51Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 15 YESU NG’AKOMAWO OMULUNDI OGWOOKUBIRI. Olunyiriri olw’okujjukira: “Ndikomawo ne mbatwala gyendi; nze gyendi nammwe mubeere eyo.” Yok. 14:3 Ekigendererwa: Okutegeera ensonga ekomyawo Kristo omulundi ogwookubiri era n’engeri ey’okujjakwe. Kyetagibwa nnyo okweteekerateekera olunaku olwo. Ebyanjula Obubonero mu ggulu ne mu nsi butegeeza nti Yesu ajja omulundi ogwookubiri. Olw’okufa kwe yafa ku musalaba, kimwetagisa okukomawo omulundi ogwookubiri okuwa abamukkiriza empeera yaabwe ey’okukkiriza. Tukakasa ng’alikomawo nate? 1. Tukakasa tutya nga Kristo wa kukomawo omulundi ogwookubiri? Yok 14:3.2. Kintu ki ekikulu okwesigamizibwa okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri? Beb 9:28.3. Okuggyako Kristo, waliwo abalala abalagula ku kukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri? Yud. 1:14,15 ; Yob 19:25-27; Zab 50:3.Lwaki waakukomawo? 4. Nsonga ki enkulu ey’okukomyawo Kristo? Zab. 50:55. Abatukuvu bakukungaanyizibwa batya? Mat. 24:31; 1Bases. 4:16,17.Alijja atya.
52Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited6. Tuyinza okutegeera engeri nga bw’alijja? Bak. 1:9-11.7. Bameka abalimulaba ng’akomamwo? Kub. 1:78. Okujjakwe kugerageranyizibwa naki? Mat. 24:27.9. Okujjakwe kuliba kwakitiibwa kutya? Mat. 16:27; Mat. 24:30; Luk.9:26Biki Eby’okubaawo mu kujja kwe? 10.Biki eby’okuba kw’abo abanaaba tebeteeseteese? Kub. 6:15-17; 2Bases1:7-911.Olunaku luno lwakuleeteraki abo abaliba beetegese? Is. 25:9; Mat. 25:34.12.Biki ebinaava mu kisuubizo eky’okujja kwe gy’oli? 1Yok3:2,3.
53Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 16. OKUSALA OMUSANGO. Olunyiriri Olw’Okujjukira: “Kubanga ffe ffenna kiteugwanira okulabisibwa Kristo waalisalira omusango” 2Kol. 5:10. Ekigendererwa: Okutegeera lwaki Omusango gwakubaawo n’okulowooza kubipimo ebyetaagibwa era n’okumanya Omuwolereza bwaliwo. Ebyanjula Kristo waakujjira mu maanyi n’ekitiibwa okutwala abaana be gyaali. Naye abantu be bennyini ajja kumala kusooka kubalonda. Kyekiberedde nti okusala omusango kwakubawo nga Yesu tannakomawo. Kintu ki ekikulu eky’okubaawo? 1. Kiki Katonda kyeyateerawo abantu bonna? Beb 9:27.2. Baani ob’okusalirwa omusango? Mub. 3:17; 2Kol 5:103. Okusala omusango kwakwekenenyezebwa kutya? Mub. 12:14.4. Mu lulimi ki olutegerekeka entandikwa y’okusala omusango mwennyonnyolerwa? Dan 7:10.5. Abantu bakusalirwa omusango okuva mwebyo ebyawandiikibwa ku bulamu bwabwe? Kub. 20:10.6. Kiki ekirisinziirwako okusala omusango? Yak 2:11,12Okusala omusango kwakubaawo ddi? 7. Omusango gwakutandika nga Kristo tannakomawo ku nsi? Mat 16:27
54Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited8. Kiragiro ki ekiraga nga emisango egyabo abalamu bwe girisalibwa nga Yesu tannakomawo ku nsi? Kub: 22:11,129. Ensi yakulabulwa etya e ntandikwa y’okusala omusango? Kub. 14:6,7.Ani Ow’okuba Omuwolereza? 10.Ani eyeewaayo okutuwolereza mu kusalirwa omusango? 1Yok 2:111.Omuwolereza ono atusaba bisale ki eby’okutuwolereza? Mat. 10:32,3312.Kiki ekyetaagibwa amannya gaffe gasobole okukuumibwa mu Kitabo eby’Obulamu? Okuddamu: Kubeera bawanguzi; Yesu agamba abawanguzi nti “Sirisangula nakatondo linnya lyabwe mu kitabo eky’obulamu”.
55Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 17 AMATEEKA GA KATONDA Olunyiriri Olw’Okujjukira: “Etteeka lya Mukama lyatuukirira, erikomyawo emmeeme” Zab. 19:7 Ekigendererwa: Okutegeera ebigendererwa by’amatteeka ga Katonda n’okutuukirira kwago. Ebyanjula. Okusala omusango kuba kw’amazima bwekuba nga kwesigamizibwa ku matteeka. Amateeka ga Katonda nga bwe gali ekisinzirwako mu kusala omusango ogw’obulamu n’ebikolwa by’abantu kyetaagibwa nnyo okugayiga obulungi. Amateeka ga kusangibwa wa? 1. Omulimu gw’omuntu gwonna gwe guli wa? Mub 12:132. Katonda yabikkula atya amateeka ge eri omuntu? Ma 4:12, 133. Kutegeezaki okuweebwa mu mateeka ga Katonda? Zab. 19:7,8; Bal.7:12Kristo yayogera ki mu mateeka? 4. Kristo yalowooza atya ku mateeka ga Katonda? Zab. 40:7,8; Mat.5:175. Kristo yakubiriza abalala okukuuma amateeka ga Katonda? Mat.19:17.6. Amateeka galaga ki? Bal. 3:20; 1 Yol. 3:4.Kitundu ki eky’amateeka ekisaana okukuumibwa? 7. Kitundu ki ekyetaagibwa okukuuma ku mateeka ga Katonda? Yak.2:10,11.
56Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited8. Mu ngeri ki abamu mwebeewalira obutakwata mateeka ga Katonda? Mat. 15:3-9.9. Amateeka ga Katonda gakumala bbanga ki? Zab. 117:7,8.Omuntu ayinza okukuuma amateeka ga Katonda? 10. Kristo yabikkula atya amakulu ag’ebuziba ag’amateeka ga Katonda? Mat. 5:21-28.11. Omuntu mu maanyi ge ku bubwe ayinza okukuuma amateeka gano? Bal. 7:14-18.12. Nteekateeka ki eyakolebwa okuyamba omuntu mu bunagubwe? Bal. 8:3, 4
57Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 18. AMATEEKA N’ENJIRI Olunyiriri Olw’Okujjukira: “Kubanga enjiri tenkwasa nsonyi, kubanga ge maanyi ga Katonda olw’okulokola buli akkiriza.” Bal. 1:16. Ekigendererwa: Okulaga nga Enjiri ya Kristo bwetegyawo mateeka ga Katonda agenkalakkalira wabula nga ewa omuntu amaanyi okugakuumanga. Ebyanjula. Amateeka ga Katonda (Amateeka Ekkumi) ly’eddala ery’obutuukirivu. Kristo teyajja kuggyawo mateeka wabula okugagulumiza era n’okusobozesa abantu okugakuuma. Waliwo amateeka agaali ag’ekiseera obuseera agagibwawo Kristo bweyafa ku musalaba e Gologoosa. Amateeka ag’emikolo gaavawa? 1. Okuggyawo amateeka ekkumi waliwo amateeka amalala agaweebwa? Beb. 10:12. Ebiweebwayo byasonganga ku ani? Is. 53:2; Yok.1:293. Kiki ekyakomya emikolo egyedda awamu n’ebiweebwayo? Bak. 2:14, Bef. 1:15,164. Kristo bwe yafa ku musalaba, kiki ekyaliwo mu yeekaalu? Mat 7:51.5. Okufa kwa Kristo kwakyusa Amateeka Ekkumi? Zab. 19:7,8; Zab. 111:7; Mat. 5:17,18.6. Amateeka gafaananyizibwa naki? Bag 3:24.
58Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedMugaso ki ogw’Enjiri? 7. Enjiri kye ki? Bal. 1:168. Okukkiriza Enjiri kukola ki Amateeka ga Katonda? Bal. 3:31.9. Omukristaayo ayinza atya okwewala okusingibwa omusango ogw’Amateeka? Bal. 6:14.Makulu ki ag’Okubeera mu kisa? 10. Engeri ey’okubeera mu kisa ewa omuntu ebbeetu ery’okukola ekibi? Bal. 6:1511. Katonda ateeka wa amateeka ge eri abo abatambulira mu kisa? Beb 8:10.12. Omutume Pawulo annyonnyola atya eby’obulamu bwe ng’a atambulira mu Njiri? Baf. 3:8,9; Bag.2:20.
59Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 19. OKWENENYA, OKWATULA, N’OKUSONYIYIBWA. Olunyiriri olw’Okujjukira: “Bwetwatula ebibi byaffe ye wa mazima okutusonyiwa ebibi byaffe n’okutunazaako byonna ebitali bya butuukirivu.” 1Yok.1:9 Ekigendererwa: Okulaga amadaala omwonoonyi gayitamu okutuuka eri Kristo. Ebyanjula Enjiri y’ewa omwononyi ekkubo lyayitamu okukuuma amatteeka ekkumi amatukuvu. Bwatyo nakkirizibwa mu maaso ga Katonda. Naye kino tayinza kukikola mu maanyige ku bubwe. Kimusaanira okubeera ne Yesu mu bulamu bwe. Go amadaala omwonoonyi mwayita okutuuka eri Kristo ge galuwa? Omuntu yeenenya atya? 1. Okwenenya kwetaagibwa mu nteekateeka ey’obulokozi? Bik 17:30Ekinnyonnyola: “Okwenenya ly’eddaala erisooka okukwatibwa abo abaagala okudda eri Katonda. Kino teri muntu yenna ayinza kukikolera munne. Buli omu kimusaanira okwewombeeka mu maaso ga Katonda, n’okuggyawo ebifaananyi byaffe. Bwetukola byonna byetusaanira okukola, Katonda nalyoka atulaga obulokozi bwe. (PP. Olup 590). 2. Omuntu kimusaanira kukola ki ebibi bye okusangulibwa? Bik 3:193. Omwonoonyi akulemberwa atya okutuuka ku kwenenya? Bal.2:4Okwatula kyeki? 4. Kiki ekinaddirira okwenenya okwamazima? Ng. 28:13.Ekinnyonnyola: Okwatula tekuyinza kukkirizibwa Katonda awatali kusooka kyenenya okwamazima n’okudda obuggya. Kisaanidde okubaawo obukyuufu mu
60Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedbulamu; ebintu byonna ebiwakanagana ne Katonda kibisaanira okugibwawo. Bino byebinaava mu kunakuwalira ekibi okw’amazima” SC Olup 30. 5. Ani assanidde okwatulirwa? Zab 32:56. Okwatula kusaanidde kuberera ddala kutya? Lev 5:57. Bukakafu ki obuweebwa nti ebibi ebyenenyezebwa era ne byatulibwa nga Katonda ajja kubisonyiwa? 1Yok 1:9.8. Kiki Katonda kyeyasuubiza okukola ku bibi byaffe? Mik 7:19, Zab 103:12.9. Oyo asonyiyiddwa ebibi bye abeera mu ngeri ki? Zab 32:1-210. Katonda okutusonyiwa kyesigamizibwa ku bantu balala? Mak 11:25; Mat 6:14,15.Ekinnyonnyola: “Tetusonyiyibwa kubanga naffe tusonyiwa, naye tusonyiyibwa nga ffe bwetusonyiwa” COL Olup. 251. 11. Katonda alijjukira ebibi byaffe nate? Yer 31:3412. Katonda wakusonyiyira ddala atya omwonoonyi? Is 55:7.
61Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 20 OKUKYUKA N’OKUZAALIBWA OBUGGYA Olunyiriri Olw’Okujjukira: “Bwemutakyuka……..temuliyingira nakatono mu bwakabaka obw’omu ggulu” Mat 18:3 Ekigendererwa: Okulaga nti okukyuuka kitegeeza obukyuufu obw’omu mutima. Okuva mu kukola ebibi n’okudda mu butukirivu, nga kwekuzaalibwa obuggya. Ebyanjula Omwonoonyi ajja eri Katonda lwakumala kwetegereza bibi bye, nabyatulira ddala era n’okubireka. Awo natwala okusubiza kwa Katonda nti asonyiyiddwa era nga ebibi bye bigiddwawo. Olwo aba ayingidde mu bulamu obukyufu. Ngeri ki ey’omutima ogw’obuzaliranwa? 1. Omutima gw’omuntu ogwamutonderwamu gufaanana gutya? Yer 17:92. Omuntu mubi atya mubuzaaliranwa bwe? Is 64:63. Waliwo ayinza okubalibwa nga mutuukirivu? Bal. 3:10 4. Biki ebinavaamu singa omuntu alemeddeyo mu ngeri eyo? Yak 1:155. Olw’okufuba kw’omuntu ye yennyini ayinza okukyusa engeri ye? Yob 14:4; Yer. 2:22; Yer. 13:23.Omutima guzibwa gutya obugya? 6. Omuntu nga bw’atasobola kwerokola yekka, ani ayinza okumulokola? Beb. 7:257. Yesu atulokola atya? Ezek. 36:26,27.
62Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited8. Mu ngeri ki Yesu mweyannyonnyolera ebintu bino ebiggya?Yok.3:3; Mat. 18:3Ekinnyonnyola: “Kikusaanira okuba n’obulamu obugya obuva mu ggulu nga tonnaba kusanyukira bya mu ggulu.” DA. Olup. 171. 9. Obukyafu buno bubaawo butya? 1Pet. 1:23Okukyuka kyeki? 10.Kiki ekibaawo ng’omuntu akyuukidde ddala? 2 Kol 5:17. 11.Bukakafu ki obw’okukyuka? 1Yok 3:1412.Kiki ekisaanidde okulabika mu bulamu bw’omuntu oyo akyukidde ddala? 1Pet 2:1,2
63Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 21. OBUWULIZE. Olunyiriri Olw’Okujjukira “Obanga munjagala munakwatanga amateeka gange.” Yok 14:15. Ekigendererwa: Okulaga Kristo kyasuubira mu baana be abawulize. Ebyanjula Singa nga obukyufu bw’omu mutima bwa mazima era nga b’okuzaalibwa obugya kutuukiddwako, olw’obuyiza bwa Kristo, obulamu bw’omuntu bwakulaga ekifaananyi ekigya. Kristo yali muwulize? 1. Kiki ekyagendererwa mu kuwandiika obulamu bwa Kristo? 1Pet 2:21; 1Yok 2:62. Kyakulabirako ki eky’obuwulize Kristo kye yatulaga? Baf. 3:83. Biki ebyaava mu buwulize bwe? Beb. 2:18.Kyakulabirako ki ekirala ekituweebwa? 4. Ibulayimu yagondera ekiragiro kya Katonda okuva mu nsi ye? Lub. 12:1,45. Obuwulize bwa Ibulayimu bwaali bwakibala kyaki? Beb. 11:86. Kiragiro ki ekirala Katonda kye yamuwa? Lub. 22:27. Katonda yeettegereza atya obuwulize bwa Ibulayimu? Lub. 22:16-18Mu ki mwetulagira okwagala kwaffe eri katonda? 8. Okukkiriza okw’amazima kunnyonnyolwa kutya? Yak. 2:17-24.
64Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited9. Biki Kristo by’asuubira mw’abo abeegamba nti bamwagala? Yok. 14:1510. Omukwano ne Kristo gunywezebwa naki? Yok 15:14.11. Bukakafu ki obutulaga nti twagalira ddala Katonda? 1Yok.5:3; 1Yok2:3-5.12. Waliwo kye tuyinza okuzza mu kifo ky’obuwulize? 1Sam. 15:22.Ekinnyonnyola:“Obuwulize obw’amazima buviira ddala mu mutima. Gwe mulimu ogw’omu mutima ogukolwa ne Kristo. Bwetunamwewa, ajja kwegatta mu birowoozo byaffe n’ebigendererwa byaffe, alyoke alugamye emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe okukolanga ebyo byayagala, era nga mu kumugondera tunaaba nga tetukyakola ku byaffe.” DA Olup.668
65Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 22 OLUNAKU LWA KATONDA OLUTUKUVU. Olunyiriri Olw’Okujjukira: “Ssabbiiti yabawo ku lwa muntu, so omuntu si ku lwa Ssabbiiti. Bwekityo Omwana w’Omuntu ye mukama wa Ssabbiiti nayo.” Mak 2:22,28. Ekigendererwa: Okumanyira ddala lunaku ki katonda kweyawummulira era nga olunaku olwo lutukwatako lutya? Ebyanjula Obuwulize eri ebiragiro bya Katonda byonna, ke kabonero ak’obukyufu obw’amazima. Bwekityo kyetaagibwa amateeka ga Katonda okugezesebwa mu bulamu bw’omuntu oyo abe ng’asobola okugakuuma. Abasinga obungi bamenya erimu ku mateeka ago. Kale lye tteeka ki eryo? Lunaku ki Katonda lwe yayawula okuba olw’ekiwumulo kye? 1. Katonda bwe yamala okutonda eggulu n’ensi, lunaku ki kweyawummulira? Lub. 2:1,22. Bintu ki ebikulu Katonda byeyateeka ku lunaku lwe luno olw’okuwummula oba olwa Ssabbiiti? Lub 2:33. Kristo alina kyonna kyeyakola mu butonzi era n’okukola Ssabbiiti?Yok 1:3; Bak. 1:16Bameka ab’okukwata olunaku lwe olw’ekiwummulo? 4. Ssabbiiti yakolebwa ku lwani? Mak 2:275. Tteeka eri erikwata ku lunaku luno olw’ekiwummulo? Kuv 20:8-116. Nsonga ki eziweebwa mu teeka lino ezikuumisa olunaku olwa Ssabbiiti nga lutukuvu? Kuv 20:11.
66Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited7. Nga etteeka lino terinaba kuweebwa ku lusozi Sinai abantu ba Katonda bamanya nga basanidde okukuuma olunaku olw’ekiwummulo nga lutukuvu? Kuv. 16:22-30.8. Ssabbiiti kabonero kaaki? Ezek. 20:12,209. Kristo bweyali ku nsi, yakuuma olunaku olwa Ssabbiiti? Luk 4:16.10.Lwansongaki abalabe ba Kristo baayagala okumutta? Luk. 6:6-11.11.Kristo alina kyeyayogera nti Ssabbiiti yakweyongera okubawo aluvanyuma lw’okufa kwe? Mat. 24:20.12.Mikisa ki egyasuubizibwa abo abajjukira olunaku lwa Ssabbiiti okulukuuma nga lutukuvu? Is. 58:13,14.
67Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 23 OKUGEZAAKO OKUKYUSA SSABBIITI Olunyiriri Olw’Okujjukira: “Naye basinziza bwereere nga bayigiriza amateeka g’abantu…………..” Mat 15:9 Ekigendererwa: Okulaga nga omuntu bwe yakyusa olunaku olw’okuwummula olw’omusanvu n’aluzza ku lunaku olusooka mu wiiki. Ebyanjula Katonda yawummulira ku lunaku olw’omusanvu naaluwa omukisa, naalutukuza nga ekijjukizo eky’obutonzi. Mu tteeka ey’okuna yajjukiza abantu okukuuma olunaku luno nga lutukuvu. Kristo yakuuma amateeka ga Kitaawe naye omuntu yalondawo kugakyusa. Kino kyakolebwa kitya? Ani avunaanyizibwa olw’okukyusa kuno? Abakristaayo abaasooka baakuuma Ssabbiiti? 1. Yesu bwe yafa abagoberezi be bakuuma Ssabbiiti? Luk 23:54-56.2. Omutume Pawulo yalowoozanga atya ku Ssabbiiti? Bik. 17:1-2; Luk 4:163. Pawulo yali mpisa ye okubeerangawo mu nkun’gaana z’eddiini ku lunaku lwa Ssabbiiti? Bik. 17:1-2; Luk 4:16Ekinnyonnyola: Ebigambo bino nti “nga bweyali empisa ye” bitegeereza ddala bulungi nga Pawulo era nabakristaayo abalala era ne Yesu yennyini nga bwe baakuumanga Ssabbiiti so ssi lunaku lulala lwonna. 4. Bukakafu ki obulaga nti Pawulo yali mpisa ye? Bik 18:4,11.Ekinnyonnyola: Pawulo nga bwe yabuuliranga mu yeekaalu buli lunaku lwa Ssabbiiti era nga bweyali mu Kolinso okumala ebbanga lya mwaka gumu n’ekitundu, ateekwa buteekwa okuba nga yakuuma ennaku za Ssabbiiti
68Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited78 nga ali eyo. Bwetugattako ebinnyonnyola ebirala ebiri mu kitabo kya Ebikolwa by’Abatume tulaba nga yakuuma Ssabbiiti 84 naye tewali walala wonna weyawummulira ku lunaku olulala mu Wiiki okusinziira ku Byawandiikibwa. 5. Omutwe Yokaana naye yali mukuumi wa Ssabiiti? Kub 1:10Ekinnyonnyola: Kristo ye Mukama wa Ssabbiiti (Mak 2:28), Ssabbiiti agiyita “olunaku lwe olutukuvu” (Is 58:13). Yeyalutukuza (Kuv 20:11). Olunaku lwokka olwoomusanvu lwe lwokka olusobola okuba Ssabbiiti ya Mukama. Waliwo obukaafiiri obwalagulwako? 6. Omutume Pawulo yayogera ku kugolokoka kw’obuyinza obw’obukaafiri? 2Bases 2:3,4,7; Bik 20:29-30.7. Obuyinza bw’obukaafiri buno waliwo omulala eyabwogerako? Dan 7:2Lwaki abangi bakuuma Sunday? 8. Olunaku olusooka mu wiiki lwafuuka lutya olw’okusinza oba olw’okuwummula mu kifo kya Ssabbiiti ey’amazima? Ekinnyonnyola: “Ebyasa by’emyaka bingi ebyayitawo nga Sunday tennaba kukuumibwa kkanisa nga olunaku lwa Ssabbiiti.” Arcdeacon Farrah, mu kitabo. (The Voice from Sinai) Olup. 167. “Emikolo egyabeerangawo ku Sunday okufaanana emikolo gyonna gyabanga gyakwejalabya kw’abantu, era abatume tebaalina kirowoozo kyonna okuteekawo ekiragiro oba etteeka erikwata ku lunaku olwo eky’okukyusa Ssabbiiti ey’omumateeka okugizza ku Sunday. Ku nkomerero y’ekyasa ekyoobiri obulimba obw’engeri eno ne butandika era abantu ne batandika okukibala nga kibi okukolanga ku lunaku lwa Sunday” Rose’s Translation of Neander’s Church History Olup 186. 9. Ani yateeka etteka lya Sunday eryasooka? Okuddamu:
69Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited“Okukuuma olunaku olwa Sunday nga etteeka byava mu kiragiro ekya Constantine mu mwaka 321 AD nga ekiragiro kino kigamba nti- Kooti z’abalamuzi zonna, abatuuze ab’omu bibuga bonna era n’makolero nga byali byakuwummula ku lunaku lwa Sunday (olunaku olwasinzibwangako enjuba), kyokka nga kino tekikwata ku balimi” Encyclopedia Britannica Nineth Edition, Article Sunday. 10. Ani eyagamba nti alina obuyinza obw’okukyusa olunaku olw’ekiwummulo? Okuddamu: Slyvester, omulabirizi we Ruumi mu 314 oktuusa 337 AD yakyusa mu lwatu olunaku olusooka naluyita nti Olunaku lwa Mukama. Mu lukiiko lwa Lawodeekiya olwaliwo mu 364 AD mwe bazooka okusalirawo ku bikwata ku lunaku lwa Mukama. Baagamba nti “Abakristaayo tebajja kukkirizibwa kukwata bya ddiini yaabwe era n’okutuula ku Saturday (Ssabbiiti) bajjanga kukola ku lunaku olwo. Naye bwebanazuulibwanga nga bakyakwata eby’eddini yaabwe, bagenda kuggibwa ku Kristo” – Hefele’s History of the Councils of the Church, Vol. II, Olup 316. “Oyinza okusoma Bayibuli okuva ku lubereberye okutuuka ku kubikkulirwa, era togenda kusanga lunyiriri lwonna oluwa obuyinza okutukuza Sunday. Ebyawandiikibwa bikakasa okukuumanga Saturday, olunaku ffe lwetutatukuza. “Cardinal Gibbons, mu kitabo The Faith of our Fathers, Edition 1892. Olup.111. “Sunday yatekebwawo Bukatuliki, era okulukuuma kuwagirwa emisingi gy’obukatuliki……….. Okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero yebyawandiikibwa, tosangamu katundu nakamu akawa obuyinza okukyuusa okusinza kw’abantu bonna okukugya ku lunaku olusembayo mu wiiki n’okulukuza ku lunaku olusooka.” Catholic Press (Sydney Australia) Aug 25, 1900. 11. Okukyusa kuno kuwagirwa n’Abapulotestanti?
70Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedOkuddamu: “Kino kirabikira ddala lwaatu nti newakubadde nga tuli banyiikivu tutya n’okwewaayo mu buli ngeri yonna okukuuma Sunday, naye era tuba nga kuwolereza teeka eryo nga tukuuma Sunday. Tewali lunyiriri nalumu mu ndagaano Empya olulaga nti tuubonerezebwa bwe tutakuuma olunaku lwa Sunday.” Dr. R.M Dale (Congregationalist), mu kitabo The Ten Commandements, Olup. 106-107. “Tewali kigambo wadde olunyiriri mu ndagaano Empya olutugaana obutakola ku lunaku lwa Sunday. Okusinza ku Sunday kuba tekugoberedde etteeka ery’amazima.” Canon Eyton (Church of England). The Ten Commandments Trubners and Co. “Kati olunaku lukyusibwa okuva ku lwoomusanvu okuluzza ……….naye nga bwe tutalaba kulungamizibwa kwa byawandiikibwa mu kukyuusa kuno, tutuuka ku ky’enkomerero nti kino kyakolebwa obuyinza bw’ekkanisa.” – Explanantion of Catecihsm (Protestant Episcopal) 12. Enjigiriza eyigiriza okukwata amateeka g’abantu mu by’okusinza, Katonda agiyita atya? Mat 15:9.
71Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 24 AKABONERO KA KATONDA N’AKABONERO K’ENSOLO Olunyiriri lw’okujjukira: “Wano we wali okugumikiriza kw’abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda era n’okukkiriza kwa Yesu.” Kub14:12 Ekigendererwa: Okutegeera eddiini ey’amazima n’obulimba nga bwe ziragibwa mu kabonero ka buli emu. Ebyanjula Okukyuusa Ssabbiiti kwekugezaako okw’olwatu okw’omuntu akyuusa amateeka ga Katonda. Obuyinza bwa Katonda bwanyoomebwa. Olwo omuntu ayinza atya okwawula amazima n’obulimba? Akabonero ka Katonda ke kaluwa? 1. Kigendererwa ki okuba n’akabonero? Dan 6:8Ekinnyonnyola: Akabonero kakozesebwa okulaga erinnya ly’omuntu oyo ali mu buyinza era ayinza n’okuteeka amateeka. Edda empeta za bakabaka zaakozesebwanga nga akabonero. 1Basek 21:8; Eseza 3:12. 2. Biki ebyetaagibwa ebisatu mu kabonero? OKuddamu: (a)Erinnya ly’oyo awa amateeka. (b)Ekitiibwa kye oba obuyinza bwe. (c)Amatwale g’obwakabaka oba obufuzi bwe. 3. Biki ebiri mu kabonero ka Katonda? Isa 8:164. Tteeka ki mu mateeka ekkumi eriraga omuteesi w’ago? Kuv. 20:8-11.Ekinnyonnyola: Etteeka eryookuna litegeereza ddala bulungi nti, “Mukama ye yakola eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebirimu”. Erinnya lye ye Mukama ekitiibwa kye ye mukozi (omutonzi); obwakabaka bwe eggulu n’ensi, bino byonna byogerwako mu tteeka lino. Bwekityo etteeka ery’okuna lye lirimu akabonero ka Katonda.
72Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited5. Mukama Ssabbiiti agiyita atya? Kuv.31:17; Ezek. 20:20.6. Mulimu ki ogw’enjawulo ogw’okubaawo mu nnaku ez’enkomerero? Kub.7:1-4.Akabonero k’ensolo ke kaluwa? 7. Bubaka ki obw’enjawulo obw’okuweebwa mu nnaku ez’enkomerero? Kub. 14:9,10.8. Biki ebikola akabonero k’ensolo? Okuddamu: MU bbaluwa ya Mr. F.H.Thomas, Chancellor wa Cardinal Gibbons gyeyawandiika mu November 1895, bwe yali nga ayankukula ku byali bibuuzibwa obanga ekkanisa y’Obukatoliki ye yakyuusa Ssabbiiti, yagamba nti “Ddala ekkanisa y’Obukatoliki ekkiriza ekikolwa eky’okukyuusa Ssabbiiti, era ekikolwa ekyo ke kabonero ak’obuyinza bwayo mu bigambo by’eddini.” 9. Akabonero kano kakuwalirizibwa? Kub 13:16Ekinnyonnyola: Tewali n’omu yafunye kabonero ka nsolo. Ekiseera eky’okugezebwa tekinaba kutuuka. Mu buli kkanisa mulimu Abakristaayo ab’amazima abatakkiriziganya na kwegatta n’Obukatoliki. Tewali n’omu asalirwa musango wabula nga bamaze okufuna omusana era ne balabira ddala ebyogerwa mu tteeka eryookuna. Naye etteeka bwe lirifuluma eririwaliriza obutasinza ku Ssabbiiti, okwegerera waggulu okwa malayika owookusatu kugenda kulabula abantu obutasinza nsolo na kifaananyi kyaayo, olwo enjawulo w’erirabikira wakati w’obulimba n’amazima. Olwo awo abaneeyongera okumenya amateeka ne balyoka bafuna akabonero k’ensolo. (Evangelism Olup. 134) 10. Nkolaganaki eneebaawo wakati wabo abalina akabonero k’ensolo era n’abo abalina akabonero ka Katonda? Kub. 12:17.11. Okuyigganyizibwa kuno kuliba kukambwe kutya? Kub 13:15-17.12. Baani abaliwangula? Kub. 15:2
73Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 25 ENGERI Y’OKUKUUMA OLUNAKU LWA SSABBIITI NGA LUTUKUVU. Olunyiriri lw’okujjukira: Ddamu etteeka ery’okuma. Kuv. 20:8-11 Ekigendererwa: Okuzuula engeri omuntu bw’ayinza okufuna emikisa Mukama gyeyateekateeka ku lunaku lwa Ssabbiiti olw’amazima. Ebyanjula Bayibuli eragira ddala bulungi nga Ssabbiiti ey’obutonzi bw’ekyaali Ssabbiiti ya Katonda naguno gujwa. Omuntu yeeteerawo olunaku olulala Katonda lwataawa mukisa, kino ne kiraga akabonero ak’obukaafiiri. Kitusaanira okuyiga engeri y’okukuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu. Lunaku ki Mukama lwe yawa omukisa? 1. Kiki ekyetaagibwa ekisooka mu tteeka lya Ssabbiiti? Kuv. 20:82. Lwa nsonga ki tusaana okujjukiranga olunaku lwa Ssabbiiti? Kuv.20:8Ekinnyonnyola: Okuyita mu Ssabbiiti yonna, okukuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu tekusaanidde kwerabirwanga. Tewali mulimu gwonna wadde okutambulanga safari zaffe okusaanidde okukolebwa bwekuba nga kwakutemenyesa etteeka lya Ssabbiiti. Emirimu gyaffe gyonna gisaanidde okukolebwanga mu nnaku omukaaga ezisooka. 3. Ani eyatukuza olunaku olwa Ssabbiiti? Kuv 20:11Ekinnyonnyola: Katonda ye yatukuza olunaku olwa Ssabbiiti. N’olwekyo tuli bakulukuumanga nga lutukuvu. 4. Okusinziira mu Bayibuli, Ssabbiiti etandiika ddi? Lub. 1:5,8; Mak. 1:32; Lev 23:32.Ekinnyonnyola:
74Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEnjuba teremwangako okukutegeeza ekiseera ekituufu. Edda ennyo nga n’omuntu tanaba kuvumbula ssaawa, Katonda yateekawo enjuba okukutegeezanga entandikwa y’olunaku n’okugwako kwaalwo. Bulijjo olunaku lutandika kawungeezi. Kino kyannyonnyolwa bulungi mu biwandiike eby’obutonzi. Kino kyali kyamazima ne mu nnaku za Kristo we yabeerera ku nsi. Bwekityo Ssabbiiti etandika ku Friday ng’enjuba egudde ate n’egwaako ku Saturday ng’enjuba egudde. Lunaku ki olw’okuteekateeka? 5. Ennaku mmeka omuntu z’alina okukolerangamu emirimu gye? Kuv. 20:9Ekinnyonnyola: Omuntu yenna atakozesa kiseera kye eky’okukoleramu eky’ennaku omukaaga abanga amenye eteeka mu ngeri yemu ng’oyo akolera ku lunaku olw’omusanvu. Okukola okw’obwesigwa mu nnaku omukaaga kwetaagibwa nnyo omuntu bwaba ng’ayagala okusanyukira emikisa egy’olunaku olwa Ssabbiiti mu kuluwummulirako. 6. Olunaku olukulembera Ssabbiiti luyitibwa lutya? Luk 23:54.7. Kiki eky’okukolebwanga ku lunaku lw’okuteekateeka? Kuv 16:23.Ekinnyonnyola: Okuteekateeka Ssabbiiti kakugwenga ku lunaku lwa Friday. Laba nga engoye zonna ziri bulungi, era n’okufumba kwonna kukolebwanga. Engatto zikubibwengako eddagala, era n’okunaaba kukolebwanga. Bino byonna kyangu okubikola. Singa okifuula tteeka kiba kyangu okubikolanga. Ku lunaku lwa Ssabbiiti tekusaanidde kuddabirizangako ngoye…… n’okukolerangako eby’amasanyu agatali gamu. Nga enjuba tenaba kugwa, kisaanidde emirimu gyonna okumalirizibwanga, empapula z’amawulire n’endala zonna zigibwengawo, Abazadde kibasaanira okunnyonnyolanga abaana
75Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedbabwe era nabo begattenga mu kuteekateekanga Ssabbiiti okusinziira ku tteeka nga bweritulagira” (6T. Olup 344). Olunaku lwa Ssabbiiti luyinza lutya Okukuumwa nga Lutukuvu? 8. Okukuuma Ssabbiiti okw’amazima kunnyonnyolebwako kutya? Is. 58:13,14.9. Okukuuma Ssabbiiti kugattikamu n’ebikolwa eby’ekisa? Mat 12:10-12.10.Kyakulabirako ki Yesu kyeyatuwa mu kusinzanga ku Ssabbiiti? Luk.4:16.11.Ngeri ki ey’okukuuma Ssabbiiti eteriimu mukisa? Beb. 10:25; Amos 8:512.Okukuuma kwa Ssabbiiti okw’amazima ku nsi kututeekerateekera ki? Is 66:22,23.
76Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 26 OKUDDAMU MU BIYIGIDDWA Olunyiriri olw’okujjukira: Ddamu ennyirir z’okujjukira 12 era okwaate negyezisangibwa. Ekigendererwa: Okusooka okuddamu buli kibuuzo kyonna mu bibuuzo ebiri wamanga singa obibuzibbwa era n’okumanya ebyokuyiga ebiyigiddwa. Ebyanjula Bw’oba nga tosobola kuddamu bibuuzo bino, ddamu ebyokuyiga omusimbuddwa ebibuuzo bino oyongere okubiyiga n’okubikakasa obulungi. 1. Bubonero ki mu ggulu obwatuweebwa okutulaga nga Yesu akomawo mangu? Buli kamu ku bubonero obwo kaabawo ddi? 2. Tegeeza obubonero omusanvu obulabika ku nsi mu kiseera kyaffe kino era nga nabwo butegeeza okukomawo kwa Kristo amangu. 3. Lwaki okkiriza nga Yesu akomawo omulundi ogwookubiri? 4. Nnyonnyola okujja kwe mu kitiibwa ekinene. 5. Okujja kwe kulikola kutya ababi? Kulikola kutya abatuukirivu? 6. Kiki ekigendererwa mu kusala omusango? 7. Ani omuwolereza waffe mu kusala omusango era atusaba bisale ki okutuwolereza? 8. Kristo yalowooza atya ku Mateeka ga Katonda?
77Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited9. Omuntu kimusaanira kumenya amateeka ameka alyoke asingibwe omusango? 10. Nteekateeka ki eyateekerwawo etusobozesa okukuuma amateeka gonna? 11. Menya amadala omwonoonyi gayitamu okutuuka eri Kristo. 12. Otegeera otya ng’omwonoonyi gayitamu okutuuka eri Kristo. 13. Obuwulize bukulu butya mu bulamu obw’Ekikristaayo? 14. Lwaki olunaku lwa Ssabbiiti lwayawulwa? Ssabbiiti yakolerwa ani? 15. Laga nga Kristo n’abayigirizwabe bwebakuuma Ssabbiiti ey’amazima. 16. Okukuuma Sunday kwayingira kutya mu Kkanisa? 17. Ani eyegamba nti yalina obuvunanyizibwa obw’okukyusa Ssabbiiti okugizza ku Sunday? 18. Akabonero ka Katonda kekaluwa? 19. Ssabbiiti essana kweteekerwateekerwa etya? 20. Mu mwoyo ki mwetusaanidde okukuumira Ssabbiiti ya Katonda entukuvu? Ebibuuzo bino kirungi obidding’ane era byolaba ebikukaluubirira oyongere okubiyiga obulungi.
78Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEBYANJULA EKITUNDU EKYOKUSATU. Kitusaanira okuyiga n’okumanya amazima ga Katonda. Abantu balowooza nti bwebaba nga tebalina kyebamanyi, bagenda kusalirwa katono omusango (Luk. 12:48), n’olwensonga eyo tebaagalira ddala kuyiga nakumanya ebintu ebiggya. Ab’engeri eyo baba nga berimba bokka, kubanga mu binaddirira onolaba nga baba besalidde bokka omusango. Katonda wakisa era musaasizi eri abo abatalina ddala mukisa gwa kumanya kinene (Zab. 87:4-6) naye ate ye Katonda omutuukirivu asala emisango egy’ensonga era atatugyako misango (Kuv.34:6,7). Mu nnaku zino Katonda awadde abantu bonna emikisa egy’okumanya era olw’ensonga eyo kyava abegayirira okwenenya. (Bik 17:30) Olunaku olw’okusalirako emisango teruli wala nnyo buli omu lwanakeberwa mu maaso ga Katonda. Ebibuuzo ekibuuzibwa buli omu kiri nti “Tuliwona tutya bwe tulireka obulokozi obukulu?” (Beb 2:3) Okumanya amazima kyeki era n’okumanya ekituufu, si byakulokola muntu kinnomu. Era n’okukkiriza obukkiriza nakyo tekimala nga Bayibuli kino bwekiyigiriza obulungi. Omutume Yakobo yatutegeeza nti basetaani bakkiriza nebakankana olw’okutya (Yak, 2:19), naye kiri bwekityo, bakuzikirizibwa ku nkomerero (Mat. 25:41) olw’ensonga nti tabakola Katonda bya yagala. Yesu yayogera ku bantu ab’egamba nti bamukkiriza era ne bakola n’obubonero obukulu mu linnya lye, naye nga bagenda kusaalirwa ku nkomerero kubanga tebaalinga bawulize era amateeka ge (Mat. 7:21;23) Tutegeezebwa nti “Obanga munjagala munakwatanga ebiragiro byange.” (Yok 14:15). Tuyinza okulokolebwa mu Bwakabaka bwa Katonda olw’Okulungamizibwa Omwoyo omutukuvu. Omulimu ogusingira ddala gyonna obukulu Katonda gweyawa abantu gwe gw’okukakasa nti tufunye obulokozi, Gwemulimu gwaffe okuyiga
79Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedn’okumanya era olw’ekisa kya Katonda, okukola Katonda byayagala byonna. Mu byokuyiga ebinasangibwa mu Kitundu kino eky’okusatu, ononyongera okumanya Katonda byayagala, singa nga onoyigira ddala n’obunyikivu notegeera Katonda byakwagaza era n’ekigendererwa kyo ne kiba okubikola nga olugamizibwa n’Omwoyo Omutukuvu.
80Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 27 EKKANISA YA KATONDA Olunyiriri Olw’Okujjukira: “Nga Kristo bwe yayagala eKkanisa n’eyewaayo ku lwayo” Bef 5:25. Ekigendererwa: Okulaga nga Kristo bweyateekawo ekkanisa okuba omujulirwa ow’amazima okutuusa ku nkomerero. Ebyanjula “Ekkanisa ky’ekigo kya Katonda ekibuga kye eky’okuddukiramu kye yateeka mu nsi” (AA. Olup 11) Omusingi gw’ekkanisa yani? 1. Ani omusingi gw’ekkanisa ya Katonda 1Kol 3:11.2. Yesu yayogera kuzimba ku ki Ekkanisa ye? Mat. 16:18Ekinnyonnyola: Ekigambo “Peetero” kitegeeza akayinja. Kristo yali tayogera ku Peetero nga lwe lwazi kwayinza okuzimba ekkanisa ye. Ebigambo ebyo nti “ku lwazi” luno bikwata ku Yesu yennyini nga omusingi ogw’ekkanisa y’Abakristaayo” (5BC Olup 1095) 3. Olwazi yaani? 1Kol 10:44. Baani abagattibwa ku jjinja ery’okunsonda okukola omusingi gw’ekkanisa? Bef 2:20Ekinnyonnyola: Nga abatume ne banabbi bwebakola ekitundu ku musingi gw’ekkanisa, ekkanisa yonna eyebala okuba ey’amazima eteekwa okuba nga erina enjigiriza n’okukkiriza okw’abatume ne banabbi, nga temuli njigiriza ndala yonna ey’obulombolombo bw’abantu. Biki ebizimba ekkanisa? 5. Ekkanisa yakamala bbanga ki? Bik 7:38
81Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEkinnyonnyola: Ekkanisa mu ddungu y’eyo Musa gye yakulembera okugigya mu Misiri. Ekkanisa eyo ye yategezebwa ebyasooka byonna Katonda bye yayagala nga bwe bisangibwa mu Ndagaano Enkadde (Bal.3:2) 6. Omukkiriza alina kifo ki mu Kkanisa? 1Pet 2:5; Bef. 2:227. Bameka abayinza okuyingira mu kkanisa? Bef 2:13,19-22.Ekinnyonnyola: Ekkanisa ya Yesu Kristo teriwo lwa ggwanga limu oba ekika kimu. “Kubanga Katonda bweyayagala ensi bwatyo n’okuwayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula naye abeere n’obulamu obutaggwawo” (Yok 3:16) 8. Kkanisa ya ngeri ki Kristo gy’ayagala? Bef. 5:27, 28Tunategeera tutya ekkanisa ya Katonda mu kiseera kino? 9. Kabonero ki ak’olwaatu ekkanisa ey’amazima ey’omu nnaku ez’enkomerero k’erina eri nsi? Kub. 12:17.10.Ekkanisa eno yakukwata amateeka gonna ekkumi aga Katonda? Kub 14:12.11.Mu mateeka gano n’erya Ssabbiiti ligatibwamu? Is 56:1,2Ekinnyonnyola: Ebigamb bino nti “Obulokozi bwange buli kumpi” biteekwa okuba nga bikwata ku kujja kwa Kristo. Mu kiseera ekyo, waliwo emikisa egy’enjawulo egy’abo abakuuma olunaku lwa Ssabbiit olutukuvu. 12.Omulimu gw’ekkanisa eyasigalawo munen gutya? Mat 28:18,20.
82Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 28 EBITUNDU EBY’EKKUMI N’EBIRABO Olunyiriri Olw’Okujjukira: Ossangamu ekitibwa Mukama n’ebintu byo, n’ebiberyeberye ku bibalabyo byonna” Ng. 3:9. Ekigendererwa: Okuyiga enteekateeka ya Katonda nga ekkanisa, ye ngeri mweneyita okukola omulimu gwaayo. Ebyanjula Omulimu gwa Katonda mu nsi gwakukolebwa kkanisa gusobole okugenda mu maaso. Omulimu guno okukolebwa obulungi, wateekwa okubaawo engeri ezimala okuyitwamu. Katonda yateeka obuvunanyizibwa ku buli muntu we kkanisa yenna. Ekitundu eky’ekkumi kyaani? 1. Musingi ki omukulu omuntu gwasaanidde okujjukiranga bulijjo? Ng 3:92. Kiki kye tuyigirizibwa okuva ku musingi guno? Zab. 24:1; Zab 50:10; Kag 2:8Ekinnyonnyola: Omuntu yeerowoozako yekka n’okulowooza nti emikisa gyonna gy’afuna gisinziira ku kukola kwe, ne yerabira nti Katonda y’amuwa obulamu, obugagga ne byonna. Ffe ffenyini ne byonna byetulina kitusaanira okumanya nti Mukama ekissera kyonna. 3. Kyenkanawa ku byetufuna kyetuteekwa okuddiza Katonda? Lev. 27:30,32Ekinnyonnyola: Enteekateeka ya Katonda mu kuwa ebitundu eby’ekkumi nnyangu nnyo era nga yabwenkanya. Bonna basaanidde okugituukiriza mu kukkiriza era nga bagumu kubanga y’amazima okuviira ddala mu ntandikwa yayo…….Tekyetaagisa kuyiga kwewala okugitegeera n’okugigoberera……..(3T. olup 388)
83Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited4. Byakulabirako ki eby’obwesigwa mu kuwa ekitundu eky’ekkumi mu biseera ebyedda? Lub 28:22; Lub 14:18-20.Ekinnyonnyola: Okuwa ekitundu eky’ekkumi-tekwatandikira mu Bebbulaniya. Okuviira ddala mu biseera ebyedda Mukama yali ng’asaba ebitundu bye ebyekkumi era okusaba kwe kuno kwakkirizibwa era nga kussibwamu ekitiibwa…………Nga Abaisiraeri bali kumpi okufuuka eggwanga, etteeka ery’okuwanga ekitundu eky’ekkumi lyayongerwa okukakasibwa nga etteeka ery’amazima okukakasirizibwa obuwulize omuva okulaba emikisa gyonna.” (PP. Olup. 525). 5. Omuntu atawa kitundu kya kkumi Mukama amubala kuba ki? Mal.3:86. Kusuubiza ki okuweebwa omuwi w’ekitundu ky’ekkumi n’obwesigwa? Mal. 3:10,11Ekitundu eky’ekkumi kikozesebwa kitya? 7. Katonda ekitundu eky’ekkumi akikozesa ki? Kubal. 18:21.Ekinnyonnyola: Ekika kya Levi tekyaweebwa kitundu ku nsi ensuubize. Katonda yakyawula olw’omulimu ogw’okuweereza mu Yeekaalu ye. Tebaakulonga mirimu emirala egyabulijjo, naye nga bakola emirimu emitukuvu. Katonda yalagira nti bayambibwenga ekitundu eky’ekkumi. Nabo bawanga ekitundu eky’ekkumi. 8. Enteekateeka eno ekyaliwo ne kwabo ababuulira enjiri mukiseera kino? 1Kol. 9:13,14Biki ebirala bye tusaanidde okuwa Katonda? 9. Okugyako ekitundu ky’ekkumi, biki byetusaanidde okuwa Katonda? Zab 96:810.Ebirano bisaanidde kuweebwa mu mwoyo ki? 2Kol. 9:711.Kristo yayongera ki ku by’okugaba? Bik 20:35.12.Ku misingi ki ebirabo byaffe kwebinakkirizibwa Katonda? 2Kol.8:12Ekinnyonnyola: Tewali kirabo kitono kasita kiwebwa n’omutima agw’amazima n’emmeeme ey’essanyu. (COL olup 359).
84Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 29 OBWESIGWA N’AMAZIMA Olunyiriri Olw’Okujjukira: “Emimwa egirimba gya muzizo eri Mukama, naye abakola ebyamazima baasanyukira” Ng 12:22. Ekigendererwa: Okutegeera Katonda bwalowooza ku bwesigwa n’amazima. Ebyanjula Ekyokuyiga ekiwedde kibadde kifa ku buwanika bw’omuntu mu bitundu eby’ekkumi era n’ebirabo; naye ekyokuyiga kino kifa ku misingi egyateekebwawo mu mateeka abiri ku mateeka ekkumi, era kikwatako ne ku tteeka ery’ekkumi erigamba nti “Tewegombanga” Okwegomba kukolagana bulungi nnyo n’okubba Katonda naye era ne ku muliu gwaffe ne bantu banaffe. Obwesigwa Kyeki? 1. Bubaka ki obuli mu tteeka ery’omunana? Kuv 20:152. Bantu ba ngeri ki Mukama baanoonya okubeera ababaka be? Bik 6:3; Mat 5:48; Zab 5:153. Biki ebisuubirwa mu bantu abo abeegamba okuba Abakristaayo? Mat 5:16; Bal 3:13 (ekitundu ekisooka); 2Kol 8:21; 2Pet 2:12.Ekinnyonnyola: Abantu tebajja kutegeera Bakristayo lwa mpisa z’amawanga gaabwe, oba ebika byabwe naye lwebyo ekkanisa byeyigiriza. Mu ngeri yemu b’akusalawo ku kkanisa nga bwefaanana nga basinzira ku bantu bamu. 4. Bintu byenkanawa eby’obulamu buno ebikwatibwako obwesigwa? Beb 13:18.Obulimba tusaanidde kubulowoozako tutya? 5. Kabonero ki akamu kw’obwo obutegeerekeka ennyo mu nnaku zino ez’enkomerero? Mat 24:24; 2Tim 3:13Ekinnyonnyola:
85Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedKyalagulwako nti omulembe guno gugenda kuba mu kiseera eky’obubi obutagambika. Tuli bakulaba obubi bwa ngeri nnyingi. Nga Nabbi bweyagamba edda nti “Amazima gagudde mu nguudo……….” (Is 59:14) Engeri eno ejja kugenda nga yeyongera okuba embi ennyo nga tusemberera enkomerero y’ensi 6. Nnyonnyola ebyaba ku bantu ababiri abatwaala ebitaali byabwe ate ne balimba nga bagezaako okukwekwa ebibi byabwe. Bik 5:1-10; 2Basek 5:20-27; Yos 7: 13-257. Obulimbab buviira ddala wa? Yok 8:448. Katonda ateekawo njawulo ki wakati w’abo aboogera amazima n’abo aboogera obulimba? Ng 12:22; Ng 6:16, 179. Enkomerero y’abalimba bonna y’akubeera etya? Kub 21:8; Mal 4:1Tuyinza tutya okuba ab’amazima? 10. Ensibuko y’amazima kyeki? Yok 14:6; Yok 17:17.11. Birowoozo bya ngeri ki byetusaanidde okuba nabyo? Firimoni 4:8; Zab 51:6; Mal 2:6Ekinnyonnyola: Tufuuka nga bwe tulowooza, kubanga “nga bwalowooza bwatyo bwaali.” Ng 23:7 12. Bwetuba n’ebirowoozo ebirungi, olwo tunakola ki? Bef 4:25; Zek 8:16. Olwo Katonda wakutukolera ki? Zab 37:19.
86Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 30 OBULAMU OBULONGOOFU. Olunyiri Olwokujjukira: “Balina omukisa abateefu mu mutima, kubanga abo baliraba Katonda” Mat 5:8 Ekigendererwa: Okulaga nga obulongoofu butandikira mu birowoozo. Bino bwebifufibwa Kristo, olwo obulamu bujja kuba bulongoofu. Ebyanjula Okwemanya ky’ekibi ekisingira ddala Abakristaayo abangi kye bagwaamu. Okwagala kwe bagalamu ensimbi kubakulembera okusinza Ensimbi ne banyaga Katonda. Okwemanya era kulabikira ne mwabo abagulumiza okwegomba kw’omubiri. Etteeka eryoomusanvu lituyingiriza ki? 1. Ddamu etteeka eryoomusanvu Kuv. 20:14 2. Ddaala ki ery’awuggulu Omutume lye yettanira okutuukako? 1Kol 9:24-27. 3. Mu bigambo ki Omutume bye yayagaliza omuvubuka Timosewo okutuukako? 1Tim 5:22. Mutango ki ouva mu kugondera omubiri? 4. Bintu ki ebimu okwegomba kw’omubiri mwekulagirwa? Bag 5:19. 5. Katonda anegayiriranga buli kiseera abo abasanyukira empisa ezitali nnongofu? Bal 1:24. 6. Obwenzi bukola ki ku bulamu? Ng. 6:32 Biki ebiva mu birowoozo ebibi n’ebigambo ebibi? 7. Yesu yagamba nti obutali bulongoofu butandikirawa? Mak. 7:21
87Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited8. Omuntu atandika atya okumenya etteeka eryoomusanvu?Mat 5:27,28 9. Ebigambo byaffe bisaanidde kuba birongoofu bitya? Bef 5:3-5, Bef 4:8. Ddaala ki ery’Obukristaayo? 10.Ddaala ki omutume Peetero ly’asaba Abakristaayo okutuukako? 1Pet 2:11. 11.Pawulo atugamba ki wakati mu lutalo olulwanaganwa n’omubiri? Bak. 3:5, Bag 2:20. 12.Bulamu bwangeri ki obwetaagibwa okubeera n’oyo alindirira okwaniriza Yesu bwanajja? Mat 5:8; 1Yok 3:2,3
88Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 31 OBUFUMBO N’AMAKA AMAKRISTAAYO Olunyiriri Olw’okujjukira: “Mutagabane mwekka namwekka mu kutya Katonda” Bef 5:21. Ekigendererwa: Okulaga nga bwekyetaagibwa omusajja n’omukazi okukolera awamu mu kuzimba amaka amakristaayo. Ebyanjula Obulamu obulongoofu kyekimu ku byetaagibwa mu bufumbo. Tewaliwo ddaala lya musajja na ddaala lya mukazi. Bombi bali mu mikolo gya Katonda basobole okukola byayagala. Obufumbo bwateekebwawo nga butukuvu? 1. Ku luberyeberye, kiki Katonda kye yakolera omuntu? Lub. 2:18, 21,222. Abakazi bameka Bayibuli begambako omusajja basaanidde okuba nabo? Tit. 1:6; 1Kol 7:2.Ekinnyonnyola:Katonda yandisobodde okwa Adam abakazi abangi naye si ye yali enteekateeka ye, Katonda yamanya ekisinga obulungi Adamu kye yandifunye era n’emikisa egyandimujidde. 3. Mu nteekateeka eno eyateekebwawo ku luberyeberye, nkolagana ki esaanidde okubeerawo wakati w’omusajja n’omusajja mu bufumbo bwabwe? Lub. 2:24; Mat 19:4-6.4. Mateeka ki agakuuma obufumbo? Kuv 20:14,17.Omukristaayo kimusaanira okuwasa atali mukkiriza? 5. Magezi ki agaweebwa kukuwasa atali mukkiriza? Ma.7:3; 1Kol 6:14
89Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited6. Biki ebivudde mu butagondera kiragiro kino? Lub. 6:2,3; Yos 23:11-13; Nek 13:26.Neeyisa yangeri ki esaanidde okuba mu maka Amakristaayo? 7. Omusajja asaanidde kuyisa atya mukaziwe? Bef. 5:25-29; 1Pet. 3:7; Bak 3:19.8. Enkolagana y’omukyala ne bba esaanidde kuba etya? Bef 5:22; 1Pet 3:1-4.9. Abazadde basaanidde kukuza batya abaana baabwe? Bef 6:4; Bak 3:2110. Biki abazadde bye basanidde okuyigirizanga abaana baabwe buli kiseera? Ng. 22:6,7; Ma 6:6-7.11. Kitiibwa ki abaana kye basanidde okuwa abazadde babwe? Bef 6:1; Bak 3:20.Ekinnyonnyola: Engeri esingira ddala obulungi okuyigirizamu abaana okussangamu ekitiibwa abazadde baabwe kwe kubawa omukisa okulaba bo bennyini nga kitaabwe ayisa nnyabwe mu ngeri ey’ekisa mu buli kintu, era n’okulaba nga nnyabwe assamu ekitiibwa kitaabwe. Okulaba okwagala okuli mu bazadde baabwe kwekunayamba abaana okubeera abawulize eri etteeka eryokutano era n’okwekuuma okulabula kuno nti abaana mugondere nga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga kino kye kirungi.” (AH Olup. 198). 12. Bintu ki eby’ekitiibwa ebisuubizibwa amaka Amakristaayo? Is 8:18; Is 49:25.
90Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 32 EMPISA N’ENNYAMBALA EBY’EKIKRISTAAYO Olunyiriri olw’okujjukira: Kale omusana gwammwe gwakenga bwe gutyo mu maaso g’abantu balabenga ebigambo ebirungi bye mukola balyoke bagulumizenga Kitammwe ali mu ggulu.” Mat 5:16. Ekigendererwa: Okuyiga ekyo Omukristaayo ow’amazima ky’ayinza okulaga ensi alw’enyambalaye era n’empisa ze. Kulabula ki okuweebaw ku malala? 1. Katonda amalala agalaba atya? Ng. 16:5; Ng 6:16, 172. Bulijjo biki ebiddirira amalala? Ng. 16:18, Ng 29:233. Ani eyasooka okulaga omutima ogw’amalala? Ez 28:12,174. Katonda amalala agabala kuba ki? Yak 4:6, Zab 101:55. Amalala nago kibi? Ng 21:46. Omukristaayo asaanidde kwambala atya? 1Tim2:9; 1Pet 3:3,47. Katonda yalaga nga bwatasiima okweyonja okw’okungulu? Is 3:16-218. Omukristaayo asaanidde kulowooza atya obutegatta na nsi? 1Yok 2:15,16.Bubonero ki obukulu obulaga empisa z’Omukristaayo? 9. Kyakulabirako ki eky’empisa Kristo kye yatutekerawo? Mat 11:29; 1Pet2:21-23.10. Mu ngeri ki Omwoyo Omutukuvu mwanatuyambira okuba n’empisa ennungi? Bag 5:22,23, Bak 3:12-14.11. Ddaala ki erisaanidde okubeerawo mu nkolagana yaffe n’abalala? Baf2:3,5; Bal 12:10-21, 1Bases, 5:15,22.12. Kisuubizo ki Yesu kye yawa abawombeefu? Mat 5:5
91Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 33 OKWEGENDEREZA (Okumanya Okwefuga) Olunyiriri Olw’Okujjukira: “Kubanga mwagulibwa na muwendo, kale mugulumizenga Katonda mu mubiri gyammwe” 1Kol 6:20 Ekigendererwa: Obulamu bw’Omukristaayo bulijjo butunulirwa ensi. Amakage enyambalaye, era n’empisa ze, okulaba nga bitegeeza Kristo. Bwekityo bwekiri ne mu mpisa ez’okulya n’okunywa. Mmeere Ki Ey’omubiri Esinga Obulungi? 1. Misingi ki egy’amazima Abakristaayo bonna gye basaanidde okwekkanya? 1Kol 3:16-17, 1Kol 6:19-20.2. Mmere ki ku luberyeberye eyasooka okuweebwa omuntu y’enemuwanga obulamu? Lub 1:293. Oluvannyuma ennyama bwe yakkirizibwa omuntu okugirya, bukyuufu ki abwajjawo omuntu bwassanidde okwetegereza? Lev 20:25, Lev 11:1-20, 42Ekinnyonnyola: Enjawulo wakati w’ebirongoofu n’ebitali birongoofu, yo yamanyibwa dda nga n’amataba teganaba kubaawo, kubanga ensolo ennongoofu zayingiranga mu lyato musanvu musanvu, naye ezitali nnongoofu zo zayingiranga bbiri bbiri (Lub 7:2) Tebaali Bayudaya abateekawo enjawulo wakati w’ensolo zino naye Katonda eyazitonda yeyateekawo enjawulo, era ekiragiro kye kye kitabo eky’Ebyabaleevi n’okutuusa kati zikyali ezitali nnongoofu, era tezisaanidde kuliibwa. 4. Mmere yangeri ki Danieri ne mikwano gye gyebalyanga eyabafuula okuba abenjawulo ku balala? Dan 1:8 12-16,20.Tulabulwa tutya ku butegendereza?
92Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited5. Bayibuli egambaki ku bitamiza? Ng 20:16. Kulabula ki okuweebwa ku by’okunywa ebitamiza? Ng 23:29.327. Biki ebimu kwebyo ebiva mu butegendereza? Is 28:78. Omutamivu alisobola okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu? 1Kol 6:9,10.Lwaki emibiri gyaffe mitukuvu? 9. Okwegendereza kibala kyaki? Bag 5:22,2310.Okwegendereza kwetaagibwa olw’okukula kw’Omukristaayo? 2Pet 1:5-711.Emibiri gyaffe gisaanidde kuweebwayo gitya eri Katonda? Bal 12:1Ekinnyonnyola: Chai, Kaawa, Taaba n’eby’okunywa ebitamiza byonna, tebisaanidde kukwatibwaako, okulegebwako wadde okubyemanyiiza. Chai ne Kaawa n’ebyokunywa ebibifaanana, byonna ebyo biri mu kika kimu n’ebitamiiza awamu ne taaba. Okwemanyiiza emize kiba kizibu nnyo okugyegyako mu ngeri y’emu ng’omutamivu bwazibuwalirwa okulekayo okunywa omwenge” (MH olup 335) 12.Kiki ekisaanidde okufuganga empisa zaffe mu kulya n’okunywa? 1Kol 10:31
93Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 34 ABAFU Olunyiriri Olw’okujjukira: “Kubanga abafu tabaliko kyebamanyi” Mub 9:5 Ekigendererwa: Okuzuula Bayibuli byeyigiriza ku biriberawo oluvanyuma lw’okufa. Ebyanjula Tuyiza kingi ku muntu n’obulamu bwe nsi, era mu kyokuyiga kino tunalaba ebimubaako ng’afudde. Oba nga yeyongera okuba omulamu mu ngeri endala. Obuzaliranwa bw’Omuntu ddala kyeki? 1. Omuntu yakolebwa kuva muki? Lub 2:7 (Ekitundu ekisooka)2. Katonda yakola ki ekyafuula omuntu okuba omulamu? Lub. 2:7 (Ekitundu ekisooka)3. Waliwo abalala okugyako omuntu abalina omukka ogw’obulamu? Kino kibafuula abatafa? Lub 7:21; Mub 3:19Omuntu bwabeera ng’afudde. 4. Ngeri ki eyogerwako endala ku mukka ogw’obulamu? Yob 27:35. Omuntu bwaggwamu omukka oba omwoyo olwa aba atya?Mub 12:7Ekinnyonnyola:Omuntu bwafa, omukka gumuvaamu, si kintu kirala kyonna wabula mukka bukka. Omubiri olwo guba tegukyeyongera kuberawo awatali mukka, bwekityo kyeguva gudda mu ttaka. Olwo omuntu aba nga takyaliwo, okugyako okumulowoolereza obulowoolereza. 6. Omuntu alina kyamanya bwaba ng’afudde? Zab. 6:5; Zab 115:17; Zab 146:4Ekinnyonnyola:
94Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedBayibuli tetuyigiriza nti omuntu bw’afa agenda mu ggulu oba mu puligatori. Enjigiriza efaanana bwetyo eva mu bulimba bw’omulabe obwali mu lusuku Adeni. Obanga abantu bwe bafa bagenda mu ggulu oba mu puligatori, olwo omusango guba tegwetagisa kubaawo wadde okuzuukira oba okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri. Enjigiriza zikakasa ng’omuntu bwafa abeera mu ntaana ye okutuusa ekiseera ekyatekebwawo lwe kirituuka. Laba Yob. 14:14. 7. Kiki ekibererawo ddala omuntu ngafudde? Mub. 9:5,68. Bigambo ki Bayibuli byekozesa okunnyonnyola embeera y’omuntu ng’afudde? Yok.11:11-14; Dan. 12:2; 1Bases. 4:13.Obulamu obutaggwawo bwakusangibwa wa wokka? 9. Ani alina obutafa yekka? 1Tim. 6:15,16Ekinnyonnyola:Katonda ye yekka alina obulamu, obutaggwawo, oba alina obutafa. Ebitonde ebirala byonna – bamalayika oba bantu, obulamu obwo babufuna ouva eri Katonda yekka. 10.Obutafa tulibufuna tutya? 2Tim 1:1011.Obulamu obutaggwawo bw’asuubizibwa ani? Bal. 2:712.Ani ow’okutuwa obulamu obutaggwawo? Yok. 14:6; Yok 10:27,28; 1Yok 5:11,12.
95Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 35 OKUZUUKIRA Olunyiriri Olw’Okujukira: “Yesu n’amugamba nti, nze kuzuukira n’obulamu” Yok.11:25 Ekigendererwa Okutegeera okuzuukira okw’emirundi ebiri Yesu kwayogerako. Ebyanjula Omuntu yakolebwa okuva mu nfuufu, era mu nfuufu omwo mwadda ng’afudde. Yeebaka mu nfuufu y’ensi ng’alindirira okukyuusibwa mu kujja Kwa Kristo omulundi ogwookubiri, okuzuukira wekuliberawo. Kiki ekirisobozesa okuzuukira okubaawo? 1. Omuntu kiki kye yaleeta mu nsi? 1Kol. 15:21 (Ekitundu ekisooka)2. Ani yekka ayinza okuwa omuntu nate obulamu? 1Kol. 15:21,22.3. Kikolwa ki Yesa mweyawangulira okufa? Bik. 13:30; Yok. 11:25: Kub.1;184. Ebibiina bimeka ebirizuukizibwa? Bik. 24:15;Yok.5:28,29Kiki kyetutegeezebwa ku kuzuukira okusooka? 5. Okuzuukira okw’oluberyeberye kwakubaawo ddi? 1 Bases 4:16; 1 Kol.15:23. 6. Linnya ki ery’okuzuukira kuno? Luk. 14:14 7. Baani era abalikyusibwa mu kiseera eky’okuzuukira kuno? 1Bases 4:17. 8. Nnyonnyola obukyuufu obulibeerawo mu kuzuukira kuno. 1 Kol.15:51-54. 9. Kiki ekiriba ku abo abalizuukizibwa mu kujja kwa kristo? Kub. 20:6. Ekinnyonnyola Omutume agamba nti abatuukirivu “ne basisinkana Mukama waffe mu bbanga” Tebagenda kusigala ku nsi kuno. Kritso yabateekerateekera ebifo ng’okusuubiza kwe bwekuli mu Yok.14:2,3. Bwebalituuka mu ggulu bonna ne bakola omulimu ogw’okusala
96Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedomusanga nga bwekinnyonnyolwa mu 1 Kol.6:2. Omulimu guno gwakumala ebbanga lya myaka 1000. Kub.20:6 Baani ab’okuzuukizibwa mu kuzuukira okwokubiri? 10. Okuzuukira kuno kwakubaawo ddi? Kub.20:5Ekinnyonnyola Ngaabbi bwe batayinza kugenda mu ggulu olw’okubanga baagaana okukkiriza Kristi okuba Omulokozi waabwe, tewali nsonga eribazuukizisamukujja kwa Kristo omulundi ogwookubiri.Bagenda kusigalamu ntaana zaabwe okutuusiza ddala ebbanga ely’emyaaka 1000 lweggirigwako.Olwo bagenda kuzuukizibwa baweebwe ekibonerezo kyabwe.Mu kiseera ekyo abatuukirivu baliba nga bamaze okulaba omsango gwa buli omu ku babi era ne bamatira nga okusala kwa Katonda kwa nsonga. Lwansonga ki ababi balizuukizibwa? KUB.20:12-15. 11. Bantu bangeriki abalifuna okubonerezebwa mu kiseera kino? Kub:21.8.
97Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEkyokuyiga 36 OMULIMU GW’EMIZIMU Olunyiriri Olw’okujjukira:”Kale mutamirukukenga kubanga omulabe wammwe Setaani atambulatambula nga emplogoma ng’anoonya gwanalya.”1 Pet. 5:8. Ekigendererwa Okutegeera ng’emizimu bwe girwanyisa Katonda n’amazima ge okwetolola ensi yonna. Ebyanjula Ekyokuyiga eky’oktaano kisaanidde okusomwamu nate. Setaani bweyagobebwa mu ggulu, yegenda ne bamalayika bangi, era bano bebamuyambye ennyo mu bujeemu bwe ng’awakanya Katonda. Entandikwa y’emizimu emibi y’eruwa? 1. Baki abaasuulibwa okuva mu ggulu awmu ne Setaani? Kub. 12:92. Emizimu gino gibeerawa? 2 Pet. 2.4; Yuda 6.3. Girina obyinza okukola eby’amgero? Kub. 16 ;13, 14.Kristo yasobola okufuga emizimu? 4. Baddayimoni (emizimu) gy’amanya Kristo bwe yajja ku nsi kuno? Mat. 8: 29.5. Kukugira ki kristo kweyagitekako? Mak 1: 34; Luk. 4:416. Kristo yayamba atya abantu abaliko Babbayimoni? Mat. 8: 16; Luk. 4.33-36Kulabula ki okwawebwa ku mizimu emibi? 7. Abaana ba Katonda balowooza batya kwabo abakolagana n’emizimu emibi? Lev. 19:31; 20:6
98Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEkinnyonnyola Abebbulaniya baaganira ddala okwetaba mu ngeri yonna n’abo abasamira emizimu gy’abafu.Katonda kino yakiggalirao ddala bwe yagamba nti” Abafu tebaliiko kye bamanyi… era nga tebakyalina mugabo mu bintu byonna ebikolebwa wansi w’enjuba.”Mub9:5,6. Emizimu gino si gya bantu abo abaafa naye be bamalayika abbi, abawereza ba Setaani (PPOLUP. 685) 8. Abasamize n’abalogo bagattibwamu ttuluba lino? Ma. 18 : 10-13.9. Emizimu gino gykukolannyo mu kiseera eky’enkomerero? 1 Tim. 4.1: Kub. 12: 12.10.Okukola kwa Setaani kunnyonnyolwako kutya? 1Pet.5:8; 2Kol 11:14.11.Omukristaayo ayinza atya okuba omuwanguzi mu kulwanagana n’emizimu emibi? Bef6:11-13.12.Kusuubiza ki Kristo kweyawa ku buwanguzi? Luk.10:19,20.
99Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 37 OBULOGO Olunyiriri Olw’okujjukira: Kubanga ffe Katonda teyatuwa omwoyo ogw’okutya; naye ogw’amaanyi n’okwagala………..” 2Tim 1.7 Ekigendererwa: Okulaga nga obulogo bwebuli mu kukola kwa Setaani, era obulogo obwo Katonda abusalira omusango. Ebyanjula Omulabe ne bamalayika be bali mu lutalo nga balwana ne Katonda. Enteekateeka yaabwe kwekuteeka okutya mu mitima gy’abantu, bwebatyo babeere mu kikoligo mu mpisa ez’obukafiiri baleme kutegeera ddala eddembe abaana ba Katonda lye basanyukira. Okutya kuleetera omuntu eddembe? 1. Buddu bwangeri ki Isiraeri bwe yalimu bwe yava ku Katonda? Zab 106:35-37.2. Ebiweebwayo byonna ebitalagirwa Katonda biweebwa eri ani? 1Kol.10:20Biki ebiva mu busamize? 3. Tteeka ki Katonda ly’eyawa ku busamize n’obulogo? Lev. 19:31; Lev 20:27.4. Kabaka Saulo yamenya atya etteka lino? 1Sam 28:3,7-205. Buwandiike ki obwawandiikibwa Katonda Saulo olw’obutaba muwulize eri ekiragiro kya Katonda? 1Byom. 10:13.6. Kabaka ki omulala owa Isiraeri eyagezaako okuyamba abasamize era biki ebyavaamu? 2Basek.1:2,167. Okukolagana n’omusamize kuligaana omuntu okutuuka mu bwakabaka bwa Katonda? Bag 5:19-21.Ekinnyonnyola:
100Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedObusamize bugattibwa mu lukalala lw’ebibi ebirigaana omuntu okutuuka mu bwakabaka bwa Katonda. Okukkiririza mu busamize era n’okubeera mu kutya nabyo biba by’ebimu n’okusamirira ddala. 8. Bani abogerwako abaterekeddwa ennyanja ey’omuliro? Kub 21:8.Kukuuma kwangeri ki Katonda kwatukuumamu eri abasamize? 9. Abantu ba Katonda ani gwebasaanidde okunoonyanga buli kiseera? Is.8:19,2010. Kitwetaagisa okubeera n’okutya okulogebwa? Kubal.23:2311. Kusuubiza ki okuweebwa okw’okukuumibwa okw’amazima? Zab. 91:1-16Ekinnyonnyola Kyandibadde kirungi okukwata Zabbuli eno mu mutima 12. Okutya kwomuntu kulina ekitundu kyonna mu bulamu bw’Omukristaayo? 2Tim 1:1 ; 1Yok 4:18.
Search
Read the Text Version
- 1
- 2
- 3
- 4
- 5
- 6
- 7
- 8
- 9
- 10
- 11
- 12
- 13
- 14
- 15
- 16
- 17
- 18
- 19
- 20
- 21
- 22
- 23
- 24
- 25
- 26
- 27
- 28
- 29
- 30
- 31
- 32
- 33
- 34
- 35
- 36
- 37
- 38
- 39
- 40
- 41
- 42
- 43
- 44
- 45
- 46
- 47
- 48
- 49
- 50
- 51
- 52
- 53
- 54
- 55
- 56
- 57
- 58
- 59
- 60
- 61
- 62
- 63
- 64
- 65
- 66
- 67
- 68
- 69
- 70
- 71
- 72
- 73
- 74
- 75
- 76
- 77
- 78
- 79
- 80
- 81
- 82
- 83
- 84
- 85
- 86
- 87
- 88
- 89
- 90
- 91
- 92
- 93
- 94
- 95
- 96
- 97
- 98
- 99
- 100
- 101
- 102
- 103
- 104
- 105
- 106
- 107
- 108
- 109
- 110
- 111
- 112
- 113
- 114
- 115
- 116
- 117
- 118
- 119
- 120
- 121
- 122
- 123
- 124
- 125
- 126
- 127
- 128
- 129
- 130
- 131
- 132
- 133
- 134
- 135
- 136
- 137
- 138