyonnyola: Bamalayika tebabuulira njiri. Omukisa ogwo gwaterekebwa abantu. Laba Mat 28:19,20. Bamalayika mu nnyiriri zino bategeeza ekibiina eky’ensi yonna ekigenda kibuulire n’amaanyi okulabula kwa Katonda kuno okukomererayo. Ensi yakutegezebwa nti okusala omusango mu ggulu kwatandika era nti abantu bonna kibasaanira okusinza Katonda nga Omutonzi, era nga kino kyakukolebwa olw’okujjurira olunaku olwa Ssabbiiti Okulutukuzanga. 3. Kulabula ki okulala okwongera okuweebwa mu kiseera kyekimu? Kub 14:8-11.Ekinnyonnyola: Erinnya Babbuloni lyaava ku kigo kya Babberi. Lub 11:1-9. Amakulu gaalyo nti okutabukatabuka. Mu kitabo kya kubikkulirwa erinnya lino
114Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedlikwata ku kkanisa zonna eziyigiriza enjigiriza z’abantu. Ensolo era n’ekifaananyi kyayo bwebuyinza obuwagira enjigiriza zino ez’obulimba. Buli omu alabulwa okuzifulumamu. Laba Kub. 18:1,3,4. Okuyita mu mirembe gyonna ekiseera ekiweebwa abantu okugerezebwamu kigenda nga kifundikirwa mpolampola. (Ekiseera eky’okugezebwa gwe mukisa oguweebwa abantu okwenenyezamu ebibi byabwe) Eri abamu ekiseera kino kifundikirwa bwebaba nga bakyali balamu nebagaana okuyita kwa Katonda okw'obulo’ozi. Ate eri abasing obungi ekiseera kyabwe eky’okugezebwa kikomekerezebwa mu kufa kwabwe; Omutume Pawulo yagamba nti “kubanga omuntu yatekerwawo okufa omulundi gumu n’oluvanyuma lw’okwo musango.” Beb 9:27. Bwekityo nga Yesu tanakomawo ku nsi, kimusaanira okumaliriza omulimu gwe ogw’okusala omusango. Katonda yateekawo ekiseera okusala omusango wekulikomekerezebwa, ng’emisango gyonna egy’abantu gimaze okusalibwa. Olwo ekiseera eky’okugezebwa kiriba kifundikiddwa. 4. Kulangirira ki okukulu Yesu kwalirangirira ng’ekiseera eky’okugezebwa kifundikiddwa? Kub 22:11.5. Danieri annyonnyola atya ekiseera eky’akacwano eky’okubaawo amangu nga ekiseera eky’okugezebwa kiweddeko? Dan 12:1Ekinnyonnyola: “Ekiseera eky’okunakuwaliramu ng’ekyo ekitabangawo,” kinaatera okutujjira; era kiritetaagisa okuba n’okumanya kwetutalina leero ate bangi kwe bagayaaliridde okufuna……. Mu kiseera ekyo eky’okubonaabona, buli mwoyo gwakuyimirirawo gwokka mu maaso ga Katonda.” {GC. Olup 622) 6. Oluvannyuma obusungu bwa Katonda bulibikkulibwa butya eri aboonoonyi abagaana okwenenya? Kub 15:1Ekinnyonnyola: Ebibonyoobonyo bino tebigenda kutuuka ku bantu bonna, oba nti abatuula ku nsi bakusangulirawo ddala bonna. Naye bigenda kuba eby’obulimi obw’ekitalo omuntu yenna bwatafunangako. Emisango gyonna egisalirwa abantu mu kiseera kino eky’okugezebwa gitabuddwamu ekisa, Omusaayi gwa Kristo ogutuwolereza ffe
115Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedaboonoonyi gwegukyagaanye ababi okufuna ekibonerezo kyabwe ekijjuvu; naye ku nkomerero obusungu bwa Katonda bugenda kufukibwa nga tebutabuddwamu kisa kyonna.” {GC olup 28,19} 7. Kiragiro ki omulagibwa nti tewali n’omu agenda kwenenya mu kiseera eky’ebibonyoobonyo bino? Kub.22:12; Kub 16:118. Ekibonyobonyo ekisembayo kiriba kitya? Kub 16:17-219. Kukaaba ki okw’enkomerero ababi kwe balikaaba? Kub 6:16,17; Yer 8:20Ekinnyonnyola: Enkomerero yakujja mangu okusinga abantu bwe bagirowooza. 10. Kusuubiza ki okw’okukuumibwa okuweebwa abantu ba Katonda? Zab 91:1,7,10,1111. Okwetaaga kw’abatuukirivu kulirowoozebwa kutya? Is 26:20,21; Is.33:16,17.Ekinnyonnyola: “Omulokozi waffe ow’omuwendo ajja kutuweereza obuyambi awo wennyini we tubwetaagira. Ekkubo erigenda mu ggulu lyatukuzibwa ye olw’okusooka okuliyitamu. Amaggwa gonna agatufumita gaasooka kufumita ye. Omusalaba gwonna gwe tuyitibwa okwetikka ye yasooka okugwetikka ku lwaffe. Katonda akkiriza ne wabawo entalo olw’okuteekateeka omwoyo gufune emirembe. Ekiseera eky’okubonaabona kya ntiisa nnyo eri abantu ba Katonda; kyokka kye kiseera ekirungi eri buli mukkiriza owamazima okutunula waggulu, olw’okukkiriza ayinze okulaba emikisa enkuyanja egimwetoloodde.” (GC. Olup 633).
116Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKY’OKUYIGA 44 OKUBONEREZEBWA KW’ABABI Olunyiriri Olw’okujjukira: “Alikunganyiza en’gaano mu ggwanika naye ebisusunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.” Mat 3:12. Ekigendererwa; Okutegeerera ddala ensonga Katonda kyaliva azikiriza ababi. Ebyanjula Katonda ng’akyagumikiriza ababi era nga tayagala n’omu kubula, ekiseera kijja kutuuka ekibi n’aboonoonyi lwe birisangulibwa ku nsi. Ekibi tekirina kifo kyakyo mu Gavumenti ya Katonda. Makuluki ag’okufa okwokubiri? 1. Kiki eky’okuba ku babi Kristo bw’anajja? 2Bases 1:7-9Ekinnyonnyola: Kristo bwanajja tewajja kuba kuzuukira kw’ababi wabula kwa batuukirivu. Ababi bakulindirira okuzuukira kwabwe “okw’okusalirwa omusango.” Yok 5:29. Ababi abalifa nga Kristo akomyewo emirambo gyabwe tegigenda kuziikibwa, gigenda kufuuka mmere ya nnyonnyi za mu bbanga. Kub 19:17, 18. 2. Lwaki ababi balifa? 2Bases 2:10.3. Ababi bwe bafa bafunidde ddala ekibonerezo kyabwe? 2Pet 2:9Ekinnyonnyola: Ababi bwe bafa tebagenda mu ggeyeena oba mu puligatori. Okufa ky’ekintu ekikwata ku bantu bonna. Abafu tebaliiko kye bamanya. Katonda akuuma abantu abo ababi okutuusa ku lunaku olw’okusalirako omusango balyoke babonerezebwe. 4. Ababi baliba wa mu kiseera eky’emyaka olukumi abatuukirivu bwe baliba nga bali mu ggulu? Kub. 20:5
117Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited5. Kiki ekiribaawo okukakasa omusango gwabwe? Kub 20:11-15.Ekinnyonnyola: Okufa okwokubiri kwe kusemberayo ddala. Tewali n’omu alikusukka okugyako oyo yekka “Awangula talirumwa kufa kwa kubiri.” Kub 2:11. Biri ebiriba ku bamenyi b’amateeka? 6. Empeera y’ekibi kyeki? Bal 6:23.7. Baani abalibeera mu nnyanja ey’omuliro? Mat. 25:41.8. Ababi balizikirizibwa ddala batya? Mal 4:1,3; Obad 16; Zab 37:10Ekinnyonnyola: Ababi bakuzikirizibwa ddala. Balibeera mukka na vvu………. Olw’ensonga eyo kyebava bafananyizibwa ng’amanda, amaggwa etc. Okuzikirira kwabwe tekulibalibwa ng’a kufiirwa. Bo bennyini be baliba berondeddewo obutafuna bulamu obutaggwawo. Okuzikirira kwabwe kuliba ekikolwa kya Katonda eky’okwagala n’ekisa kye. Okuzikirira kwabwe tekugenda kubalibwa n’akatono ng’omuli eky’omugaso ekiba kifiriddwa. 9. Ekibi kirizikirizibwa ddala kitya? 2Pet. 3:7, 12:1010. Bamalayika baliyamba batya mu mulimu ogw’okulongoosa ensi? Mat. 13:41,42.Omuntu alifuna omukisa ogwookubiri okwenenya? 11. Lwaki Katonda taliwa boonoonyi mukisa gwa kubiri okwenenya?Beb 9:27; Luk 16:31.12. Kulabula ki okukwata ku bantu bonna? Beb 3:7,8,13.
118Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 45. ENSI EMPYA – EMPEERA Y’ABATUKUVU Olunyiriri Olw’Okujjukira: Ngenda okubatekeratekera ekifo.” Yok 14:2 Ekigendererwa: Okulaga ebyo Katonda byatekeddetekedde abamwagala. Ebyanjula Enteekateeka ya Katonda ey’okuteeka abantu ku nsi kuno abatayonoona egenda kutuukirizibwa. Newakubadde ng’enteekateeka eno erwisiddwa olw’obujeemu naye ensi empya yakuteekebwateekebwa okuba amaka g’abanunule. Temugenda kubamu kifo kya kibi wadde aboonoonyi. Kiki Kristo kyateekerateekera abatuukirivu? 1. Baani ab’okusikira ensi? Mat 5:52. Ensi erikolebwa etya ery’oke etuukane okuba amaka g’abatuukirivu? 2Pet 3:12,13.3. Kiki ekitagenda kuzuuka mu maka amaggya? Kub 21:4.4. Walibaawo okuyayanira obulamu nga bwetubuyanira kati? Is 65:17Obulamu obugya bulifaanana butya? 5. Obulamu buliba bwa ddembe butya mu nsi empya? Is 11:6-9; Is 65:256. Biki ebiribeera mu nsi empya? Is. 35:1,27. Mirimu ki abanunule gy’abalikolanga? Is. 65:21,228. Obulamu obugya bulimatiriza ddala abantu? Is 65:23,24Mu nsi empya mulibaamu ekibuga? 9. Kibuga ki ekiriba ekikulu mu nsi empya? Kub 21:110.Nnyonnyola Yerusaalemi ekigya. Kub 21:10-20Ekinnyonnyola: Ekibuga kigenda kubeera kya nsonda nnya (Square). Buli ludda nga luwerako mairo 275. Kirizimbibwa mu ggulu. Abatuukirivu balikibeeramu okumala emyaaka 1000. Oluvannyuma ng’ababi basaliddwa omusango n’okuzikirizibwa, kirijja ku nsi kuno. 11.Namulondo ya Katonda eriteekebwa wa oluvannyuma lw’emyaaka 1000? Kub 22:1-312.Baali abalitambulira mu nguudo ez’amayinja ag’omuwendo era lunaku ki kwe banawummuliranga? Kub 22:14; Is 66:22,23
119Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 46. EBIRABO EBY’OMWOYO Olunyiriri Olw’okujjukira: “Naye mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu.” 1Kol 12:31. Ekigendererwa: Okukakasiza ddala ebirabo eby’Omwoyo era n’okumanya ekifo kyabyo mu kkanisa ya Katonda. Ebyanjula Omwoyo Omutukuvu yaweebwa ekkanisa okuba omulugamya waayo. “Anabulungamyanga mu mazima gonna.” Yok 16:13 Engeri ze mwalungamiza ng’ayita mu birabo eby’omwoyo z’etaaga nnyo okuyiga n’obwegendereza. Ebibala eby’Omwoyo bye biruwa? 1. Kifo kyaani ku nsi Omwoyo Omutukuvu kye yatwaala? Yok 14:162. Atuyamba atya okuwangula okwegomba okw’omubiri? Bag 5:16Ekinnyonnyola: Abo abanaafuna amaanyi ge, Omwoyo wa Katonda wakubamalamu ekibi.” {DA olup 107} “ gwe mukisa gwa buli Mukirstaayo okusanyukira engeri ez’okukola kw’Omwoyo wa Katonda.” ( 1T. Olup 159) 3. Bibala ki eby’Omwoyo? Bag 5:22,23Ekinnyonnyola: “Ekigambo kya Katonda – amazima gwe mukulu Mukama mwalagira obuyinza bw’Omwoyo gwe. Obuwulize eri ekigambo kye, bwe buzaala ebibala ebyetaagibwa ‘okwagalana kw’aboluganda.’ Okwagala kuno okuva mu ggulu, kukulembera omuntu okumutuusa ku ddaala er’awaggulu ery’ebikolwabye eby’obuteerowoozako yekka.” (AA olup 520) 4. Okwagala kutukulembera kututusa ku ki? Bak 3:14Birabo ki eby’okulabibwa mu kkanisa? 5. Yesu bweyagenda mu ggulu, kiki kyeyawa ekkanisa ye? Bef 4:8Ekinnyonnyola:
120Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedAbantu bonna tebafuna birabo bimu, naye buli muwereza wa Mukama yasuubizibwa okufuna ekirabo eky’Omwoyo.” (COL olup 327) 6. Kikulu nnyo okutegeera ebirabo bino? 1Kol 12:1Ekinnyonnyola: Ekisuubizo ekiri mu Mat 28:19,20 kigenda wala nnyo okufaanana nga ekiragiro. Ebirabo byonna si byakuwebwa omukkiriza kinomu, ng’okwetaaga kwe bwekuli okukola omulimu gwa Mukama. Okusuubiza okwo kwesigika era kwa mazima mu kiseera kino nga bwekwaali mu biro by’abatume.” (AD olup 823) 7. Birabo ki ebimu eby’Omwyo? Bef 4:11Ekinnyonnyola: “Katonda yateekawo mu kkanisa ebirabo eby’enjawulo. Ebirabo bino bya muwendo munene buli kimu era byonna birina ekitundu kyabyo mu mulimu ogw’okuteekateeka abantu olw’okujja kwa Yesu amangu.” (GW olup 481) 8. Lwansonga ki ebirabo eby’Omwoyo byagabibwa? Bef 4:12,139. Ebirabo bino bigabayizibwamu bitya? 1Kol 12:4,5,8-11Ekirabo ekisingira ddala obukulu. 10. Kirabo ki ekimu kw’ebyo eky’omwoyo ekisingira ddala obukulu? 1Kol. 14:1,39.11. Mukama ayogera atya ng’ayita mu banabbi? Kub 12:6; Kos 12:10.12. Ekirabo eky’obunnabbi kyakusangibwa mu kkanisa eyasigalawo? Kub 12:17.Ekinnyonnyola: “Okutegeeza kwa Yesu gwe Mwoyo gw’obunnabbi.” (Kub 19:10) Omwoyo gw’obunabbi gubadde emu ku ngeri ezisingira ddala obukulu Mukama gyabadde ayogera n’abantu mu biseera eby’emabega. Tekisasanidde kutwaliwa nga ekintu ekigya Mukama bwaba nga kyalonze okukozesa ne mu nnaku zino ez’enkomerero.
121Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 47 EKIRABO EKY’OBUNNABBI. Olunyiriri olw’okujjukira; “Mukkirize Mukama Katonda wammwe bwemutyo bwemunanywezebwa , mukkirize banabbi be bwemutyo bwe munaalaba omukisa.” 2Byom. 20:20. Ebyanjula Ekimu ku birabo ekikulu eby’Omwoyo Omutukuvu mu kkanisa mu biseera ebyayita ne mu biseera ebyakaakati. Obunnabbi kyekimu ku ngeri Mukama z’eyalonda okuyitangamu mwebyo byategeeza abantu. Omwoyo gw’obunnabbi bulijjo gwakusangibwanga mu kkanisa ya Katonda okutuusiza ddala Yesu lw’anajja. Kigendererwa ki eky’obunnabbi? 1. Mukama yagenderera ki okugaba ekirabo eky’obunabbi? Amos 3:7; Kos 12:13.Ekinnyonnyola: Ensonga ziri ssatu enkulu era zezino: Okubikkula, okulungamya, n’okuyigiriza. Kristo yakubiriza abayigirizwa be ku bukulu bw’okuyiga obunnabi. Bwe yamala okuzuukira, yannyonnyola abayigirizwa be mu bunnabbi bwonna, ebintu ebyaali bimukwatako ye yennyini (Luk 24:27) Omulokozi yayogera ng’ayita mu bunnabbi bonna………Katonda atuwa ebintu bino emikisa gye giryoke gibeere kwabo abasomi n’obwegendereza n’okulaba ebyawandiikibwa eby’obunabbi.” (DA olup 234). 2. Nabbi ayinza atya okweraga nga yalondebwa Katonda okutwala obubaka bwe? Kubal 12:63. Okubikkulirwa Katonda kweyawa ng’ayisa mu bannabbi be kwaani? Ma 29:29Ekinnyonnyola: “Ekirowoozo ekigamba nti ebitundu ebimu mu Bayibuli tebiyinza kutegerekeka, kikulembedde abamu obutasaayo mwoyo ku mazima g’abyo amakulu. Ensonga eyetaaga okunyweeza era
122Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedn’okugiddingana buli kiseera eri nti ebyaama bya Bayibuli tebitegeeza nti Mukama yayagala okubikka ku mazima ge, naye tebitegerekeka butegerekesi olw’obunafu bwaffe n’obutamanya ebitutusa mu butategeera mazima. Mukama teyateekawo kkomo mu kutegera bwaffe, wabula ekyo kiri eri ffe. Ebitundu by’ebyawandiikibwa ebyo byetutera okuyitako obuyisi nga tulowooza nti tebitegerekeka, Katonda ayagala tubitegeere nnyo nga ebiroowoozo byaffe gyebitukomya mu kutegerera.” (Education olup. 171) 4. Maanyi ki ag’okozesebwanga banabbi mu mulimu gwabwe? 2Pet 1:21.5. Obubaka bwonna obw’obunnabbi bwangu okutegeera? 1Pet 1:10,11; Dan 9:2Ekinnyonnyola: Kitegerekeka bulungi enti emirundi mingi bannabbi tebategeeranga bubaka bwebayogeranga. Kyabagwaniranga okunonyeza ddala amakulu gabwo. Ne nabbi Danieri eyafuna okwolesebwa okungi era yanonyanga okutegerera ddala amakulu g’obunnabbi obwo. Baani Abasaanidde Okuba Bannabbi? 6. Abantu abalondebwa okuba bannabbi ani abalonda? Amos 7:14,15; 2Pet 1:21.7. Yesu yalabula ekkanisa okwekuuma bantu bangeri ki? Mat 24:11,24Ekinnyonnyola: “Omulimu gw’Omwoyo Omutukuvu guvumisiddwa nnyo olw’ensobi z’abantu, abagamba nti balina omusana, ne booger anti tebeetaaga kulungamizibwa kuva mu kigambo kya Katonda. Ekibafuga bye birowoozo n’entegeera yaabwe bye batwala nga eddoboozi lya Katonda mu mwoyo. Kyokka omwoyo abafuga si ye Mwoyo wa Katonda. Engeri eno ey’okugoberera ebirowoozo byabwe, ne banyooma Ebyawandiikibwa, evaamu
123Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedkutabukatabuka, bulimba na kuzikirira. Ekyo kiyamba kugaziya nkwe za mubi. Olw’okubanga obuweereza bw’Omwoyo Omutukuvu bukulu nnyo eri ekkanisa ya Kristo, eyo eba mu kunkola za Setaani, okuyita mu bulimba bw’abo abasukkiriza n’abalina akajanja, okuleetera omulimu gw’Omwoyo okunyoomebwa n’okuleetera abantu ba Katonda okugayaalirira ensibuko y’amaanyi Mukama waffe yennyini ge yatuwa.” {GC olup. Vii – viii} 8. Otukakasa otya nga ekirabo eky’obunnabbi tekyaweebwa basajja bokka? Ekinnyonnyola: Kug 15:20,21 “Miriamu nnabbi” Ekyabalamuzi 4:4,5 “Debola nnabbi” 2Basek 22:14 “Kuluda nnabbi” Lukka 1:41-43 “Elizabeesi n’ajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu” Bik 21:8,9 “bawala ba Firipo abaana abalagulanga”. Kabonero ki akamu ku bubonero bw’ekkanisa eyasigalawo? 9. Ekkanisa erindirira okukomawo kwa Kristo eneba n’ekirabo eky’obunnabbi? 1Kol 1:4-8Ekinnyonnyola: Okutegeeza kwa Yesu gwe Mwoyo gw’Obunnabbi (Kub 1:10) 10. Kabonero ki akamu ku bubonero bw’ekkanisa eyasigalawo? Kub 12:17; 19:10Mikisa ki egimu egy’ekirabo eky’Obunnabbi? 11. Kiki ekyandibaddwo ng’Omwoyo gw’obunnabbi teguliwo mu kkanisa? Ng.29:1812. Mikisa ki egiweebwa abo abakkiriza obubaka bwa nabbi? Mat 10:41, 2Byom. 20:20
124Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 48 EBIJJUKIZO BY’OMUKRISTAAYO. Olunyiriri Olw’Okujjukira: “Mukolenga bwe mutyo olw’okunjijukiranga nze” Luk 22:19. Ekigendererwa: Okutegeera amakulu g’ebijjukizo Kristo bye yatulekera ku Ssaddaka ye gye yakola ku lwaffe. Ebyanjula Ebijjukizo emirundi mingi bizimbibwa okujjukiza abantu ebintu ebikulu ebyaliwo. Ekkanisa nayo yaweebwa okujjukiza oba ebijjukizo by’ekiweebwayo kya Kristo kye yawaayo ku lwaffe. Ebijjukizo bino bye biruwa? Ekijjukizo ky’okuyitako kyakuumibwanga kitya Isaeri? Kuv 12:3,6-8,11 1. Ani okuyitako kwaffe? 1Kol 5:7Ekinnyonnyola: “Okuyitako kyali kijjukizo era mu ngeri y’emu kifaananyi, nga tekukoma mu kujjukiza bununuzi obwaliwo okuva e Misiri, naye era n’okusonga ku bunnunuzi obukulu Kristo bwe yali agenda okutuukiriza ng’anunula abantu be okuva mu buddu bw’ekibi. Ssaddaaka ey’omwana gw’endiga yasonganga ku ‘Mwana gw’endiga owa Katonda,’ mu oyo mwokka omuli essuubi lyaffe ery’obulokozi. Omwana gw’endiga okuttibwa, ekyo kyokka kyali tekimala; omusaayi gw’endiga gwalinanga okumasirwa ku mifuubeeto; olwo obulungi bw’omusaayi gwa Kristo bulyoke bukole ku meeme. Tuteekwa okukkiriza, so si lwakubanga yafiirira ensi, naye nti yafiirira buli muntu nga ssekinoomu. Tuteekwa okwetwalira obulungi bwa ssaddaaka eno etangirira” (PP. olup 277).
125Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited2. Kiki ekyagendererwa mu migaati egy’okulaga egyabeeranga mu nsinza ez’ekifo ekitukuvu? Lev 24:5-7.Ekinnyonnyola: Gyaali kijjukizo. 3. Gyalaganga ani? Yok 6:354. Ebiweebwayo byonna eby’omu Yeekaalu byasonganga ku ani? Beb 9:13,14; Yok 1:29.Ekinnyonnyola: Abayudaaya bwe baava ku Katonda, ne berabirira ddala empeereza zino ez’emikolo. Empereza Kristo zeyatekaawo yennyini. Mu buli ngeri yonna zaali nga ziraga ku ye era zaali nga zijjudde amakulu ag’ebyomwoyo. Abayudaaya baafiirwa obulamu obw’omwoyo okusinzira ku mikolo gyabwe ne benywereza ku mpisa ezaafa. Beesiganga ebiweebwayo era n’emikolo mu kifo ky’okwesigama ku Oyo ebiweebwayo gwe byalaganga. Waaliwo akabonero ak’amazima mu mpereza ezo, nga byonna biraga ku kusinza Kristo ng’Omulokozi waabwe.” (DA olup. 82). Bijjukizo ki ebirala ebitujjukiza ekiweebwayo kya Kristo? 5. Yesu bwe yali ngatanaba kufa kijjukizo ki kye yateekawo? Mat 26:26-28.Ekinnyonnyola: “Bwe yagamba nti ‘Guno gwe mubiri gwange’ nate nti ‘Guno gwe musaayi gwange’ yali tagambira ddala mubiri gwe na musaayi gwe, naye yabikozesanga obubonero obulina amakulu agategerekeka. Teri makulu malala okugyako ye bweyagamba nti ‘Nze mulyango’, ‘Nze muzabibu’.” Obubonero bungi obwalaganga ku kufa bwe. Yesu bweyateekawo empereza zino nga tanaba kufa, kiraga bulazi nti omugaati n’enviinnyo tebyandibadde ddala mubiri gwe na musaayi gwe. (Memorials of Calvary, olup 14,15) 6. Lwansonga ki Kristo yateekawo ebijjukizo bino eby’omugaati n’envinnyo? Luk 22:19Ekinnyonnyola:
126Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited“Tewasaanidde kubulawo n’omu mu kusembera kubanga omuntu omu atasaana naye waali. Buli muyigirizwa yayitibwa okubeerawo mu lwaatu ku mukolo ogwo, nga ekyo kitegeeza nti buli omu akkiriza Kristo ng’Omulokozi we. Abo bonna abajja ng’okukkiriza kwabwe kuli mu ye, bakuweebwa omukisa ogutagambika. Abo abatafaayo kujja kufuna mikisa gino egy’amazima, balina kinene kye bafiirwa.” (AD. Olup 696) 7. Ekijjukizo kino kyakumala bbanga ki? 1Kol. 11:23-26.Ekinnyonnyola: Embaga ey’okusembera eraga ku kujja kwa Kristo omulundi ogwokubiri. Ekigendererwa kyayo kwekukuumira mu bayigirizwa essuubi lino mu birowoozo byabwe.” (AD. Olup 659). 8. Kiki ekyetaagibwa eri bonna abeegatta mu mukolo guno? 1Kol 11:28.Kijjukizo ki eky’okuweereza Yesu kye yatuwa? 9. Kweteekateeka kwa ngeri ki Yesu kweyatekawo? Yok 13:4-8.Ekinnyonnyola: “Yesu yajja okunaaza emitima okugigya mu bibi.Peetero bwe yagaana Yesu okumunaaza ebigere, olwo yali ng’agaana okulongoosebwa okwa waggulu okwaali kuyita mu kulongoosebwa okwa wansi……….. Yesu bwe yeesiba ekitambala okunaaza obuggya, amalala n’okwekulumbaza ebyaali mu mitima gyabwe. Kino kya kyaali kisingira ddala obukulu okusinga n’okunaaza enfufu y’omubigere byaabwe.” (DA olup 646). “Wano Yesu yali ng’ateekawo ekikolwa eky’eddini. Ekikolwa kya Mukama waffe eky’obukakkamu, kyafuukira ddala omukolo omutukuvu. Gwali gwa kukuumibwa abayigirizwa, bwebatyo basobole okukuumiranga mu birowoozo byabwe ebyokuyiga kye yabayigiriza eky’obuwombeefu.”(DA olup. 650). 10. Kyetagirwa ddala kitya bonna okwebata mu mukolo guno? Yok 13:12-15.Ekinnyonnyola:
127Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedOmukolo guno ogw’embaga ya Mukama waffe guyamba okugyirawo ddala obutategeragana bwonna n’okwemanya ebibaawo mu b’oluganda okubatuusa mukuba n’omutima omukakkamu ogw’okubakulembera buli omu okuweereza mugandawe…… Omukuumi omutukuvu ava mu ggulu abererawo ddala mu kiseera kino okubakubiriza buli omu okwekebera mu mutima gwe okulaba ekibi ekigulimu alyoke aweebwe obukakafu bw’okusonyiyibwa ebibi bye. Kristo ng’ajudde ekisa kye abeerawo okukyuusa ebirowoozo ebiba byonooneddwa amakubo ag’okwerowoozaako. Omwoyo Omutukuvu ayanguya okukyusa ebirowoozo byabo abagoberera eky’okulabirako kya Mukama waabwe.” (DA oluo 650). 11. Yesu asuubiza ki abagoberera eky’okulabirako kye? Yok 13:17.Ekinnyonnyola: Embaga eno tefuuka bufuusi mukolo bukolo eri abo ababa bajjidde mu mwoyo gwennyini ogw’embaga eno. (DA olup 651).
128Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 49 OKUBATIZA Olunyiriri Olw’okujjukira: “Akkiriza n’abatizibwa alirokoka, naye atakkiriza omusango gulimusinga.” Mak 16:16. Ekigendererwa: Okutegeerera ddala amakulu g’okubatiza kwa Bayibuli. Ebyanjula Okutabiza kye kimu ku bijjukizo by’ekkanisa. Gw’emulyango oguyingiza abantu mu kkanisa, era n’engeri ey’okubatiza kwa Bayibuli erina amakulu ag’omwoyo ag’ebuziba. Abamu bonna abaagala okutuuka ku ddala lino kibasanira okutegeerera ddala ekintu kino obulungi. Kristo yassawo okubatiza? 1. Yesu bwe yatandika emirimu gye ogy’okuweereza, mukolo ki gwe yeetekamu yennyini? Era lwaki yakikola? Mat 3:13-152. Kristo ayagala abantu bonna abayingira mu kkanisa babatizibwe? Mat 28:19; Mak 16:16.Ekinnyonnyola: Kristo okubatiza yakufuula akabonero k’okuyingira mu bwakabaka obw’omwoyo. Abo bonna abaagala okufugibwa Kitaffe, Omwana n’Omwoyo Omutukuvu kibasaanira okukkiriza ekintu kino. Omuntu ngatanaba kukkirizibwa mu kkanisa, nga tannaba kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda obw’omwoyo, kimusaanira okufunira ddala erinnya lya Katonda ow’amazima nti “Mukama bwe butuukirivu bwaffe.” (65 olup 91) 3. Abayigiriza ekiragiro kino baakigoberera? Bik 2:38.Kubatiza kwa ngeri ki okutuufu? 4. Kubatiza kwangeri ki Bayibuli kw’ekkiriza? Mak 1:5.5. Lwansonga ki Yokaana Omubatiza yalonda omugga Yoludaani ye gyaba abatiriza nga? Yok 3:23.
129Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited6. Nnyonnyola okubatizibwa kw’Omwesiyopa omulaawe. Bik 8:38,39.Ekinnyonnyola: Waliwo engeri emu yokka ey’okubatiza emanyiddwa mu Bayibuli. Pawulo naye yamanya engeri emu ey’okubatiza. Bef 4:5. Bulijjo agenda okubatizibwa agenda mu mazzi nannyikibwa era n’avaayo mu mazzi. Wateekwa okubaawo amazzi agamala okumunnyikamu. Okubatiza okw’okufukako ku kyenyi kwaali tekumanyiddwa kkanisa okutuusiza ddala nga wayisewo emyaka mingi nga Yesu amaze okugenda n’olwensonga eyo okubatiza okw’engeri eyo Bayibuli si kwesemba. Makulu ki ag’okubatiza? 7. Okunnyika mu mazzi kitegeeza ki? Bal 6:3-5Ekinnyonnyola: Bwe tukkiriza Yesu nga ye Mulokozi waffe olwo tuba tuteekwa buteekwa okufa ku kibi. Ekibi kiba tekikyatusendasenda. Omuntu afudde kimusaanira kuziikibwa. Naye guba musango okuziika omuntu akyaali omulamu. Bwekityo n’omuntu oyo aziikibwa mu mazzi, kimusaanira okuba nga afudde mu kibi. Okubatizibwa nga okyalina ebibi, ebikisidwa, kuba kwonoona amakulu amatuufu ag’okubatizibwa. 8. Okubatiza kunnyonnyolwa mu ngeri ki endala? Bik 22:16; Tit 3:5Omuntu asaanidde kuba atya nga tanabatizibwa? 9. Kiki ekyetaagibwa ng’okubatizibwa tekunabawo? Mat 3:5,610.Kitusaanira kukkiriza ddala tutya nga tetunabatizibwa? Bik. 8:37.11.Kitusaanira kulowooza tutya kwebyo byetuyigirizibwa olw’okubatizibwa? Bik 2:41Ekinnyonnyola:
130Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedByonna bye tuyigirizibwa kitusaanira okubiyiga obulungi n’okubikkiriza. Ebikolwa eky’okubatizibwa tekirina bya magero bye kitwongerako. Kabonero bubonero ak’okuggulu akalaga ebyo ebiri mu mutima gwaffe. Bwe bujulizi bwe tulaga eri nsi nti tufuukidde ddala Abakristaayo ab’amazima. Olw’ensonga eyo ebiyigirizibwa byonna ebya Bayibuli bisaanidde okuyigibwa obulungi ddala nga okubatizibwa tekunaba kubaawo. 12.Buvunanyizibwa ki oyo Omukristaayo amaze okubatizibwa bwaba yettisse? Ekinnyonnyola: Obweyamo bwe tuwa mu kubatizibwa bulina kinene kye bulaga. Mu linnya lya Kitaffe, n’Omwoyo Omutukirivu, tuziikibwa okufanana nga Kristo bwe yaziikibwa mu kufa kwe, ate ne tuzuukira era okufanana nga ye bwe yazuukira, olwo ne tubeera mu bulamu obugya. Obulamu bwaffe olwo buba nga bwetooloddwa obulamu bwa Kristo, buli kiseera ng’omukkiriza akitwala mu mutima gwe nti yeewonga eri Katonda, Kristo n’Omwoyo omutuukirivu….. nga yafa eri ensi. Kimusaanira okubeerawo ku lwa Mukama era nga y’amukozesa mu bintu byonna nga teyerabira nti alina akabonero ka Katonda era ng’ali mu bwakabaka bwa Kristo era ng’agabanye ku buzalirwana obutukuvu. Kimusaanira okweweerayo ddala yenna eri Katonda ne byonna byalina, era nga ebintu byonna byakola abikola okugulumizisa erinnya lya Katonda,” (6T olup 98,99). Omukkiriza omugya eyakabatizibwa era yeettika obuvunanyizibwa bw’ekkanisa. Yeeyama okuyamba emirimu gyayo. Ekitundu kye eky’ekkumi kiyamba omulimu gw’ekkanisa ogwabaweereza, ebirabo bye biyamba okugaziya obwakabaka bwa Katonda. Alina omulimu ogw’okukola eri ab’ekkanisa abalala abali mu kkanisa. Kimuggwanira okubeerangawo mu nkun’gana zonna alyoke afunenga okulungamizibwa mu mulimu gw’okulokola abantu mu nnaku zino ez’enkomerero.
131Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 50 ENJIRI OKUTUUKA MU NSI YONNA. Olunyiriri Olw’okujjukira: “Kale mugende mu nsi zonna mubuulire enjiri eri amawanga gonna.” Mak 16:15 Ekigendererwa: Okulaga ekkanisa bwerina omulimu omunene ogw’okukola mu nsi yonna oguyinza okumalirizibwa singa buli mukkiriza akola ebitundu kye. Ebyanjula “Kubanga Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gyetuli, kubanga bwetwali nga tukyalina ebibi Kristo n’atufiirira.” (Bal 5:8) Amazima gano amakulu geetaaga okubuulirwa mu nsi yonna. Ekkanisa yaweebwa omukisa guno okukola omulimo guno. Kirango ki eky’enjiri? 1. Enjiri kyeki? Bal 1:;162. Bameka eb’okuwulira obubaka obw’enjiri? Mak 16:15.Ekinnyonnyola: Ekirango ky’enjiri y’emu ku mpisa ezisangibwa mu bwakabaka bwa Kristo. Abayigirizwa bali bateekwa kukola n’obunyikivu olw’okulokola emyoyo, nga bayita abantu bonna n’ekisa. Tebaali bakulindirira bantu nga bebaba bajja gyebali; baali baakugenda bo bennyini eri abantu nga babatwalira obubaka.” (AA olup 28). 3. Enjiri yakubuulirwa mu ngeri ki? Bal 10:14,154. Ku kintu ki ekikulu ekkanisa kweyasigamye esobole okutuukiriza ekiragiro kya Kristo kino? Mat. 24:14.Ekinnyonnyola: Abantu b’ekkanisa singa banaakola omulimu gwabwe guno ogwaaweebwa nga bagukola mu bitundu ebiri mu kwetaaga mu nsi zaabwe n’ensi endala olw’okutuukiriza okiragiro ky’enjiri, ensi yonna
132Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedejja kulabulwa mangu era Mukama waffe Yesu wakukomawo ku nsi kuno n’amaanyi n’ekitiibwa ekinene.” (AA olup 111). Biki ebinaava mu kubuulira enjiri? 5. Yesu yateekawo atya ekyokulabirako mu kubulira enjiri? Yok 3:1-5; Yok 4:7-15, 28-39; Luk 19:1-10.Ekinnyonnyola: Omukazi (ku luzzi lwe sukali) yajjula essanyu bweyali awuliriza ebigambo bya Kristo. Ebintu byonna ebyamubikkulirwa byamutengula. Yalekawo ensuwa ye ey’amazzi naddayo mukibuga okutwalira abantu abalala obubaka. Yesu yamanya lwaki omukazi oyo yaddayo mu kibuga nalekawo ensuwa ye ey’amazzi olw’ensonga nti yategeera ebyo byonna bye yamunnyonnyola. Yeegomba nnyo mu mitima gwe okufuna amazzi amalamu era olw’ensonga eyo kye yava yeerabira n’ekimuleese ku luzzi, era n’eyerabira ennyonta omulokozi gye yalina. Mu mutima gwe nga jjudde essanyu, yayanguwa mangu nnyo okugenda okutwlira abantu abalala obubaka bweyali afunye obw’omuwendo omunene.” (DA olup 191). 6. Abayigirizwa ba Kristo bagulumiza Omwoyo gwe yalina mu kubuulira abantu? Yok 1:41,45.Ekinnyonnyola: Olw’okuyita Yokaana, Adereya ne Simoni, Filipo ne Nasaneri, olwo ekkanisa yAbakristaayo yali esimbiddwa ku musingi, Yokaana yaleetayo abalala babiri eri Kristo. Omu ku bano nga ye Adereya, naye nayita mugandawe n’amuleeta eri Kristo. Olwo ne Filipo naye nayitibwa, nagenda okunoonya Nasanaeri. Eby’okulabirako bino bisaana okuyigiriza nti kikulu nnyo okukolera abantu ab’ekika kyaffe, mikwano gyaffe ne balirwana baffe. Webali bangi abegamba nti balina Kristo mu bulamu bwabwe, naye nga tebabangako kyebakola okuleeta omuntu omu eri omulokozi. Omulimu gwonna bagulekera basumba na babulizi ba njiri. Bayinza okuba nga ddala bayitibwa okukkiriza Katonda, naye nga tebayinza kukola mulimu Katonda gweyalekera ab’ekkanisa okugukola.” (DA olup.141). 7. Kiki Yesu kyeyagamba omu ku bakyuufu be okukola? Mak 5:19
133Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited8. Ekkanisa eyasooka yakola etya ekiragiro kya Yesu eky’okubuulira enjiri? Bik 8:4; Bik 17:6; Bak 1:23.9. Abakristaayo abaasooka bannyonnyola ssanyu ki lye baafuna mukukola kwabwe? 2Kol 5:14. (Ekitundu ekisooka)Mikisa ki egifunibwa abo abakyuusa abantu? 10. Kusuubiza ki okuweebwa abakyuusa abantu? Ng. 11:30; Dan 12:3.Ekinnyonnyola: “Toli wakulindirira kumala kufuna ebintu ebikulu eby’ekitalo olyooke ogende okukolera Katonda. Tosaanidde kuba nakirowoozo kyonna ku nsi nga bwebekulowoozako. Obulamu bwo obwa buli lunaku bwe bukakafu obw’obuloongofu era n’obugumu bw’okukkiriza kwe; n’abantu abalala nabo b’akukkiriza nti ojja kubayamba era n’okukola kwo tekujja kulemwa n’akatono” (SC olup 63). 11. Okuwa obujulizi bwaffe kugazi kutya? Bik 1:8, Kub. 14:6; Muk 11:1Ekinnyonnyola: Tekimala okuwaayo ekiseera kyaffe kyokka, oba amaanyi gaffe, oba ensimbi zaffe. Bangi kibabeerera kyangu okuwaayo ku bye balina okusinga okwewaayo bo bennyini. Bino byonna tebigenda kubalibwa kubeera bikulu eri oyo eyawaayo ebibye byonna ate naye yennyini ku lwaffe. Nga Yesu Kristo bwali ebintu byonna, tufuuke ssaddaaka ennamu era n’ekirabo ekisiimibwa” (Light on life’s Duties, olup 46). 12. Bukakafu ki obw’okulaba emikisa obusuubizibwa oyo akyuusa abantu? Zab 126:6, Mat 28:20 (Ekitundu ekisembayo).Ekinnyonnyola: “Abakozi ba Kristo tebasaanidde kulowoolereza by’ebanayogera era n’ebinaava mu kulemwa kwabwe mu mulimu guno. Mukama waffe Yesu atumala mu bintu byonna, Omwoyo gwe Omutukuvu yajja yajja okuba omulungamya waffe, kasita tuneeteeka mu mikono gye, okubeera amakubo amuyisibwa omusana, olwo engeri zaffe ez’okukoleramu obulungi tezijja kulemwa n’akatono. Kitusaanira okumusemberera tufune ekisa kye ekitaliko kkomo” (GW olup 19).
134Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 51. EBISUUBIZO ERI ABAWANGUZI Olunyiriri Olw’okujjukira: Awangula alisikira ebyo. Kub 21:7. Ekigendererwa: Okulaga nti okukola kw’omuwanguzi si kwa bwerere. Ebyanjula Obulamu buno bwebuteekateeka obulamu obugenda okujja. Naye ebyokuyiga ebisangibwa mu bwo bisaanidde okuygibwa. Empisa zisanira okuba ezituukiridde. Buli kibi kisaanidde okuwangulibwa. Katonda yateekawo amakubo bino byonna mwe bisobokera. Kyetaagibwa okuba omuwanguzi? 1. Biki ebirabulwa abawanguzi? Bal 12:21.Ekinnyonnyola: Obubi obuli mu nsi, bunnyonnyolebwako mu 1Yok 2:16 nti “okwegomba kw’omubiri n’okwegomba kw’amaaso n’okwegulumiza okw’obulamu.” Buli kiseera kitusaanira okwongera okwekuuma ebintu bino bireme kutuwangula. “Okulemwa okumu kuti omuwanguzi kwalemwa kuleka obulamu bwe nga tebukuumiddwa. Empisa emu embi bw’eba nga teziyiziddwa, efuna amaanyi n’efuuka nga olujegere olw’ekyuuma olusibira ddala omuntu okumumalawo” (MH olup 510) 2. Ani yekka ayinza okuwangula ensi? 1Yok 5:4 (Ekitundu ekisooka)Ekinnyonnyola: Singa Abakristaayo bonna banakuuma emibiri gyabwe era emize gyabwe gyonna ne gikuumwa n’ekirowoozo nti Katonda ayagala bakuume amateeka agafuna obulamu, kale mu ngeri eyo bajja kufuna emikisa gy’obulamu olw’okulwanyisa, Setaani, era mu linnya ly’oyo eyawangula ebintu byonna ku lwabwe bonna abalulimu” (4, olup 35,36) “Okuyita mu Kristo yekka, kyekisobozesa abantu okufuna obuwanguzi. Kubanga awatali Nze temuliko kyemuyinza kukola”. Yok 15:5.
135Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited3. Kiki kyetusaanidde okukola tusobole okuwangula ensi? 1Yok 5:4 (Ekitundu ekisembayo)Ekinnyonnyola: Okwekuuma kwokka kwe tuyinza okwekuuma eri ekibi ye Kristo okubeera mu mitima gyaffe olw’obutuukirivu bwe. Okugyako nga twegattira ddala ne Katonda tetuyinza kuwangula bikemo eby’ekibi. Tuyinza okulekayo empisa nnyingi embi okumala akaseera, nga tetukyakolagana ne Setaani, naye awatali kwegattira ddala ku Katonda, nga twejemulula fenna gyaali, mpola mpola tujja kugenda nga tuwangulwa. Okugyako nga tweraga eri Kristo buli kiseera era n’okwogera okunyumyanga naye buli kiseera, tetuyinza kugumira mulabe era ajja kututwala okutusiza ddala ku nkomerero. (DA olup 324) 4. Ani atuwa obuwanguzi? 1Kol 15:575. Kiki ekyetaagibwa tulyoke tubeere n’ammanyi okuwangula Setaani? Kub 12:10,11.Ekinnyonnyola: Abo abawangula nga Kristo bweyawangula, kibasaanira okwekuuma bokka eri emitego gya Setaani…… Bangi abeegomba okufuna empeera n’okwegaanyisa bokka nga Omununuzi waabwe bweyakola. Tujja kuyita mu buwulize na kukola nnyo tusobole okuwangula nga Kristo bwe yawangula.” (3T olup 491). Tufuuka abawanguzi olw’okuyamba abantu abalala nabo okuwangula olw’omusaayi gw’Omwana gw’endiga n’olwekigambo eky’okutegeeza kwaffe okukuuma mateeka ga Katonda kutuusa mu buwulize era n’okuwereza kwaffe okukkirizibwa Katonda.” (7BC olup. 974). Mpeera ki ey’abawanguzi? 6. Baani abalirya ku muti ogw’obulamu? Kub. 2:77. Bantu ba ngeri ki okufa okwookubiri be kutalinako buyinza? Kub 2:11.
136Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited8. Emaanu eyakwekebwa eterekeddwa baani? Kub. 2:17.9. Baani abalyambazibwa engoye enjeru?Kub 3:5.Ekinnyonnyola: Buli kiseera ebigambo bya bamalayika bizzamu amaanyi emitima egiba ginafuwa egy’ebesigwa, ne bikuuma byabwe nga biri waggulu w’ebintu eby’ensi, era ne bibakulembera okuyita mu kukkiriza okutunula ku ngoye enjeru, engule, amatabi g’enkindu eby’obuwanguzi byebalifuna nga betoolodde namulondo ya Katonda ennene.” (AA olup 153). 10.Baani abalifuna erinnya eriggya? Kub 3:1211.Baani abalituula awamu ne Kristo ku ntebe ye oy’obwakabaka? Kub. 3:21Ekinnyonnyola: Engule ey’obulamu eriweebwa abo bokka abawanguzi. (5T olup 71) 12.Mu kisuubizo, ki omugatibwa byonna abawanguzi byebalifuna? Kub 21:7.Ekinnyonnyola: Eriiso byeritalabangako, n’oku byekutawulirangako, n’ebitayingiranga mu mutima gwa muntu, byonna ebyo Katonda bye yateekerateekera abamwagala. 1Kol 2:9 “Obugagga bwonna obw’omu ggulu bugenda kwanjuluzibwa eri abanunule basobole okubwekkaanya.” (GC olup 677) Ebiseera eby’omu maaso nga byakitalo obulungi! Byonna ebyo biterekeddwa abawanguzi. N’olwensonga eyo osaanidde okuba omuwanguzi!
137Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 52 OKUYITA MU BYOKUYIGA BYONNA EBIYIGIDDWA Olunyiriri Olw’okujjukira; Ddamu ennyiriri zonna ez’okujjukira era owe n’ebyawandiikibwa gyezisangibwa. Ekigendererwa: Okusobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga ebiba bibuuziddwa, era n’okumanya ebyokuyiga mwebigiddwa. Ebyanjula Bw’oba nga tosobola kuddamu bibuuzo bino, ddamu ebyokuyiga omugiddwa ebibuuzo bino obiyigire ddala bulungi. 1. Obuwanika bw’e kikristaayo kyeki? 2. Ekitundu eky’ekkumi okiwa otya? 3. Omukristaayo asaanidde kweyisa atya eri gavumenti ye? 4. Omugoberezi wa Kristo asana kukola ki amateeka ag’omu ggulu n’amateeka ag’omu bwegaba nga gakonagana? 5. Mulimu ki Kristo gwakola mu ggulu mu kiseera kino? Omulimo guno ggwe gukukwatako gutya? 6. Ddamu obubaka bwa Katonda obulabula ensi eno obukomererayo. 7. Tulimanya tutya nga ekiseera ekyatuweebwa okwenenyezaamu kiweddeko? 8. Enkomerero y’ababi eriba etya? 9. Lwaki ababi tebalifuna mukisa gwakubiri kwenenyezamu? 10. Ensi empya Katonda gyeyatusuubiza eriba ya ngeri ki? 11. Nnyonnyola Yerusalemi ekiggya.
138Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited12. Lwaki ebirabo eby’omwoyo byaweebwa ekkanisa? 13. Nnyonnyola ebirabo eby’Omwoyo ebisingira ddala obukulu. 14. Kigendererwa ki eky’ekirabo eky’obunnabbi? 15. Yogera ekyawandiikibwa ekiraga nti ekirabo ekyobunabbi kyakulabika mu kkanisa eyasigalawo. 16. Bijjukizo ki Yesu byeyatekerawo ekkanisa y’Abakristaayo? 17. Kigendererwa ki ekyabuli kijjukizo? 18. Lwasonga ki oyagala okubatizibwa? 19. Enjiri yakubuulirwa etya mu nsi yonna? 20. Nnyonnyola emikisa egirifunibwa omuwanguzi. Ekinnyonnyola: Ebibuuzo bino biddingane era by’osanga nga bizibu, yongera okubiyiga n’okubyekkaanya.
Search
Read the Text Version
- 1
- 2
- 3
- 4
- 5
- 6
- 7
- 8
- 9
- 10
- 11
- 12
- 13
- 14
- 15
- 16
- 17
- 18
- 19
- 20
- 21
- 22
- 23
- 24
- 25
- 26
- 27
- 28
- 29
- 30
- 31
- 32
- 33
- 34
- 35
- 36
- 37
- 38
- 39
- 40
- 41
- 42
- 43
- 44
- 45
- 46
- 47
- 48
- 49
- 50
- 51
- 52
- 53
- 54
- 55
- 56
- 57
- 58
- 59
- 60
- 61
- 62
- 63
- 64
- 65
- 66
- 67
- 68
- 69
- 70
- 71
- 72
- 73
- 74
- 75
- 76
- 77
- 78
- 79
- 80
- 81
- 82
- 83
- 84
- 85
- 86
- 87
- 88
- 89
- 90
- 91
- 92
- 93
- 94
- 95
- 96
- 97
- 98
- 99
- 100
- 101
- 102
- 103
- 104
- 105
- 106
- 107
- 108
- 109
- 110
- 111
- 112
- 113
- 114
- 115
- 116
- 117
- 118
- 119
- 120
- 121
- 122
- 123
- 124
- 125
- 126
- 127
- 128
- 129
- 130
- 131
- 132
- 133
- 134
- 135
- 136
- 137
- 138