Important Announcement
PubHTML5 Scheduled Server Maintenance on (GMT) Sunday, June 26th, 2:00 am - 8:00 am.
PubHTML5 site will be inoperative during the times indicated!

Home Explore ENJIGIRIZA YA BAIBULI

ENJIGIRIZA YA BAIBULI

Published by Bunjo Steven, 2020-05-27 02:00:05

Description: In this book you will have a chance to learn the basics SDA Bible study Guide.

Search

Read the Text Version

1Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited

2Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEBYOKUYIGA EKYOKUYIGA OLUPAPULA KATONDA OW’AMAZIMA .............................................................................................................................................. 7 Ekitabo Ekibikkula Katonda ......................................................................................................................................... 10 OBWAKATONDA BWA KRISTO ..................................................................................................................................... 13 OMULIMU GW’OMWOYO OMUTUKUVU.................................................................................................................... 15 SETAANI OMULABE WA KATONDA. ............................................................................................................................ 18 OBUTONZI, ENTANDIKWA Y’ENSI ................................................................................................................................ 22 OKUGWA KW’OMUNTU ............................................................................................................................................... 25 ENTEEKATEEKA YA KATONDA OKUKOLA OMUNTU .................................................................................................... 28 OBULAMU BULI MU KRISTO YEKKA. ............................................................................................................................ 32 OKUYIGA EKITABO KYA KATONDA. ............................................................................................................................. 35 OKWOGERA NE KATONDA. .......................................................................................................................................... 38 OMULIMU GWAFFE ERI KATONDA N’OMUNTU ......................................................................................................... 41 OKUYITA MU BYOKUYIGA BYONNA EBIYIGIDDWA .................................................................................................... 44 EBYANJULA EKITUNDU EKYOOKUBIRI. ........................................................................................................................ 46 OBUBONERO BW’OKUKOMAWO KWA KRISTO .......................................................................................................... 48 YESU NG’AKOMAWO OMULUNDI OGWOOKUBIRI. .................................................................................................... 51 OKUSALA OMUSANGO. ................................................................................................................................................ 53 AMATEEKA GA KATONDA ............................................................................................................................................ 55 AMATEEKA N’ENJIRI ..................................................................................................................................................... 57 OKWENENYA, OKWATULA, N’OKUSONYIYIBWA. ....................................................................................................... 59 OKUKYUKA N’OKUZAALIBWA OBUGGYA .................................................................................................................... 61 OBUWULIZE. ................................................................................................................................................................. 63 OLUNAKU LWA KATONDA OLUTUKUVU. .................................................................................................................... 65 OKUGEZAAKO OKUKYUSA SSABBIITI ........................................................................................................................... 67 AKABONERO KA KATONDA N’AKABONERO K’ENSOLO .............................................................................................. 71 ENGERI Y’OKUKUUMA OLUNAKU LWA SSABBIITI NGA LUTUKUVU. ......................................................................... 73 OKUDDAMU MU BIYIGIDDWA .................................................................................................................................... 76 EBYANJULA EKITUNDU EKYOKUSATU. ........................................................................................................................ 78 EKKANISA YA KATONDA ............................................................................................................................................... 80 EBITUNDU EBY’EKKUMI N’EBIRABO ............................................................................................................................ 82 OBWESIGWA N’AMAZIMA ........................................................................................................................................... 84 OBULAMU OBULONGOOFU. ........................................................................................................................................ 86 OBUFUMBO N’AMAKA AMAKRISTAAYO .................................................................................................................... 88 EMPISA N’ENNYAMBALA EBY’EKIKRISTAAYO ............................................................................................................. 90 OKWEGENDEREZA ........................................................................................................................................................ 91

3Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedABAFU ........................................................................................................................................................................... 93 OKUZUUKIRA ................................................................................................................................................................ 95 OMULIMU GW’EMIZIMU ............................................................................................................................................. 97 OBULOGO ..................................................................................................................................................................... 99 OKUKOLA KWA BAMALAYIKA .................................................................................................................................... 101 OKUYITA MU BYOKUYIGA BYONNA EBIYIGIDDWA .................................................................................................. 103 EBYANJULA EKITUNDU EKYOKUNA ........................................................................................................................... 105 OBUWANIKA BW’EKIKRISTAAYO. .............................................................................................................................. 106 OMULIMU GW’OMUNTU ERI GAVUMENTI ............................................................................................................... 108 KRISTO KABONA WAFFE ASINGA OBUKULU. ............................................................................................................ 110 EKISEERA EKY’OKUGEZEBWA OKUGGWAAKO .......................................................................................................... 113 OKUBONEREZEBWA KW’ABABI ................................................................................................................................. 116 ENSI EMPYA – EMPEERA Y’ABATUKUVU ................................................................................................................... 118 EBIRABO EBY’OMWOYO ............................................................................................................................................ 119 EKIRABO EKY’OBUNNABBI. ........................................................................................................................................ 121 EBIJJUKIZO BY’OMUKRISTAAYO. ............................................................................................................................... 124 OKUBATIZA ................................................................................................................................................................. 128 ENJIRI OKUTUUKA MU NSI YONNA. .......................................................................................................................... 131 EBISUUBIZO ERI ABAWANGUZI ................................................................................................................................. 134 OKUYITA MU BYOKUYIGA BYONNA EBIYIGIDDWA .................................................................................................. 137

4Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEBYANJULA Abaagala okufuuka abantu ab’e kkanisa kibetaagisa okuyiga Bayibuli bategeere enjigiriza zaayo. Ebyokuyiga bino 52 biteekeddwateekeddwa okuyamba. Aba Seventh-day Adventiists be bantu abamanyiddwa nga “Abantu ab’Ekitabo”. Buli muntu eyeteekerateekera okufuuka ow’ekkanisa asana okwagala Ekigambo kya Katonda n’okumalirira okugondera kye kiyigiriza. Okuyiga Bayibuli kuleeta emikisa gino: “Tewali kiwa maanyi birowoozo ekisinga okuyiga Ekigambo kya Katonda” (G.W. p. 249)“Abantu bwe bayiga Ekigambo kya Katonda, nga bwe kisaana, bafuna ebirowoozo ebigazi, empisa ennungi, n'ok’nywerera ku bigendererwa, ekintu ekitalabika nnyo mu biseera bino.” (SC.p 90). “Bwebayiga ekigambo kye bakiraba nga gwe mwoyo n’obulamu. Ekigambo kizikiriza obulamu bw’ensi, ne kiwa obulamu obuggya obuli mu Kristo Yesu.” (DA p. 391). “Obulamu bwaffe obw’omubiri nga bwe bukuumibwa emmeere, n’obulamu bwaffe obw’omwoyo bukuumibwa Kigambo kya Katonda nga buli muntu yefuunira yekka obulamu okuva mu Kigambo kya Katonda” (DA p.391) Kubanga ekkanisa ekkiriza nti “tewali musajja oba mukazi oba omuvubuka ayinza okutuukirira mu Bukristayo nga tafaayo kuyiga Ekigambo kya Katonda” (GSSW. P.17), eteseteese ebyokuyiga bino bibayambe. Ebyokuyiga bino okukugasa ennyo osaana obeere n’e Bayibuli weesomere wekka Ekigambo kya Katonda buli lunaku. Bw’ogenda mu kibiina ky’Essomero lya Ssabbiiti ofune omukisa okweyongera okuyiga ku kintu ekyo awamu n’abalala mu kibiina. Ekigambo kya Katonda kituyigiriza nti ebigambo eby’omwoyo wa Katonda bitegeerwa mwoyo (1 Kol. 2:14). Abantu beetaaga okuyambibwa mu by’omwoyo okutegeera Bayibuli. Olw’esonga eyo kirungi okukoteka ku mutwe okusooka okusaba Katonda okukukulembera nga ekyokuyiga tekinnatandika. Nga otandika okuyiga sooka oyige Olunyiriri olw’okujjukira; lulimu ekirowoozo ekikulu ennyo. Gezaako okuddamu ennyiriri ez’okujjukira emirundi mingi nga wejjukanya, era n’okukola ekyo kye zikugamba.

5Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedSsaako nnyo omwoyo ku ekyo ekigendererwa mu buli kya kuyiga n’okufuba okukituukiriza ng’ogenda oyiga ebibuuzo ebiri mu kyokuyiga. Ebyokuyiga ebiri mu kitundu ekisooka gwe musingi. Bituyigiriza ebintu byona nga bwe byatandika okubaawo. Oluberyeberye………………(Lub 1:1). Bw’onootegeera ebyokuyiga bino ebikulu onooba ofunye omusingi ogw’ebyokuyiga byonna ebirala ebiva mu Kigambo kya Katonda.

6Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedAmaanya g’ebitabo mubufunze n’ebwegagwayo 6T - Testimonies to the Church, Vol 6 MB - Thoughts from the Mount of Blessing 6BC - S.D.A Bible Commentary, Vol 6 BR - Bible Reading from the Home Circle GC - The Great Controversy COL - Christ’s Object Lessons MH - Ministry of Healing PP - Patriachs and Prophets ISM - Selected Messages, Vol 1 DA - Desire of Ages SC - Steps to Christ EV - Evangelism Ed - Education PK - Prophets and Kings AA - Acts of Apostles GW - Gospel Workers CSSW - Counsels on Sabbath School Work

7Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEkyokuyiga 1 KATONDA OW’AMAZIMA Olunyiriri olw’okujjukira: “Mukama ye Katonda yennyiyi ow’amazima; oyo ye Katonda omulamu era Kabaka ataggwawo” Yer 10:10 Ekigendererwa: Okumanya nti waliwo katonda omu yekka ow’amazima era nti tafaanana kifaananyi kyonna ekikolebwa omuntu. Ebyanjula Buli muntu alimu omwoyo ogwagala okusinza. Omuntu ategeera nti alina w’akoma era waliwo n’obuyinza obmusingako okuba obw’a waggulu. Okuyita mu mirembe mingi ebika bingi eby’abantu bazze nga tebategeera Katonda ow’amazima bwe batyo ne basinzanga baKatonda abakolebwa abantu. Naye baKatonda bano nga tebayiza kubayamba. Katonda Omutonzi yekka ye w’amazima, ow’obuyinza era ow’emirembe n’emirembe. Ani Katonda ow’amazima? 1. Katonda ow’amazima muntu ow’ekitiibwa? Kubal 23:19, Kos 11:9 Ekinnyonnyola: Katonda atutegeeza nti si muntu. Amawanga mangi ag’eedda abantu baabwe abazira era abakulu babafuulanga baKatonda nga bafudde. Oluvanyuma ne batandika okubasinzanga. Naye tewali muntu afuuka Katonda ng’afudde. 2. Katonda ow’amazima abeera wa? Isa 66:1, 1Tim 6:16 akatundu akasooka Ekinnyonnyola: Amaka ge gali wala okuva mu bbanga, wala nnyo ebirowoozo byaffe gyebitayinza kutegeera bbanga eririwo. Amaka gayitibwa “Ggulu.” 3. Katonda ow’amazima wa ngeri ki? Yok 4:24, Isa 40:28 Ekinnyonnyola: Katonda Mwoyo. Wa njawulo nnyo ku muntu. Katonda ow’amazima wa mirembe na mirembe, taliiko ntandikwa era taliiko nkomerero. 4. Tuyinza okulaba Katonda ow’amazima: Tok 5:37, 1Tim 6:16

8Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEkinnyonnyola: Ekitiibwa kye kinene nnyo, omwononye bwakitunulako tayina kuba mulamu. Bwatyo kyava atwebikkulira mu ngeri endala. “Okwebikkula kwa Katonda yennyinyi mu Kigambo kye tusaana okukuyiga. Kino kye tusaana okunoonya n’okutegeera. Naye ebisukka ku ebyo tetuliba kubiyingiramu. Amagezi g’omuntu agasingira ddala okuba aga waggulu gayinza okunoonyereza okutuusa lw’akoowa nga tategedde ngeri ya katonda ow’amazima; era okufuba kwe kwonna ne kuba kwa bwerere. Obuzibu buno tebwaweebwa ffe okubutereza. Ebirowoozo by’omuntu tebiyinza kutegeera Katonda. Omuntu tasaana kunnyonnyola. Waleme okubaawo asanyukira okunnyonnyola engeri ye. Wano okusirika kwe kwetaagibwa. Tekisaana kunnyonnyola ngeri ya Katonda” (8T.p.279) “Bwe tugenda nga tweyongera okuyiga Katonda bw’ali, naffe nga bwe tuli mu maaso ge, tutuuka kukukankana n’okutya mu maaso ge.” (8T.p.283) Tulina obukakafu obw’obuyinza bwe? 5. Tuyinza tutya okutegeera katonda ono atalabika? Bal 1:20 Ekinnyonnyola: Katonda ow’amazima ayinza okutegeerwa lw’okusoma ku bitonde bye yatonda. Twetaaga obukakafu obulaga nti waliwo obuyinza obwa waggulu obwatonda ebintu byonna. 6. Katonda ow’amazima yalaga mu ngeri ki obuyinza bwe? Yer 23:17, Zab 19:1 7. Tugambibwa kutunula wa okufuna obukakafu obw’obuyinza bwe? Isa 40:26 Ekinnyonnyola: Enjuba, omwezi n’emmunyeenye bikakasa obuyinza bwe. Byonna biwaniririrwa eyo mu bbanga n’omukono ogutalabika. Enjuba, omupiira omunene ogw’omulirp ogutazikira gusinga ensi obunene emirundi mingi.

9Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEmmunyeenye tezibalika omuwendo gwazo. Naye Katonda ow’amazima zonna azimanyi amannya. Abakugu mu by’emmunyeenye bagenda nga beyongera okuvumbula emmunyenye empya (eri bo). Emunnyeenye ezimu eziri ewala ennyo zetutayinza kumanya bbanga eririwo okuzituukako nazo nnyingi. Katonda ow’amazima agamba ki ku ba Katonda abakolebwa abantu? 8. Katonda ow’amazima akkiriza omuntu okukola ekifaananyi ekiraga ye bw’afaanana? Kuv 20:4,5 9. Kiki ekiraga obusirusiru bw’abo abakola ebifaananyi? Isa 44:9-17, 46:5-7, Zab 115:2-8 Ekinnyonnyola: Omuntu akwata omuti n’agubajjamu ekifaananyi oluvannyuma n’akisinza aba atawanira bwereere. Bw’atyo tategeera nti talina buyinza okuteeka obulamu mu kitundu ky’omuti kyaba akoze. Okusinza ebifaananyi mu ngeri yonna kuba kwegaana Katonda. 10.Kiki eky’okuba ku bakatonda aboobulimba? Yer 10:11

10Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 2 Ekitabo Ekibikkula Katonda Olunyiriri olw’Okujjukira: “Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, naye ekigambo kya Katonda waffe kinanywereranga ennaku zonna” Isa 40:8 Ekigendererwa: Okulaga nti Ekigambo kya Katonda ekiwandiike, Bayibuli Katonda mwe yebbikkulira yennyini eri omuntu. Ebyanjula Waliwo Katonda omu yekka ow’amazima, ow’emirembe n’emirembe. Yebikkulira omuntu okuyita mu mirimu gye egy’obutonzi. Kyokka waliwo n’engeri endala gye yebikkulamu eneeyigibwa mu kyokuyiga kino. Bayibuli y’ani? 1. Bayibuli eyitibwa mannya ki? Mat 21:42, Luk 8:21 Okunnyonnyola: Eyitiibwa eby’awandiikibwa. N’eddala n’eyitibwa “ Ekigambo kya Katonda” 2. Katonda ye yawandiida Ebyawandiikibwa? Atya? 2Tim 3:16 3. Ani yakulembera omulimu gw’okuwandiisa obubaka buno obwava eri Katonda? 2Pet 1:21 “Abantu abatukuvu aba Katonda” be Bebbulaniya eggwanga Katonda lye yalonda nga be bantu be abenjawulo mu nsi. Abantu ssi be baawandiika Bayibuli. Bo bayamba buyambi okugikyusa okuva mu nnimi ze yasooka okuwandiikibwamu okugizza mu nnimi endala nga bayambibwa abantu bannanyini nnimi ezo. Bayibuli yajja etya eri abantu?

11Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited4. Abantu baayamba batya mulimu guno ogw’okubikkulirwa? Beb1:1; Kub.1:1 Ekinnonnyola: Bo baali babaka ab’okuyisamu obubaka bwa Katonda eri abantu. 5. Waliwo obubaka obumu obwayogerwa era ne buwandiikibwa? Bik 1:16; 2Sam. 23:2 6. Abantu bameka abaakola ekitundu mu kuwandiika Bayibuli? Ekinnyonnyola: Abantu amakumi ana (40) baalina ekitundu mu kuwandiika Ekitabo (Bayibuli). Baaliwo mu bbanga lya myaka egy’asukka olukumi mu bitaano. “Empandiika y’ekitabo kino yeewuunyizibwa. Mulimu ebigambo ebywandiikibwa bakabaka, abalangira, abayiiya, abasajja abamagezi, abavubi, abafuzi, abasajja abaayigirizibwa mu magezi ag’e Misiri, abaayigirizibwa mu masomero ag’e Babuloni, abaayigirizibwa ku bigere bya ba Rabbi b’e Yerusalemi. Kyawandiikibwa abantu abaali mu buwanganguse, mu malungu, mu weema ez’abasumba, mu malundiro ag’omuddo omuto, n’ekumabbali g’amazzi amateefu; mu bawandiisi baakyo mulimu n’abawooza, abasumba, ababuulizi, abaali bawangangusibbwa abakulu b’amaggye, abateesi b’amateeka, abalamuzi, abasajja aba buli ddala n’ekibiina abalabika mu kitabo kino eky’ekitalo, ekirimu ebiwandiiko byonna eby’engeri ezitali zimu. Ebitabo bino enkaaga mu mukaaga (66) byandibaddemu okutabukatabuka Kunene singa byawandiikibwa abantu aba bulijjo.” W.Hasting, in Will the Old Book Stand, P.19 Biki ebiva mu kusoma ekigambo kya Katonda? 7. Ebyawandiikibwa biyinza kukolera ki oyo abisoma? 2Tim 3:15 8. Ekigambo kya Katonda kikola ki emitima gyaffe? Beb 4:12

12Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited“Bayibuli amaanyi g’erina mu kuyigiriza, terina kigivuganya. Mu kigambo kya Katonda okufumiitiriza mwe kusinziira okufuna ebirowoozo ebigazi, n’okulungamizibwa okwa waggulu. Bayibuli bye byafaayo ebiyigiriza eri abantu. Esobola okuzza obuggya ebirowoozo ng’eggya ku nsulo ey’amazima, era Katonda yakuuma obutukuvu bwayo okuyita mu mirembe gyonna. Etumulisiza mu byafaayo ebyedda ennyo ebyayita, okunoonyereza kw’abantu gye kugezaako okusensera naye ne kulemererwa. Mu kigambo kya Katonda mwe tulabira amaanyi agaateekawo emisingi gy’ensi era ne gabamba eggulu. Muno mwokka mwetusanga ebikwata ku lulyo lwaffe ebyafaayo ebitaliimu kacica wa ndowooza ya muntu oba amalala g’omuntu. Mwe muli entalo, okulemwa n’okuwangula okw’abantu abasingira ddala obukulu ensi eno be yali ebabadde nabo.” (pp.596). 9. Bayibuli eyinza etya okutuyamba mu ntambula yaffe eya buli lunaku?Zab 119:9, 105. Luk 4:4. 10.Ekigambo kya Katonda kiyinza kumala bbanga ki nga kikola? Isa 40:8 Ekinnyonnyola: Ku by’ebitabo Ekikulu, nnina kino kyokka okwogera; kye kirabo ekisingira ddala obulungi Katonda kye yawa abantu.” “Tutekwa okutwala Ekigambo kya Katonda nga obuyinza obusingira dda obukulu.” 6T p.402.

13Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 3 OBWAKATONDA BWA KRISTO Olunyiriri Olw’okujjukira: “Ku lubereberye waaliwo kigambo, Kigambo n’aba awali Katonda, Kigambo n’aba Katonda………..Kigambo n’afuuka omubiri.” Yok 1:1,2,14 Ekigendererwa: Okulaga nti Yesu Kristo Katonda. Ebyanjula Ebyawandiikibwa mwe muli okubikkulibwa kwa Katonda eri omuntu kukulembera kwe okwa buli lunaku naye n’okutegeera Katonda. Tulina omukisa okutegeera Katonda n’engeri gye yeragiramu mu mubiri. Kristo amaze bbanga ki nga waali? 1. Tuyiga ki ku Kristo mu Byawandiikibwa? Yok 1:1-3, 14 Ekinnyonnyola: Yaliwo kuva ku lubereberye. Yali ne Katonda. Yali Katonda. Yakola ekitundu mu mulimu gw’obutonzi. Yajja mu nsi muno okubikkula Katonda Kitaffe. Yamanyibwa nga Katonda Omwana. 2. Waliwo enjawulo wakati wa Katonda Kitaffe ne Katonda Omwana. Beb 1:1-3; Bak1:13-17 Ekinnyonnyola: Kristo annyonnyolwako nga; Okumasamasa okw’ekitiibwa Kitaawe. Nga y’alaga ekifaananyi kye. Ekifaananyi kya Katonda atalabika Omutonzi. Omuwanirizi ow’ebintu byonna. 3. Obuwandiike obw’obutonzi bukkiriziganya na kino? Lub 1:26 Ekinnyonnyola: Akagambo “tu” akakozesebwa kategeeza abaakola omulimu gw’obutonzi bwe baali basukka ku omu. Aba Kristaayo bakkiriza nti baali Kitaffe Omwana, ne Lub 1:2 Omwoyo naye n’ayogerwako nga yaliwo.

14Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedYalabika ddi mu nsi eno? 4. Bayibuli eyigiriza nti Kristo yali yabaawo dda? Mik 5:25. ObwaKatonda bwe bwalagulwako nga tanajja mu nsi eno? Luk 1:35. Mat 3:17.“Kristo bwe yafuuka omuntu yali akyali Katonda. Newankubadde nga yetoowaza n’afuuka omuntu, yali akyalina obwaKatonda bwe. Kristo yekka ye yali asobola okulaga abantu nga Kitaawe bw’afaanana.” DA p.663. 6. Kristo yakakasa nga bw’ali obumu ne Kitaawe? Yok 10:30; Yok 17:9-11.Ani Kristo gw’ayagala ennyo? 7. Kiki ekisingira ddala obukulu ku ngeri ya Katonda? 1Yok 4:88. Okwagala kuno kwabikkulibwa kutya? Bal 5:8, Yok 3:16.Tewali mulala yenna wabula Omwana wa Katonda ye yasobola okutuukiriza okununulibwa kwaffe; kubanga oyo yekka eyali mu kifuba kya Katonda ye yasobola okumutegeeza. Oyo yekka eyamanya obugulumivu n’obuziba obw’okwagala kwa Katonda ye yasobola okukulaga. Waali tewaliwo kintu kyonna ekyasinga ssaddaaka ya Kristo ennene gye yawaayo olw’omuntu eyagwa okulaga okwagala kwa Kitaawe eri abantu abaabula.” SC.p.14 9. Lwaki yajja mu nsi eno? Mat 1:21,23. Ekinnyonnyola:“Kristo ayingira mu mwoyo gw’omuntu bw’ayanirizibwa nga omulokozi w’omuntu.” (DA p.556) 10.Kristo akyali mulamu era akyakozesa obuyinza bwe obw’ObwaKatonda, oluvanyuma lw’okukomererwa? Beb 4:14, 15. Beb 1:8. Ekinnyonnyola; “ObwaKatonda bwa Kristo bwe bukakafu bw’omukkiriza obw’obulamu obutaggwawo.” (DA p.530)

15Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 4 OMULIMU GW’OMWOYO OMUTUKUVU Olunyiriri Olw’okujjukira: “Omubeezi Omwoyo Omutukuvu Kitange gw’alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna.” Yok 14:26. Ekigendererwa: Okubukkula ekigendererwa n’omulimu gw’Omwoyo Omutukuvu. Ebyanjula Ebyawandiikibwa n’okutegeeza kwe yennyini biraga nti Kristo Katonda. Okutambula kwe mu mubiri ogw’obuntu kwongera ekkowe eddala ery’olujegere olugatta omuntu n’eggulu. Bwe yaddayo mu ggulu yateekateeka obwaKatonda bwe bweyongere okulagibwa ku nsi, era n’akolawo enteekateeka. Tuyigira wa ku Mwoyo ow’Emirembe n’Emirembe? 1. Tusanga wa mu Byawandiikibwa obukakafu obw’Omwoyo Omutukuvu? Yob 26:12, Lub 1:2 2. Kusuubiza ki Kristo kwe yawa abagoberezi be mu Mwoyo Omutukuvu.Yok 14:16,17 Ekinnonnyola: “Omwoyo Omutukuvu kye kirabo ekyasingira ddala byonna obukulu kye yayinza okusaba Kitaawe olw’abantu be. Omwoyo yagabwa olw’okusobozesa okuzaalibwa omulundi ogwookubiri, era awatali ye ssaddaaka ya Kristo teyandibadde na mugaso…………. Ekibi kiyinza okuziyiizibwa n’okuwangulwa olw’Omwoyo Omutukuvu, ow’okujja amaanyi amajjuvu aga Katonda. Omwoyo yasobozesa omulimu gw’omununuzi w’ensi okubala ebibala. Omwoyo omutukuvu yafuula omutima omulongofu. Omwoyo y’asobozesa omukkiriza okugabana ku buzaaliranwa bwa Katonda. Kristo agaba Omwoyo we ng’amaanyi ga Katonda okuwangula obunafu bwonna obuleeta okukola ekibi n’okuyingiza empisa ze mu kkanisa ye.” (DA p.671)

16Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited3. Tutegeera tutya Omwoyo Omutukuvu nga bwe yali akola mu kiseera eky’Endagaano Enkadde? Lub 6:3 4. Ani ow’okutuma Omwoyo Omutukuvu Kristo gwe yasuubiza? Yok 14:26. OMULIMU GWE 5. Mirimu ki egimu Omwoyo gyakola? Yok14:26; Yok 16:8,13,14.Ekinnyonnyola: Lowooza emikisa Omwoyo gy’aleeta: Alibayigiriza byonna. Alibajjukiza Kristo bye yayigiriza. Anenya ekibi mu bulamu. Alibakulembera mu mazima gonna. Alibalaga ebigenda okujja. (Ekirabo eky’obunnabbi) Agulumiza Kristo. Kitegerekeka bulungi okuva mu Byawandiikibwa bino nti Omwoyo Omutukuvu ye Mubaka wa Kristo ku nsi. Ekkanisa yonna bw’egezaako okuteeka Omuntu mu kifo ky’Omwoyo Omutukuvu, eba nga egezaako omuntu mu kifo kya Katonda. 6. Omwoyo Omutukuvu yakola kitundu ki mu kukungaanya byawandiikibwa? 2 Pet 1:21 Ebibala Eby’omwoyo 7. Kabonero ki ak’oku ngulu akalaga Omwoyo Omutukuvu ng’ali mu mutima gw’omukkiriza? Bag. 5:22, 23.8. Omwoyo Omutukuvu ayinza atya okufuga obulamu bwaffe? Bag 5:16.Kristo yasuubiza ekirabo eky’Omwoyo Omutukuvu ekkanisa ye, era okusuubiza okwo kwaffe nga bwe kwali okw’abayigirizwa abaasooka. Naye nga okusubiza okulala kwonna, kuweebwa nga kulina omusingi okusinziirwa. Waliwo bangi abakkiriza era abaatula okusuubiza kwa Mukama n’okukukayanira; boogera ku Mwoyo Omutukuvu, naye nga tebagasibwa. Tebajemulukuka bakulemberwe Omwoyo. Si ffe tuteekwa okukozesa Omwoyo. Naye Omwoyo y’atukozesa. Kyokka abangi tebajemukuka. Bagala kwekulembera bokka. Ekyo kye kibaziyiza

17Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedokufuna ekirabo eky’omu ggulu. Abo bokka abalindirira Katonda n’obuwombeefu nga batunulira okukulembera kwe n’ekisa, be baweebwa Omwoyo. Amaanyi ga Katonda gali awo nga galindiridde okugasaba n’okugakkiriza. Omukisa guno ogw’asuubizibwa gugobererwa emikisa emirala. Omwoyo agabwa ng’obugagga obw’ekisa kya Kristo bwe era mweteefuteefu okuwa buli muntu nga bw’asobola okufuna.” (DA p.672) 9. Tuyinza okunakuwaza Omwoyo Omutukuvu? Bef 4:30 Tuteekwa okunoonya Omwoyo okubeera awamu naffe, abeere amaanyi gaffe mu bunafu bwonna, nga gye mirembe gyaffe mu mitawaana gyonna, era amagezi gaffe mu kizikiza kyonna, nga ye mukulembeze waffe mu kweraliikirira kwonna, omusanyusa waffe era obutukirivu bwaffe ng’ekibi kitwolekedde n’amaanyi, ye muwanguzi w’ebikemo byaffe era mukwano gwaffe atusanyusa mu nnaku zaffe. Omwoyo oyo aweebwa buli ku ffe alindiridde okuyingira mitima gyaffe. “ Dr. Alexander Maclaren. 10.Kiki ekinaalabika mu bulamu bw’Omukristaayo ajjudde Omwoyo? Bik 1:8; Mat. 28:19, 20.

18Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 5 SETAANI OMULABE WA KATONDA. Olunyiriri Olw’okujjukira: “Akola ekibi wa Setaani; Kubanga okuva ku lubereberye Setaani akola ekibi.” 1Yok 3:8 Ekigendererwa: Okunoonya ensonga Katonda kye yava akkiriza ekibi okuyingira mu mulimu gwe omulungi ogw’obutonzi. Ebyanjula Bangi balowooza entandikwa y’ekibi n’okubeerawo kwakyoo nga ye nsibuko y’okweraliikira okunene. Balaba omulimu gw’omubi, n’ebivaamu eby’entiisa n’okubonaabona ne beebuuza ensonga Omuyinza w’ebintu byonnaajjudde amagezi n’obuyinza n’okwagala ky’ava atunuulira obutunuulizi ebintu ebyo byonna. Wano we wali ekyama, ekitayinzika okuzuulako ekikinnyonnyola.” (GC p 492). Ekibi ekitwetoloodde kyasinzira ku ki? 1. Ekibi kye ki? 1Yok 3:4 “Tekiyinzika okunnyonnyola entandikwa y’ekibi n’okuwa ensonga ekibeesaawo. Naye ekimala kiyinza okutegeerwa ku ntandikwa n’enkomero yaakyo, okulaga obulungi obutuukirivu n’okusaasira kwa Katonda ku ngeri gy’akolaganamu n’ekibi. Tewali kintu ekinnyonnyola obulungi mu Byawandiikibwa okusinga ekyo ekiraga nga Katonda bwatalina buvunanyizibwa bwonna ku ntandikwa y’ekibi; era nti okukomya ekisa kye tekyali kikolwa kya bukambwe, mu gavumenti ya Katonda temwali bunagu bwonna obwandisinziddeko obujeemu. Ekibi kyajja kyokka era tewali muntu asobola okunnyonnyola enzijja yaakyo. Kino kyaama ekitannyonnyolekeka: okukiwolereza kuba kukirwanirira. Singa eky’okukiwolereza kiyinza okuzuulibwa, oba ekyakireeta okulagibwa, kyandikomye okuba ekibi. Okunnyonnyola okutuufu kwokka ku kibi kwe kwo okulagibwa mu Kigambo kya Katonda; bwe bujeemu; lwe lutalo olulwanyisa amateeka amakulu ag’okwagala, omusingi gwa gavumenti ya Katonda.” (GC p.492, 493)

19Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited2. Ani eyasooka okwogerwako nga ye mwonoonyi eyasooka? 1Yok 3:8, Yok 8:44. 3. Waaliwo abalala abaayonoonera awamy ne Setaani? 2Pet 2:4 4. Kiki ekirala ekyayogerwa ku Setaani era ayitibwa mannya ki? Kub 12:9. Ani yali Kerubi Abikkako? 5. Setaani yalina kifo ki eky’ekitiibwa mu ggulu? Ezek. 28:12-15. Kitegerekeka bulungi mu bigambo bino ebiri mu Ezek. 28 nga byogera ku oyo eyaliwo mu lusuku Adeni. Baali basatu eyo: Adamu, Kawa n’omusota. Tumaze okukiraba nti erimu ku mannya ga Setaani ayitibwa Omusota Ogwedda. Katonda teyatonda Setaani wabula yatonda malayika omulungi eyali ajjudde amagezi n’obulungi. Yayitibwanga Lusifa, amakulu nti “omusituzi w’omusana.” Ebyo ebinnyonnyola ku mulimu gwe biraga nti yali muyimbi era mpozzi nga ye mukulu w’abayimbi mu ggulu. Yabeeranga awali entebe ya Katonda nga ye Kerubi eyafukibwako amafuta abikkako. Obulungi n’ekitiibwa byali bibye. Katonda yatonda Lusifa mu ngeri yeemu nga bwe yatonda ebitonde bye ebirala byonna. Yamuwa obuyinza obw’okulonda. Yasobola okwagala n’okuwereza Katonda oba okugaana. 6. Mwoyo ki omwegombi Lusifa gwe yafuna? Mpola mpola Lusifa yagenda ng’asanyukira omwoyo ogw’okwegulumiza yekka……. Newankubadde ng’ekitiibwa kye kyonna kyava eri Katonda, malayika ono ow’obuyinza yatuuka ku kubirowoozako nga ebibye ku bubwe. Newakubadde nga yali aweereddwa ekitiibwa okusinga eggye ery’omu ggulu, yegomba ekitiibwa ekyali eky’Omutonzi yekka. Mu kifo ky’okunoonya okugulumiza Katonda okusinga n’okukulembera ebitonde ebirala byonna okumwagala n’okumugondera, yaanyiikira kubasendasenda bamuweereze ye n’okumugondera. Ne yeegomba ekitiibwa Kitaffe kye yawa Omwana we, malayika ono omukulu yeegomba obuyinza obwali obwa Kristo yekka.” (PP. p.35) “Setaani yateekateeka obulimba bwe n’amagezi mangi akuumire ebirowoozo y’abantu ku kunoonya ekyo Katonda kyataabagaliza

20Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedkumanya, era yaatababikkulira. Eno ye nsonga eyaleetera Setaani okufiirwa ekifo kye mu ggulu. Yanakuwala kubanga ebyama byonna eby’ebigendererwa bya Katonda tebyamutegeezebwa, natafiira ddala ku mulimu gwe ogwamubikkulirwa mu kifo kye yali awereddwa. Olw’okuyingiza obutasanyuka bwe bumu bamalayika abaali wansi we, yabasuula. Kakano anoonya okuyingiza mu birowoozo by’abantu omwoyo gwe gumu ng’abakulembera obutassa mwoyo ku mateeka ga Katonda.” (GC.p.523) Kiki ekyasuula Setaani? 7. Biki ebyabaawo mu ggulu nga by’ebyo mu bujeemu bwa Setaani? Kub 12:7-9; Luk 10:188. Setaani ne bamalayika be baagenda wa? 2Pet 2:4; Kub 12:12.9. Tuweebwa kulabula ki ku mirimu gya Setaani leero? 1Pet 5:8“Obuyinza n’obukyayi bwa Setaani n’eggye lye byanditweraliikirizza, singa tetufuna buddukiro n’okulokolebwa amaanyi g’Omununuzi waffe. Tukuuma n’obwegendereza amayumba gaffe n’emisumaali, n’ekkufulu okukuuma ebintu byaffe n’obulamu bwaffe okuva mu bantu ababi, naye tulowooza Katono ku bamalayika ababi abanoonya ebiseera byonna amakubo mwe banatusembererera era ffe ku bwaffe tetulina maanyi na makubo mwe tusobolera okwerwanirira fekka………… Naye abo abagoberera Kristo ennaku zonna ba ddembe olw’okukuuma kw’abakuuma. Bamalayika abasing amaanyi batumibwa okuva mu ggulu okubakuuma. Omubi tasobola kuyita ku bakuumi Katonda be yasaawo okwetoolola abantu be.” (GC p.517) 10.Lwaki Katonda teyazikiriza Setaani? 2Pet 3:9 “Newankubadde nga yagobwa mu ggulu, Katonda teyazikiriza Setaani. Okuva okuweereza okw’okwagala nga kwe kuyinza okukkirizibwa eri Katonda obuwulize bw’ebitonde bye buteekwa kusinziira ku kulumiriza okw’obutuukirivu bwe n’okugaba kwe. Bamalayika ab’omu ggulu n’abo ababeera mu nsi, olw’obutaba beetefuteefu okutegeera engeri y’ekibi

21Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedoba ebikivaamu, tebandisobodde kulaba butuukirivu bwa Katonda mu kuzikiriza Setaani. Singa yazikiririzibwawo amangu ago, abamu bandiweerezza Katonda lwa kutya okusinga okumuweereza olw’okumwagala. Amaanyi g’omulimba tegandizikiririzibbwa ddala, n’omwoyo ogw’obujeemu tegwandimaliddwawo. Olw’obulungi bw’ensi zonna okuyita mu mirembe gyonna, ateekwa okulaga enjigiriza ye, okunenya kw’alina ku gavumenti ya Katonda kulyoke kulagibwe mu musana ogutegeerekeka obulungi ebitonde byonna, obutuukirivu bwa Katonda n’okusaasira kwe n’amateeka ge nga bwe gali ag’emirembe gyonna bibe nga tebiriiko kubuusabuusa kwonna.” (PP. p 42)

22Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 6 OBUTONZI, ENTANDIKWA Y’ENSI Olunyiriri Olw’okujjukira: “Osaanidde ggwe Mukama waffe. Katonda waffe okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza; kubanga ggwe wabitonda byonna, byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.” Kub 4:11 Ekigendererwa: Okunoonya Katonda bye yakola mu mulimu gwe ogw’obutonzi obw’ensi eno n’okutegeera nti ayagala omulimu guno gujjukirwenga. Ebyanjula Obujeemu bwa Lusifa bwasoomoza gavumenti ya Katonda mu ggulu. Newankubadde nga Kerubi Abikkako ne bamalayika abalala abangi baasulibwa okuva mu ggulu, Katonda teyakyusa nteekateka ze ez’okutonda ensi eno n’okugiteekamu obulamu. Ensi Eno Yatondebwa Etya? 1. Ani Ebyawandiikibwa gwe bibikkula nga ye Katonda? Lub 1:12. Katonda yayita mu ani okutonda ebintu byonna? Bak 1:16; Bef 3:9; Beb 1:2; Yok 1:3Ekinnyonnyola: Ekitundu kya Kristo mu butonzi kikakafu. Ebintu byonna byatondebwa ku bw’oyo. Tewali kintu kyonna ekyakolebwa awatali ye. Ensi zonna zaatondebwa ku lulwe. Ebintu byonna byatondebwa kulwa Yesu Kristo. 3.Ebintu byatondebwa bitya? Zab 33:6,9 Kiki ekyasooka okutondebwa ku buli lunaku mu Ssabbiiti ey’Obutonzi? 4. Kiki ekyasooka okukolebwa mu butonzi? Lub 1:3-5“Kyali tekiyinzika obulamu okubaawo awatali butangaavu, era nga Omutonzi atandika omulimu gw’okutereeza ebintu ebyali

23Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedbyetabuddetabudde n’okutonda ebimera eby’enjawulo n’okutonda ensolo okubeera mu nsi, obutangaavu bwali bwetagibwa okubaawo. Obutangaavu ge maanyi agalabika. Obutangaavu oba okumasamasa ke kabonero ak’okubeerawo kwa Katonda. Nga obutangaavu bwe bwetaagibwa olw’obulamu obw’omubiri, n’omusana gwa Katonda gwetaagibwa olw’obulamu obw’omwoyo. ‘Katonda gwe musana.’ 1Yok 1:5’ (1BC pp. 209, 210). Enjigiriza etekkiriza bya butonzi egamba nti kyatwala emyaka bukadde na bukadde ensi okubaawo; mu kugatta ekirowoozo kino ku Bayibuli, ennaku ez’obutonzi zamanvu zawanvuyizibwa nnyo, ebiseera byetayinza kukakasa, eby’emyaka enkumi n’enkumi oba obukadde n’obukadde obwemyaka. Okubalirira okw’engeri eyo tekwetaagibwa. Obuwandiike bwa Bayibuli butabagana nayo era n’okuyigiriza kw’ebitonde. Obuwandiike obw’olunaku olwasooka olw’obutonzi bugamba nti; ‘Ne buba akawungeezi ne buba enkya olwo lwe lunaku olw’olubereberye’ Lub 1:5. Ekintu kye kimu ekyogerwa ne ku nnaku endala Ssabbiiti ey’obutonzi. Ekigambo ekyalungamizibwa Omwoyo wa Katonda kigamba nti olunaku lwalimu akawungeezi n’enkya, nga bwe kiri mu buli lunaku okuva mu kiseera ekyo.” (Education, p.128-129). 5. Tegeeza nga ensi bwe yateekebwateekebwa mu nnaku ebbiri ezaddirira. Lub 1:6-13.“Ensi bwe yava mu mukono gw’Omutonzi waayo yali nnungi nnyo. Yalimu ensozi ennene n’entono, n’emiseetwe, yalimu emigga n’ennyanja; naye ng’ensozi ennene n’entono tezirabika nga bwe ziri kaakano; tezaali neesulifu nga zirabika, amayinja n’enjazi byali nga bibikiddwako ettaka eggimu era buli wantu ebintu byonna byali kiragala. Temwali migga mibi oba amalungu amakalu. Wonna eriiso lyatunulanga nga liraba bimuli ebirungi. Emiti gyali miwanvu okusinga egiriwo kaakano. Empewo zaali nga tezirimu bulwadde, zaali nga zijjudde obulamu. Ensi yonna yalabika nga nnungi era nga n’ettaka gimu erisobola okubaza ebibala. Bamalayika basanyukangna

24Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedokutunuulira ebintu ebyo, n’okusanyukira emirimu egy’ekitalo egy’Omutonzi.” (PP p.44) 6. Kiki ekyakolebwa ku lunaku olw’okuna obulamu bulyoke bubeerewo ku nsi? Lub 1:16-197. Kiki ekyalabika ku nsi mu nnaku ebbiri ezaddirira? Lub 1:20-25Mulimu ki ogwasinga obukulu mu butonzi? 8. Mulimu ki omukulu ogw’obutonzi ogwakomererayo? Lub 1:26-28.Wano entandikwa y’abantu eragibwa bulungi; era obuwandiike bwa Katonda bulaga nti tewali nsobi eyakolebwa. Katonda yatonda omuntu mu kifananyi kye. Wano tewali kyama. Ebirowoozo nti omuntu yagennda ayita mu mitendera okutuusa lwe yafuuka omuntu tekirina musingi, nti yava mu nsolo eza wansi oba mu bimera. Enjigiriza ey’engeri eyo essa wansi omulimu gw’Omutonzi, okwenkanankana n’okulowooza kw’omuntu okutono. Abantu baagala okugyawo Katonda obutaba mufuzi wa nsi zonna, bwe batyo bassa wansi omuntu, ne bamuggya ku ddala lye kwe yatonderwa. Abakugu mu by’enjazi nga balungamizibwa Omwoyo wa Katonda, baddayo emabega kutandikwa y’ensi, si ku lunyiriri olw’obuwuka obukula, naye ku Mutonzi omukulu. Newankubadde nga Adamu ne Kawa baakolebwa okuva mu nfuufu, baali ‘baana ba Katonda’.” 9.Katonda yakola ki okussa akabonero ku Ssabiiti ey’obutonzi? Lub 2:1-3 10.Akabonero ka Katonda ku butonzi kaali ka kujjulirwa katya? Kuv 20:8-11 “Katonda yalaba nti Ssabbiiti yetaagibwa omuntu, newakubadde mu Adeni. Yali yetaaga okuleka ebyo by’asanyukira ku lunaku lumu mu buli nnaku musanvu, alyoke asobole okulowooza ennyo ku mirimu gya Katonda, n’okulowooza ku buyinza bwe n’obulungi bwe.Yali nga yetaaga nnyo Ssabbiiti okumujjukizanga Katonda n’okumuzuukusa okwebaza olw’ebyo byonna bye yasanyukiranga bye yalina yafuna eri Omutonzi.” (PP p.48)

25Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 7 OKUGWA KW’OMUNTU Olunyiriri Olw’Okujjukira; “Ku bw’omuntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw’ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” Bal. 5:12. Ekigendererwa: Okulaga ebyava mu kujeemera amateeka ga Katonda n’embeera ennungi bweteyinza kumala okufuula muntu okuba omulungi. Ebyanjula Omulimu ogwakolebwa mu nnaku omukaaga ez’obutonzi gwamalirizibwa n’okutonda omuntu. Katonda yali ateeseteese omuntu asanyukirenga mu nsi eno ennungi, kyokka nga okugisanyukiramu kwa kusinziira ku buwulize bwe eri Katonda.Naye omuntu yakola kirala! Amaka g’Omuntu Agaasooka 1.Omuntu yateekebwa wa oluvannyuma lw’okutondebwa kwe? Lub. 2:8. Nga oggyeko okubeera mu maka amalungi, Katonda yawa omuntu amateeka olw’okubeerawo kwe. (PP p.49) 2.Miti ki egyali mu lusuku? Lub. 2:9. Ekinnyonnyola:Tusoma ku bigambo bya Adamu ne Kawa eby’okulya ku muti ogw’obulamu nti, “Baali bajjudde amaanyi, era ng’amagezi gaabwe gabulako katono okuba nga aga bamalayika olw’okulya ku muti ogw’obulamu.” (PP. p50). Babeeranga ne bamalayika era ne Katonda ng’abakyalira buli lunaku. Kyokka baali nga betaaga okukuumibwa obutajeema. 3.Muti ki ogwabagaanibwa okulyako? Lub. 2:17. Abazadde baffe abasooka, newakubadde nga baatondebwa nga batukuvu era nga tebalina kibi, ekyo kyali tekitegeeza nti tebayinza kukola kibi. Katonda yabatonda nga ba ddembe, nga basobola

26Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedokusiima amagezi ge n’ekisa kye n’obutuukirivu bw’amateeka ge, nga ba ddembe okuba abawulize oba abajeemu. Baasanyukiranga okwogera ne Katonda ne bamalayika abatukuvu naye nga tebanaweebwa ddembe ery’emirembe n’emirembe, obuwulize bwabwe bwali nga buteekwa okugezebwa. Omuntu bwe yatondebwa yaweebwa ekigezo ku kwesanyusa yekka, ekintu kyennyini ekyali omusingi ogw’okugwa kwa Setaani Omuti ogw’amagezi, ogwali okumpi n’omuti ogw’obulamu wakati mu lusuku gwe gwali ogw’okupimirako obuwulize, okukkiriza, n’okwagala kw’abazadde baffe abaasooka.” (PP. p 48.49) Ekibi kyayingira kitya mu Adeni? 4. Omusota gwagamba ki omukazi ku ekyo Katonda kye yalagira? Lub.3:1.5. Omukazi yaddamu atya? Lub. 3:2,3.6. Omusota gwagamba ki? Lub 3:4,5.“Setaani yalaga abantu ababiri abatukuvu nti mu kujeemera etteeka lya Katonda balina kye banaafunamu. Leero (naffe) tetuwulira kintu kifananako ng’ekyo? Bangi boogera ku abo abakuuma amateeka ga Katonda obutiribiri, ne balaga nga abatagakuuma bwe balina ebirowoozo ebigazi, ne bwe basanyukira eddembe. Eddoboozi lya Setaani eryawulirwa mu Adeni likomawo nate nti, “Olunaku lwe muligulyako ne mujeemera Katonda ‘muliba nga Katonda’”? (PP .p.55) 7. Omusajja n’omukazi bajeemera batya Katonda? Kiki ekyavaamu? Lub 3:6,7,16,17.Tekwali kwagala kwa Katonda abantu abo ababiri abaali batalina kibi okutegeera ekibi eky’engeri yonna. Yali ng’abawadde ebirungi bya buwa, ekibi nga takibawadde, naye baawakanya ekiragiro kya Katonda ne balya ku muti ogwabagaanibwa, era bandyeyongedde

27Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedokulyako okutefeera ekibi ennaku zonna ez’obulamu bwabwe. Bwe batyo baalondawo obulumi n’okufa. 8.Ekibi kyaleeta ki ku bantu? Bal. 5:12. “Oubonabona okwaddirira okwonoona kw’abazadde baffe abasooka, bangi baakulowooza nga ekintu eky’entiisa ennyo olw’ekibi ekitono bwe kityo; ne babuusabuusa amagezi n’obutuukirivu bwa Katonda mu nkolagana ye n’omuntu. Naye singa beetegerezza nnyo ekibuuzo kino bandirabye ensobi yaabwe. Katonda yatonda omuntu mu kifaananyi kye, nga wa ddembe okuva mu kibi. Ensi yali ya kubeeramu abantu ababulako akatono okuba nga bamalayika; naye obuwulize bwabwe bwali bukeekwa okugezebwa; Katonda teyayagala nsi kubeeramu bantu abajeemera amateeka ge, mu kusaasira kwe okungi teyawa Adamu kigezo ekisukkiridde obuzibu. Olw’okuziyiza okuba okwangu kyafuula ekibi okuba ekinene ennyo. Obanga Adamu bw’aba nga teyasobola kugumira kigezo ekisingira ddala obwangu, teyandisobodde kugumira kigezo kisinga obunene, singa yakwasibwa obuvunanyizibwa obunene” (PP p.60). 9. Ekibi kyakwata kitya ku bitonde byonna? Bal. 8:22Ekinnyonnyola: Mu gayanja aganene, mu malungu amanene, agasozi agayinja, emigga n’ennyanja, ettaka ebbi n’ebiwuka ebizikiriza ebitabalika, tulaba ebitujjukiza ekikolimo ky’ekibi. Kibuyaga, amayengo g’ennyanja, ne musisi, enjala ne kawumpuli byongera okutegeeza nti ensi erumwa. 10.Katonda asanyukira okufa kw’omwonoonyi? Ateekwa kukola ki? Isaaya 45:22, Ezek, 18:32.

28Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 8 ENTEEKATEEKA YA KATONDA OKUKOLA OMUNTU Olunyiriri Olw’Okujjukira: “Kubanga empeera y’ekibi kwe kufa naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.” Bal 6:23. Ekigendererwa: Okubikkula okwagala kwa Katonda mu kuteekawo ekkubo okuyita mu Mwana we Yesu Kristo olwa ssaddaaka ye. Ebyanjula Omuntu eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, yalowooza katono ku buvunanyizibwa bwe obw’okugondera amateeka ga Katonda, olw’ensonga eyo n’agwa mu kibi. Ekibi kye kyamwawukanya ne Katonda ne kireeta ekikolimo eky’okufa mu nsi yonna. Omuntu oyo yali asobola kulokolebwa atya? Kyamazima abantu bonna baddu? 1. Omuntu bwe yajemulukukira {bweyagondera} ekikemo kya Setaani yafuuka muddu w’ani? Bal. 6:16; 2Pet. 2:19.“Si muntu yekka naye n’ensi yafugibwa Omubi olw’ekibi. Adamu bwe yatondebwa yaweebwa obuyinza okufuganga ensi. Naye olw’okujemulukukira ekikemo n’afugibwa obuyinza bwa Setaani. Omuntu bw’awangulibwa munne era abeera muddu we. Omuntu bwe yawangulibwa Setaani amatwale ge gaatwalibwa oyo eyamuwangula. Setaani mu ngeri eyo n’afuuka Katonda wensi eno” (PP p.67) 2. Engeri y’omuntu omwonoonyi kye ki? Isaaya 1:53. Newakubadde ng’omuntu yeetunda awatali muwendo, Katonda yasuubiza ki? Isaaya 52:3

29Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedKusuubiza ki okugumya omuntu? 4. Kusuubiza ki okwasuubiza Adamu ne Kaawa oluvannyuma lw’okwonoona? Lub. 3:13,14Omwana wa Katonda, era Omukulu w’eggye ery’omu ggulu, yasaasira olulyo lw’omuntu. Omutima gwe gwalumwa ng’alaba ensi bw’ebonaabona. Naye okwagala kwa Katonda kwali nga kukozeewo enteekateeka ey’okununula omuntu. Eteeka lya Katonda lyali nga lyetaaga obulamu obw’omwonoonyi. Mu nsi yonna mwazuukamu omu yekka eyali asobola okutuukiriza eteeka kye lyetaaga olw’omuntu. Kubanga amateeka ga Katonda matukuvu nga ye yennyini, oyo yekka eyenkanankana ne Katonda ye yali asobola okutangirira omwonoonyi w’amateeka. Waali tewali mulala wabula Kristo eyali asobola okununula omuntu mu kikolimo ky’amateeka, okutabaganya omuntu ne Katonda, Kristo yakkiriza okutwala omusana n’ensonyi eby’ekibi, ekibi ekyanakuwaza ennyo Katonda kyali kiteekwa okwawukanya Kitaawe n’Omwana. Kristo yayagala {yatwagala} okutuuka ebuziba olw’okubobaabona alyoke anunule olulyo oluzikirira.” (PP. p 63) 5. Mu kusuubiza okwaweebwa Ibulayimu “Ezzadde” ye ani? Bag. 3:16.6. Kristo bwe yajja mu nsi kiki ekyamutuumya erinnya Yesu? Mat 1:21.Ani eyakola enteekateeka ey’obulokozi? 7. Kristo yafuuka atya Omununuzi w’omuntu? 1Pet. 1:18, 19“Mu mulimu gw’okununula temuli kuwaliriza. Temuli maanya agava ebweru agakozesebwa. Ng’omuntu alungamizibwa amaanyi ag’Omwoyo wa Katonda, alekerwa eddembe okulonda gw’ayagala okuwereza. Mu bukyufu obuba ku muntu ng’ajemulukukidde Kristo, mulimu eddembe ddene. Okugoba ekibi gwe mulimu gwennyini ogw’Omwoyo. Kya mazima tetuyinza ku bwaffe fekka okwewa eddembe okuva mu buyinza bwa Setaani; naye bwe tuba nga twagala okufuna eddembe okuva mu buyinza bwa Setaani; naye bwe tuba nga twagala okufuna eddembe tusumululwa okuva mu kibi, bwe tusaba mu kwetaaga kwaffe okunene okuweebwa eddembe n’amaanyi

30Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedokukivaamu, amaanyi ag’omwoyo gagattibwa wamu n’amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu, omuntu nagondera okukola ekyo Katonda ky’ayagala.” (PP. p 466) 8.Waliwo omulala asobola okutukolera omulimu guno? Bik 4:10.12 Tekirinzika ku lwaffe okuva mu kinnya ky’ekibi kye twagwamu. Emitima gyaffe mibi, tetuyinza kugikyusa. Ani ayinza okuggya ekintu ekirongoofu mu kitali kirongoofu? Tewali n’omu Yob. 14:4.. “Okulowooza kw’omubirii bwe bulabe eri Katonda, kubanga n’okuyinza tegakuyinza.” Bal. 8:7 Obuyigirize, empisa ennungi, okwagala kw’omuntu, okufuba kwe, ebyo byonna birina ekifo kyabyo ekituufu, naye wano tebirina maanyi. Biyinza okulongoosa empisa ez’oku ngulu, naye tebiyinza kukyusa mutima, tebiyinza kulongosa nsulo za bulamu. Kyetaagibwa nnyo okubaawo obuyinza obulala nga businzira mu mutima munda, obulamu obuggya obuva mu ggulu, ng’abantu tebanakyuka kuva mu kibi okudda mu butukuvu.” (Omusaale waffe olup. 17, 18) 9. Kiki ekyawaliriza Katonda okutuma Omwana we okulokola abantu? Yok. 3:16“Enteekateeka ey’okununula si kirowoozo ekyajja oluvannyuma, enteekateeka teyakolwa luvannyuma lwa kugwa kwa Adamu. Kwe kwali okubikkula ekyali kikwekeddwa ekyasirikirwa okuva mu biro eby’emirembe n’emirembe. Bal. 16:25. Kwe kwali okubikkulibwa okw’emisingi gya Katonda egyali omusingi gwa namulondo ya Katonda emirembe gyonna. Okuva ku lubereberye, Katonda ne Kristo baamanya okugwa kwa Setaani, era n’okugwa kw’omuntu olw’amaanyi g’omulimba. Katonda teyateekateeka kibi kubeerawo, naye yalengera nga kigenda kubaawo, n’akola enteekateeka ey’okukikolako. Bwe kutyo okwagala okunene eri ensi, n’akola endagaano ey’okuwaayo Omwana we ‘buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwawo.” (DA p.22)

31Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited10. Bameka Katonda b’ayagala okulokola era ayinza kubakolera ddala atya? 1Tim 2:4; Beb. 7:25.“Omuwendo ogwasasulibwa okutununula, okweganyisa okwakolebwa Kitaffe ow’omu ggulu mu kuwaayo Omwana we okufa ku lwaffe, gusaana okutuwa ekirowoozo ekikulu nga bwe tuyinza okuba okuyita mu Kristo. Nga omutume Yokaana bwe yawandiika ng’alugamizibwa Omwoyo nti, ‘Mulabe okwagala bwe kuli okunene Kitaffe kwe yatuwa, ffe okuyitibwanga abaana ba Katonda’. Kino kifuula omuntu ow’omuwendo omunene! Olw’okukkiriza ssaddaaka ya Kristo etangirira, abaana ba Adamu basobola okufuuka abaana ba Katonda. Olw’okutwala omubiri og’obuntu, Kristo yagulumiza omuntu. Abantu abaagwa, olw’okugattibwa ne Kristo, bayinza okusaanira okuyitibwa ‘abaana ba Katonda.’ (SC p.15)

32Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 9 OBULAMU BULI MU KRISTO YEKKA. Olunyiriri Olw’Okujjukira; “Nze najja zibe n’obulamu era zibe nabwo obungi.” Yok 10:10. Ekigendererwa: Okulaga nti obulamu obw’emirembe n’emirembe bufunibwa kuyita mu Kristo. EBYANJULA Omuntu, olw’okujemulukulira ekikemo, yaggalirwa ebweru w’olusuku Adeni, natasobola kutuuka ku muti ogw’obulamu. Ekibi kino kye kyaleeta ekibonerezo eky’okufa. Naye okwagala kwa Katonda kwateekateeka ekkubo omuntu mw’ayinza okufunira obulamu nate. Ekkubo eryo ye Kristo. Lwaki abantu bonna bafa? 1. Ekibi kya Adamu kyaleeta ki ku bantu bonna? Bal 5:12“Okulabula okwaweebwa abazadde baffe abasooka nti, ‘Olunaku lw’oligulyako tolirema kufa’ , kyali tekigamba nti ku lunaku olwo lwenyini lwe balinoga ku kibala ekyabagaanibwa lwe balifa. Wabula ku lunaku olwo omusango lwe gwali ogw’okulangirirwa. Obulamu obw’emirembe n’emirembe bwe butyo ne busuubizibwa okusinzira ku buwulize; nga n’okwonoona kwa kubafiiriza obulamu obw’emirembe n’emirembe. Ku lunaku olwo lwennyini lwe baali ab’okusalirwa omusango ogw’okufa. 2. Bameka abaayonoona Bal. 3:23“Tewali n’omu akola obulungi, tewali n’omu.” (Bal. 3:12). “Bangi balimbibwa ku mbeera y’emitima gyabwe. Tebetegereza nti omutima gw’omuntu mulimba okusinga ebintu byonna, era mubi nnyo. Beyambaza obutuukirivu bwabwe bokka, ne basanyuka okutuuka ku ddala lyabwe ery’empisa ez’abantu: naye kiba kya kabi nnyo mu kulemwa kwabwe okutuuka ku ddala lya Katonda, era ku bwabwe tebasobola kukola Katonda ky’ayagala. Tuyinza okwepima fekka, tuyinza okwegerageranya ffeka ne fekka. Tuyinza okugamba

33Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitednti tukola bulungi nga ono oba oli; naye ekibuuzo ekyetaaga okuddibwamu kye kino nti, Tutuukiriza ebyetaagibwa eggulu? Tutuuka ku ddala lya Katonda? Emitima gyaffe gitabagana ne Katonda w’eggulu? Ani asobola okusumulula entaana? 3. Newakubadde nga Yesu yali yenkanankana ne Katonda, yayagala kukola ki? Baf. 2:5-7.4. Kyali kyetaagibwa Kristo okufa alyoke afuuke Omulokozi w’omuntu? Bal. 5:10; Baf.2:8 5.Mu kujja mu nsi muno, Kristo yatwala mubiri gw’ani? Beb. 2:9, 14-16. “Okuva edda n’edda Kristo yali wamu ne Kitaawe, era bwe yatwala omubiri gw’omuntu, yali wamu ne Katonda. Ye lye kkowe ly’obujegere olugatta Katonda n’omuntu, “Kubanga abaana bagatta omusayi n’omubiri, era naye yennyini yagatta ebyo.’ Tuyita mu ye okufuuka abaana ba Katonda……… Kristo yatwala obuzaliranwa bw’omuntu abasajja n’abakazi bafune ku {buzaaliranwa} bwa Katonda.” (PP p.228). 6. Kubanga Yesu yawangula okufa n’azuukira, yafuna ki? Kub. 1:18.Ani ensibuko y’obulamu? 7. Kiki Yesu ky’awa omuntu leero? Yok 10:10.“Obulamu obungi” omuntu bw’ayinza okusanyukira bwe bulamu obubeera ne Yesu. Mu kwegatta kuno okwegomba kwonna okw’omuntu okwerowoozaako kuwa ekkubo omuntu obuterowoozaako yekka mu kuweereza. 8. Tufuna ki bwe tukkirizza Yesu nga ye Mulokozi wa buli muntu? Yok 5:24, 3:16.“Abo abalaba Kristo mu mpisa ez’amazima, ne bamuyingiza mu mutima, balina obulamu obutaggwawo. Okuyita mu Mwoyo Kristo abeera mu ffe; era Omwoyo wa Katonda bw’abeera mu mutima olw’okukkiriza, ye ntandikwa y’obulamu obutaggwawo.” (DA p.388)

34Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited9. Yakakasa atya nga bwe yalina obuyinza ku kufa? Yok 11:25.“Eri omukkiriza, Kristo kwe kuzuukira n’obulamu. Obulamu omuntu bwe yali afiriddwa bwakomezebwawo okuyita mu Mulokozi waffe; kubanga alina obulamu mu ye yennyini okuzukiza oyo gw’ayagala. Alina obuyinza okuwa obulamu obutaggwawo. Obulamu bwe yawaayo mu bantu, abutwala nate, n’abuwa abantu.” (DA p.786) 10.Ekirabo eky’obulamu obutaggwawo kya kuweebwa ddi abo abakkiriza Yesu? 1Kol. 15:51, 52“Omuwendo ogw’okununula omuntu teguliyinza kutegerekeka okutuusa abanunule lwe baliyimirira awamu n’Omununuzi, awali entebe ya Katonda. Era nga bafunye amagezi okusiima omugaso ogw’obulamu obutaggwawo, n’empeera ey’emirembe, n’emirembe, baliyimba oluyimba olw’obuwanguzi, nga boogera n’eddobboozi ddene nti “Asaanidde Omwana gw’endiga eyattibwa okuweebwa obuyinza n’obugagga n’amagezi n’amaanyi n’ettendo n’ekitiibwa n’omukisa.” (ISM P.289)

35Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 10 OKUYIGA EKITABO KYA KATONDA. Olunnyiriri Olw’okujjukira: “Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, ayisa wakati ekigambo eky’amazima.” 2Tim 2:15. Ekigenndererwa: Okulaga okwetaaga kwaffe okuyiga kwaffe okuyiga ekigambo kya Katonda Ekitukuvu n’obwesigwa, n’okugerageranya ekyawandiikibwa n’ekyawandiikibwa olunyiriri ku lunyiriri. 1. Okuteegeera ebya Katonda kwasuubizibwa nti kwa kusinzira ku ki? Ngero2:3-5.“Okutegeera amazima ga Bayibuli tekwesigama nnyo ku kunoonya kw’amagezi n’ekigendererwa ekimu, n’okwegomba ennyo obutuukirivu.” GC p.599) 2. Kristo yagamba ki Abayudaaya ku kusoma Ebyawandiikibwa?Yok 5:39Abayudaaya banoonyanga mu byawandiikibwa okusanyusa ekkubo lyabwe ery’obulamu naye baalemwa okuzuula Masiya eyasuubizibwa, olw’ensonga eyo baali tebamwetekeddetekedde okutuukirira kw’ebiro bwe kwatuuka.’ 3.Lwaki Abakristayo ab’e Beroya baasiimibwa? Bik 17:11; Yob 23:12. Kiyinzika Ebyawandiikibwa byonna okutegeerwa amangu?4.Tuyinza tutya okutegeera Ekigambo kya Katonda? Isaaya 28:9, 10. 5.Ebitundu byonna eby’Ebyawandiikibwa bitegerekeka mu ngeri y’emu? Beb 5:12-14; 2Pet. 3:15-16 “Ekigambo kya Katonda, era kiri ng’empisa ze bwe ziri, kirimu ebintu eby’ekyama omuntu obuntu byatayinza kutegeerera

36Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedddala. Ekibi nga bwe kyayingira mu nsi, Kristo okufuuka omuntu, okuzaalibwa omulundi ogwokubiri, okuzuukira era n’ebigambo ebirala bingi biragibwa mu Bayibuli bya buziba nnyo, omuntu tayinza kubinnyonnyola wadde okubitegeera obulungi. Naye newakubadde nga tetuyinza kutegeera byama bya Katonda n’okuteesa kwe kwonna, tewali nsonga etugaana kukkiriza kigambo kye. Mu nsi muno mujjudde ebintu eby’ekyama bye tutayinza kutegeera. Akawuka akatono ennyo akatalowoozebwako na kulowozebwa, naye mu bulamu bwako mulimu ebintu ebizibu ddala omuyizi kayingo by’atasobola kunnyonnyola. Kale awo tuyinza okwewunya bwe tulaba bye tutayinza kutegeera? Ensonga okuva obuzibu obwo ye eno: ebirowoozo byaffe bitono nnyo era binafu ddala, ng’ogerera ku bya Katonda. Mu byawandiikibwa, Katonda yatuwa obukakafu obumala okututegeeza nga byava eri ye era tekitusaanira kubuusabuusa Kigambo kye olw’okubanga tetuyinza kutegeera byama bye byonna n’okuteesa kwe ebiri omwo.” (Omusaale Waffe, olup. 120, 121). 6. Ani atuyamba okutegeera Ekigambo kya Katonda? 1Kol 2:10; Yok.14:26.“Waliwo ebintu bingi ebizibu Katonda by’ajja okufuula ebyangu eri abo abanoonya okubitegeera. Awatali kulungamya okw’Omwoyo Omutukuvu kitubeerera kyangu okunyoola ebyawandiikibwa oba okubinnyonnyola mu ngeri embi. Waliwo okusoma Bayibuli kungi okutagasa era mu ngeri nnyingikukola akabi. Ekigambo kya Katonda bwekibikkulibwa nga tekissibwamu kitiibwa era nga okusaba si kwe kukulembedde; ng’ebirowoozo n’okwagala tebiri ku Katonda, oba okutabagana ne ky’ayagala, ebirowoozo biba nga bijjudde okubuusabuusa, era mu kuyiga Bayibuli kwenyini, obukafiiri bwongerwamu amaanyi, Abantu bwe batanoonya kutabagana ne Katonda mu kigambo ne mu kikolwa, ne bwe baba bayigirize batya, bangu okusobya mu kutegeera eby’awandiikibwa, era si kya ddembe okwesiga

37Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedokunnyonnyola kwabwe. Abo abanoonya mu byawandiikibwa nga bwe bitatabagana, tebalina maaso ag’omwoyo agalaba munda. Bajja kulaba ebintu bingi ebibaleetera okubusabusa n’obutakkiriza bintu ebyo ebitegerekeka obulungi era ebyangu.” (SC p.110) Biki ebiva mu kusoma Ebyawandiikibwa? 7. Okuyiga Ebyawandiikibwa kutuyamba kutya? 2Tim 3:15.“Waliwo emikisa mingi eri oyo anyweza obukakafu bw’ekigambo kya Katonda gy’ayinza okufuna. Omuyizi atwale Bayibuli nga ye mukulembeze we, era ayimirire ng’anyweredde ku njigiriza zaayo, n’okwagala okutuuka ku ddala erisinga obulungi. Obulungi bwe, okusaasira kwe n’okwagala nga birowozebwako, amazima gye ganaakoma okugenda nga gategeerwa obulungi okuba aga waggulu n’obutukuvu, n’okwagala okuba abatukuvu mu mutima n’ebirowoozo ebirungi. Omuntu alowooza ku bintu ebitukuvu akyusibwa olw’okusoma ekigambo kye.” (8T p.322). 8. Kiki ekisinzirwako okutegeera Ekigambo kya Katonda? Yok7:17.“Okutuuka ku mazima, kitusaanira okwagala okumanya amazima, n’omutima okwagala okugagondera……….Kristo yagamba nti, ‘Omuntu bw’ayagala okukola oli by’ayagala, alitegeera okuyigiriza’ Yok 7:17. Mu kifo ky’okussa omwoyo ku ekyo ky’ototegeera, teeka omwoyo ku musana ogukuwereddwa ogukwakira, era ojja kweyongera okufuna omusana ogusingawo. Olw’ekisa kya Katonda, kola buli mulimu ogukulagiddwa n’ogutegeera, era ojja kusobola okutegeera n’okukola ebyo by’obuusabuusa.” (SC p.11). 9.Kiki buli muntu ky’ateekwa okusaba? Zab 119:18 10.Kiki ekirala ekyetaagibwa ng’oggyeko okuyiga Ekigambo kya Katonda? Yok 1:22-25.

38Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 11 OKWOGERA NE KATONDA. Olunyiriri Olw’Okujjukira: “Na buli kye munaasabanga mu linnya lyange ekyo naakikolanga.” Yok 14:13. Ekigendererwa: Katonda ayagala okwogera naffe. Naffe kitusaanira okwagala okwogera naye. Engeri gye tuyinza okwogeramu naye kwe kusaba. Ebyanjula Nga tusoma ekigambo kya Katonda n’obwegendereza, tuyiga ky’ayagala gye tuli. Omwoyo Omutukuvu yatusuubizibwa okutukulembera mu mazima gonna. Naye tetuwuliriza buwuuliriza kyokka Katonda ng’ayogera. Naffe tuyinza okwogera naye. Okusaba Kwetaagibwa? 1. Kitusaanira kusaba kyekana wa? Luk 18:1; Bef. 6:18; 1Bases 5:17.”Okusaba kwe kussa omukka okw’omuntu. Kye kyama eky’amaanyi ag’omwoyo.” (GW p.254) “Okusaba si kwe kukola obukyufu bwonna mu Katonda; kututabaganya butabaganya ne Katonda.” (GOL. p.143). “Singa tukuumira Mukama mu maaso gaffe, emitima gyaffe nga gimwebaza n’okumutendereza, tujja kugenda nga tweyongera okuba abaggya mu bulamu bwaffe obw’eddini. Okusaba kwaffe kujja kuba nga bwe tunyumya ne mikwano gyaffe.” (COL p.129). 2.Abantu abamu baasabanga kyenkana wa? Zab 55:17; Zab 63:6; Dan 6:10; Bik. 10:2. 3.Katonda asanyukira okusaba kwaffe? Mat. 7:7,11; Beb 11:6; Zab 65:2.

39Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited“Okusaba si kwe kuwangula Katonda okumuggya mu kusala entotto; kwe kwenywereza ku kwagala kwa Katonda.’ Okusaba kwe kubikkulira Katonda omutima nga bwe gubikkulirwa ow’omukwano.’ ‘Okusaba tekukyusa Katonda; wabula kukyusa ffe n’engeri gye tukolaganamu naye. Kututeeka mu kkubo ery’omukisa, era n’okututeeka mu ngeri Katonda gyasoboleramu okutuwa bye tusaba.’ “Tusaana kusaba mu ngeri ki tulyoke tuwulirwe era tufune obuyambi? Emitima gyaffe gisaana gibe nga gyegomba ekintu kimu kyokka. Ebigambo obugambo tebikola kusaba; kitusaanira okwagala ekintu, n’okutegeera bwe kitusaanira okwesiga Katonda.” J.R Miller, (D.D BR p.591). Ngeri ki ezifuga okusaba? 4. Emikisa egyetaagibwa egyatusuubizibwa gya kusinzira ku ki? Mat.7:7,8.“Okusaba kye kisumuluzo ekisumulula eggwanika ery’omu ggulu, omuli obugagga obw’Omuyinza w’ebintu byonna.” (SC p.94) “Mukama talina ngeri za njawulo zassaawo okuggyako ggwe okuwulira ng’olumwa enjala ey’ekisa kye, n’okwagala amagezi ge, n’okwegomba okwagala kwe. ‘Saba.’ OKusaba kwe kulaga okwetaaga kwo; era singa osaba mu kukkiriza, ojja kufuna. Mukama yasuubiza era ekigambo kye tekirema butatuukirira,” (MB, p187). 5. Kintu ki ekikulu ennyo mu kusaba? Yak. 1:5-7; Mak 11:24.“Musabe mu kukkiriza. Era n’obulamu bwammwe bube nga butabagana n’okusaba kwammwe, mulyoke mufune emikisa gye musaba. Toganya kukkiriza kwo kunafuwa, kubanga emikisa egifunibwa gyenkana n’okukkiriza nga bwe kuba.” (T7, p.274) 6. Kintu ki ekikulu ekiziyiza okusaba? Zab 66:18; Isaaya 59:1,2; Yak4:3.“Okusuubiza kwa Katonda kulina ebisinzirwako okutuukirizibwa, era okusaba si kwa kutwala ekifo eky’omulimu. Kristo yagamba nti ‘Obanga munjagala, munakwatanga ebiragiro byange.” Abo abatwala okusaba

40Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limitedkwabwe eri Katonda, nga bakayanira okusuubiza kwe naye nga tebatuukiriza ebyo by’ayagala, bavuma Yakuwa. Baleeta erinnya lya Kristo nga bwe buyinza bwabwe kwe basinzira okukayanira okusuubiza, naye tebakola ebyo ebiraga okukkiriza Kristo n’okumwagala.” (COL p.143) Kusaba ki omutali kwerowoozako? 7. Kristo yatuyiriza kusabanga ani? Mat 5:44.8. Tusonyiyibwa kusinzira ku ki? Mak 11:25; Mat 6:12.9. Tteeka ki Kristo lye yakuuma mu kusaba kwe? Mak 14:35, 3610. Tuteekwa kusaba mu linnya ly’ani? Yok 14:12,14.“Tekitusaanira kusaba mu linnya lya Kristo kyokka, naye n’okulungamizibwa Omwoyo Omutukuvu.” (COL p.147). “Okusaba mu linnya lya Kristo kitegeza kinene okusinga okugattako obugassi obugambo nti “kubwa Kristo” ku kusaba kwaffe. Okusaba mu linnya lya Kristo kwe kusaba nga ali awamu ne Kristo, ebirowoozo nga biringa ebya Kristo, okwagala nga kuli nga okwa Kristo, era n’ebigendererwa nga biri nga ebya Kristo.” Samuel Chadwick, The Parts of Prayer, p.52.

41Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 12 OMULIMU GWAFFE ERI KATONDA N’OMUNTU Olunyiriri Olw’Okujjukira: “Okwagala kutuukiriza amateeka.” Bal. 13:10. Ekigendererwa:Okulaga nti omuntu tayinza kubeera na bulamu obwerowoozako yekka omutima gwe bwe guba nga gujjudde okwagala ne muntu munne. EBYANJULA Nga tugenda tweyongera okuyiga ebya Katonda olw’okuyiga ekigambo kye n’okusaba, tutegeera bwatuwa emikisa emingi. Tuyinza tutya okukkiriza emikisa gino? Obuvunanyizibwa bw’omuntu kye ki? 1. Tteeka ki erifuga obulamu bw’omuntu? Bal 14:72. Mateeka ki amakulu abiri agalaga omulimu gw’omuntu eri Katonda n’omuntu? Mat 22:36-40.Omulimu gwaffe eri Katonda kye ki? 3. Mikisa ki egy’enjawulo gye tufuna okuva eri Katonda? Mat 5:45; Bik 14:17; Zab 104:14; Bik 17:25.4. Mukisa ki omulala ogulagibwa? Ma. 8:18.“Katonda ayogera n’abantu be mu mikisa gy’abawa; era gino bwegitakozesebwa, ayogera nabo mu kugibaggyako, balyoke basobole okulaba ebibi byabwe, bakyuke okudda gy’ali n’omutima gwonna.” (PP. p470) 5. Omuntu akkiriza atya Katonda nga ye nsibuko y’emikisa gye gyonna? Lub 28:20-22; Lev 27:30,32.

42Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedWano Yakobo yali nga tanoonya kuteesa na Katonda, Mukama yali ng’amaze okusuubiza emikisa, era obweyamo byno kwe kwali okwebaza okwava mu mutima ogwali gujjudde okwebaza olw’obukakafu kwa Katonda n’okusaasira kwe. Yakobo yategeera nti Katonda alina kye yeetaaga gyali ky’ateekwa okukkiriza, era nti obubonero obw’enjawulo obw’okwagala kwa Katonda bwetaaga okubaako ekibukolwako. Bwe kityo buli mukisa ogutuweebwa gwetaaga gubeeko ekikolerwa agutuwa olw’ekisa kye kyonna ky’atulaga. Fenna abasanyukira omusana gwonna omujjuvu n’emikisa gy’enjiri tukole kitono okusinga abo abaatusooka, abataafuna ffe bye tulina? Nedda. Emikisa gyaffe nga bwe giri eminene okusinga obuvunanyizibwa bwaffe sib we businga obunene?” (PP p.187, 188) 6. Omuntu bw’ataddiza Katonda kitundu eky’ekkumi eky’ebintu byagenda yeyongera okufuna, Mukama amulowoozako atya? Mal 3:8,9.Omulimu gwaffe eri omuntu kye ki? 7. Tteeka ki ekuulu eryookubiri? Mat 22:39; Bal 13:9,10.“Katonda bw’afuna ekifo ekituufu ku nnamuondo ey’omutima, nr muliranwa waffe ajja kuweebwa ekifo ekitudu. Tumwagale nga bwe tweyagala ffekka. Era bwe tuba nga twagala katonda okusinga byonna lwe tuyinza okwagala mulirwana waffe nga bwe tweyagala ffekka.” (DA p.607.) 8. Tteeka ki ekkulu erisaana okufuga obulamu bwaffe mu nkolagana yaffe n’abalala? Bal 13:8; Bag 6:2,9,10.“Omulimu gwa Kristo gwa kukolebwa lwa buterowoozako buli muntu yenna. Omulimu gwe, kuweereza ababonaabona n’abaavu. Mu mitima gy’abakkiriza mulimu okusaasira kwa Kristo, okwagala okunene abo be yatwala nga bamuwendo munene n’awaayo obulamu bwe okubalokola.” (COL p.383, 384). 9. Omuntu alaga atya eteeka lino mu bulamu bwe obwa buli lunaku? Mat 10:8 (akatundu akasembayo); 2Kol 9:6-8; Bik 20:35 (akatundu akasembayo)

43Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited“Eddagala lyokka ery’okuwonya abantu ekibi n’ennaku ye Kristo. Enjiri ey’ekisa kye yokka yeyinza okuwonya obubi era ekikolimo eri abantu. Obubi abagagga bwe bakola abaavu, obukyayi bw’abaavu eri abagagga, byonna bisinzira mu buli muntu kuba na mululu, kino kiyinza kuggwawo lwa kujeemulukukira Kristo kyokka. Yekka y’asobola okuggyawo omutima ogwerowoozako n’awa omuntu omutima omuggya ogw’okwagala. (COL p.254). 10.Buvunanyizibwa ki obunene Kristo bwe yateeka ku bakkiriza? Mat28:18-20.“Mukama yateekateeka nti ebintu bye twaweebwa tubikozese okuzimba obwakabaka bwe. Ebintu bye yabikwasa abawanika be bikozesebwenga n’obwegendereza okulokola abantu okubayingiza mu bulamu obw’emirembe. Era n’abantu abo, bafuuke abawanika abamazima, okwegatta awamu n’eggye eddene erisanyukira obwakabaka bwa Katonda.” (6T.p 448).

44Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 13 OKUYITA MU BYOKUYIGA BYONNA EBIYIGIDDWA Ennyiriri z’Okujjukira: Ddamu ennyiriri z’okujjukira 12 ne gye zisangibwa. Ekigendererwa: Okusobola okwanukula ebibuuzo bino wammanga nga bibuuzibwa, n’okutegeera ebyokuyiga bye bikwatako. Ebyanjula Ekimu ku bibuuzo bino bwe kikulema, ddayo byokuyiga ekikwata ku kintu ekyo oddemu okukiyiga nate okyetegereze. 1. Laga engeri ya Katonda ow’Amazima n’obukakafu obw’obuyinza bwe - Ekyokuyiga 1. 2. Kitabo ki ekyaweebwa omuntu okumutegeeza ebya Katonda ow’amazima? -Ekyokuyiga 2. 3. Omuntu yafuna atya ekitabo kino? -Ekyokuyiga 2. 4. Kakasa Kristo nga bwali Katonda. - Ekyokuyiga 3 5. Ani Bayibuli gw’eraga omulala nga ye omu ku bantu? - Ekyokuyiga 4. 6. Ono ayagala kukolera ki omuntu? - Ekyokuyiga 4. 7. Bukakafu ki obulaga omulimu gwe mu mwana wa Katonda? - Ekyokuyiga 4. 8. Ekibi kye ki? - Ekyokuyiga 5. 9. Ekibi kyatandikira ku ani? - Ekyokuyiga 5. 10. Ekibi kyakula mu ngeri ki? – Ekyokuyiga 5. 11. Ani ku Basatu ayalagira ensi okutondebwa? – Ekyokuyiga 6. 12. Tegeeza omulimu ogwakolebwa ku buli lunaku olw’obutonzi. – Ekyokuyiga 6. 13. Kijjukizo ki eky’obutonzi ekitaggwawo Katonda kye yassawo ku nkomerero ya wiiki ey’obutonzi, okuyamba abantu okujjukiranga omulimu gw’obutonzi n’Omutonzi? – Ekyokuyiga 6.

45Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited14. Lwaki omuntu yayonoona? – Ekyokuyiga 7. 15. Empeera y’ekibi kye ki? – Ekyokuyiga 8. 16. Kiki ky’omanyi ku nteekateeka ya Katonda olw’okulokolebwa kwo? – Ekyokuyiga 8. 17. Kristo yakuwa ki mu kifo ky’ekibi n’okufa? – Ekyokuyiga 9 18. Tuyinza tutya okutegeera Bayibuli? Ekyokuyiga 10. 19. Okusaba kuyinza kutuyamba mu ngeri ki? – Ekyokuyiga 11. 20. kiki kye tubanjibwa eri Katonda ne Bantu bannaffe? – Ekyokuyiga 12.

46Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEBYANJULA EKITUNDU EKYOOKUBIRI. Ebyokuyiga bino bikwata ku misingi egy’Obulamu bw’Omukristaayo gamba nga Okwenenya. Okwatula, Okusonyiyibwa, Okukyuka, Okuzalibwa obuggya era n’obuwulize. Osaanidde okuyiga ebyokuyiga bino n’obwegendereza, ate n’oluvanyunnyuma ogezeeko okubikwata mu mutwe kinakimu, kikuyambe okukakasiza ddala nti ebyokuyiga bino bifuuka ekitundu ku bulamu bwo. Bw’onoba nga ojjemululidde ddala buli kintu kyonna eri Yesu, era n’omukkiriza okubeera mu ggwe, ebyokuyiga bino byonna ojja kubitegeerera ddala bulungi. Awatali Yesu, tolina kyojja kukola mu bigambo eby’Obulokozi. Ebyokuyiga ebirala byonoyiga mu njigiriza y’ekkanisa ya Seventh-day Adventist, bijja kuba ebigezo eby’amazima ebinayawula abantu ba Katonda kwabo abeegamba obwegambi nti bakkiriza enjigiriza y’Ekigambo kye Katonda. Ebimu ku binnyonnyola byonosanga ku bibuuzo ebiri mu byokuyiga bino, byagibwa mu bitabo by’Omwoyo gw’O bunabbi (Bingi ku bitabo bino tebinnaba kukyusibwa mu nnimi ez’ekinnansi) Mu binnyonnyola bino, ofunamu okulungamizibwa mu byokuyiga ebikulu ebya Bayibuli byonooba tosobola kufuna mangu mu lulimi lwo. Owebwa amagezi okubikuuma olw’okubyeyambisa mu biseera eby’omu maaso. Kwata ebitabo bya Bayibuli nga bwebiddiringana obanga wali tobikwaatanga. Kino ojja kukisanga nga kya mugaso nnyo ku kuyiga kwo bw’onooba oyiga Ebyawandiikibwa. Gano wammanga ge mannya agamu ag’ebitabo eby’Omwoyo gw’Obunnabbi mu Lungereza era nga ne bwegasaliddwako mu bufunze. Ebitabo bino bifunika buli awali ettundiro ery Seventh-day Adventist.

47Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited6T - Testimonies to the Church, Vol 6 MB - Thoughts from the Mount of Blessing 6BC - S.D.A Bible Commentary, Vol 6 BR - Bible Reading from the Home Circle GC - The Great Controversy COL - Christ’s Object Lessons MH - Ministry of Healing PP - Patriachs and Prophets ISM - Selected Messages, Vol 1 DA - Desire of Ages SC - Steps to Christ EV - Evangelism Ed - Education PK - Prophets and Kings AA - Acts of Apostles GW - Gospel Workers CSSW - Counsels on Sabbath School Work

48Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedEKYOKUYIGA 14 OBUBONERO BW’OKUKOMAWO KWA KRISTO Olunyiriri Olw’Okujjukira: “Naye ebigambo ebyo bwebitanulanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okufuuka.” Luk 21:28 Ekigendererwa: Okulaga nga Katonda bwaali omwesigwa mu kulabula omuntu olw’okumuwa obubonero obumulaga nti okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri kuli kumpi. Ebyanjula Obubonero obusooka okubaawo nga ekintu ekikulu tekinabawo bwakkirizibwanga nnyo ebika n’amawanga. Bwebatyo n’abayigirizwa Yesu bakkiriza nti wagenda kubaawo obubonero obulirabula abantu okusembera kw’enkomerero y’ensi. Abantu baaweebwa obubonero? 1. Kunenya ki Kristo kwe yanenya Abafalisaayo abaaliwo mu kiseera kye? Mat 16:1-3.Ekinnyonnyola: Abantu bano buli kiseera baasabanga Yesu abawe akabonero akakasa omulimu gwe. Tebasobolera ddala kusoma obubonero obwabawebwa nti Kristo yajja omulundi ogwasooka. Okuzaalibwa omuwala atamanyi musajja (Is 7:17); ekifo gyalizaalirwa (Mik 5:2); nga bwaliyingira mu Yerusaalemi (Ezek.9:9) era n’obubonero obulala bungi obwalagulwa ku bulamu bwe. 2. Kibuuzo ki abayigirizwa kyebaabuuza Yesu ku by’okukomawo kwe omulundi ogwookubiri? Mat 24:33. Kristo yaddamu atya ekibuuzo kino? Luk 21:25,26.

49Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International LimitedObubonero bwa Katonda bwakubeerawa? 4. Enjuba, omwezi n’emunnyennye byaali byakukozesebwa bitya mu kuwa obubonero? Mat 24:29.Ekinnyonnyola: Mu Lub 1:14 wagamba nti eby’omuggulu byaali byakukozesebwa nga obubonero. Enjuba erifuuka ekizikiza: Kino kyabaawo nga May 19 1789. Tekwa kusiikirizibwa kwa njuba yasobola kunnyonnyola ekizikiza kino ekitaali kya bulijjo ekyaliwo ku lunaku olwo. Omwezi tegulyolesa musana gwagwo: Kino kyaliwo mu kawungezi ak’olunaku olwo lwe lumu omwezi bwe gwali nga gwa gaboggabo. Eggulu lyonna lyaali kwaafu nga etali mwezi. Emunnyenye zirigwa okuva mu ggulu: Kino kyayogerwako nga emunnyennye za kibonwa omu. Akabonero kano katukirira nga November 13 1833 emunnyennye ennyingo ezakibonwomu bwe zaalabika nga zigwa okuva mu ggulu. Bubonero ki obulirabibwa ku nsi? 5. Amawanga galiba mu ngeri ki nga Kristo tannaba kukomawo mulundi gwakubiri? Luk 21:25.6. Bikankano ki ebirigattibwa mu kunakuwala kuno? Luk 21:25; Mat24:7Ekinnyonnyola: Kikungunta, Omuyaga n’empewo ez’amaanyi, omuliro n’amataba, obubenje ku nsi ne ku nnyanja, bijja biddiringana mu ngeri ey’amangu……… Obubonero butwetolodde nga bulaga okukomawo kw’Omwana wa Katonda amangu.

50Coded by Bunjo Steven || Copyright reserved by ADS International Limited7. Kabonero ki akalala Yesu ke yalagula? Mat 24:14.Ekinnyonnyola: Yesu teyalagula ku kukyuka kwa nsi, naye yayogera ku kubuulirwa kw’enjiri mu nsi yonna. Kati ebyawandiikibwa bikyusiddwa era ne bikubibwa mu kyapa mu nnimi ezisukka 1200. Kino kiyambye nnyo ekigambo kya Katonda okubunyisibwa kumpi mu bantu bonna. 8. Kabonero ki Nabbi Daniel ke yawa ak’ekiseera eky’enkomerero? Dan 12:4.Ekinnyonnyola: Obunnabbi buno okusooka bukwata ku kweyongera kw’okuyiga kya Katonda era nate ne bulaga ku kweyongera kw’amagezi aga saayaansi ag’ennaku zino agabaddewo mu myaka 100 egyakayita. 9. Omutume Yakobo yalaga atya eby’okubawo wakati w’abagagga n’baavu? Yak 5:1-8.10. Okusinzira ku bunnabbi bwa Pawulo, ensi yali yakubeera mu ngeri ki? 2Tim. 3:1-5.11. Olunaku olw’okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri lulitegeerekeka? Mat 24:36.12. Kulabula ki Yesu kwe yalabula abo abaliraba akabonero kano? Luk. 21:42.


Like this book? You can publish your book online for free in a few minutes!
Create your own flipbook